Okubirizibwa Munda Yo Okweyisa nga Yesu?
“N’alaba ebibiina bingi, n’abasaasira, kubanga baali ng’endiga ezitalina musumba; n’atanula okubayigiriza ebigambo bingi.”—MAKKO 6:34.
1. Lwaki kitegeerekeka nti abantu kinnoomu booleka engeri ennungi?
EBISEERA nga bwe bizze biyitawo abantu bangi boolese engeri ezisikiriza. Oyinza okutegeera ensonga lwaki. Yakuwa Katonda ayoleka okwagala, ekisa, obugabi, n’engeri endala ze tutenda. Abantu baatondebwa mu kifaananyi kya Katonda. N’olwekyo, tuyinza okukitegeera lwaki abantu bangi bandyolese okwagala, ekisa, obusaasizi, n’engeri endala eza Katonda, era ng’abasinga obungi bwe balaga nti balina omuntu ow’omunda. (Olubereberye 1:26; Abaruumi 2:14, 15) Kyokka, oyinza okukimanya nti abamu kibanguyira okwoleka engeri zino okusinga abalala.
2. Bikolwa ki ebirungi abantu abamu bye bayinza okukola, oboolyawo nga balowooza nti bakoppa Kristo?
2 Oboolyawo omanyi abasajja n’abakazi abatera okukyalira oba okuyamba abalwadde, abasaasira abalema, oba abagabira abaavu. Era, lowooza ku bantu abakubirizibwa ekisa okumala obulamu bwabwe nga baweereza mu bifo erabirirwa abagenge oba enfuuzi, abo abaweereza nga bannakyewa mu malwaliro oba mu bifo ekuumirwa abalwadde abayi, oba abantu abagezaako okuyamba abatalina maka wa kusula oba abanoonyi b’obubudamo. Oboolyawo abamu balowooza nti baba bakoppa Yesu, eyateerawo Abakristaayo eky’okugoberera. Tusoma mu Njiri nti Kristo yawonya abalwadde era n’aliisa abalumwa enjala. (Makko 1:34; 8:1-9; Lukka 4:40) Okwagala, ekisa, n’okusaasira Yesu bye yalaga byoleka “endowooza ya Kristo,” ng’ate naye yali akoppa Kitaawe ow’omu ggulu.—1 Abakkolinso 2:16, NW.
3. Okusobola okubeera n’endowooza etegudde lubege ku mirimu gya Yesu emirungi, kiki kye twetaaga okwekenneenya?
3 Kyokka, okirabye nti bangi leero abakwatibwako okwagala n’obusaasizi bwa Yesu babuusa amaaso ekintu ekikulu eky’endowooza ya Kristo? Tuyinza okukitegeera obulungi nga twekenneenya Makko essuula 6. Eyo tusoma nti abantu baaleetera Yesu abalwadde abawonye. Bwe twetegereza ennyiriri eziriraanyewo, era tuyiga nti bwe yalaba ng’enkumi n’enkumi abaali bazze gy’ali balumwa enjala, Yesu yabaliisa mu ngeri ey’ekyamagero. (Makko 6:35-44, 54-56) Okuwonya abalwadde n’okuliisa abalumwa enjala byali bikolwa eby’enkukunala eby’okulaga obusaasizi obw’okwagala, naye ze zaali engeri ezisingayo obukulu Yesu mwe yayambira abalala? Era tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kye ekirungi ennyo eky’okwagala, ekisa, n’obusaasizi, era nga naye bwe yakoppa Yakuwa?
Yakubirizibwa Munda Ye Okukola ku Byetaago eby’Eby’Omwoyo
4. Embeera ekwata ku byaliwo ebyogerwako mu Makko 6:30-34 yali etya?
4 Yesu yasaasira abamwetoolodde okusingira ddala olw’ebyetaago byabwe eby’eby’omwoyo. Ebyetaago ebyo byali bikulu nnyo, okusinga n’ebyetaago eby’omubiri. Lowooza ku biri mu Makko 6:30-34. Ebyogerwako awo byaliwo ku mbalama z’Ennyanja y’e Ggaliraaya, ng’embaga y’Okuyitako ey’omu 32 C.E. eneetera okutuuka. Abatume baali babuguumiridde era olw’ensonga ennungi. Nga baakamaliriza olugendo oluwanvu, bajja eri Yesu, awatali kubuusabuusa nga baagala okumutegeeza ebyali bibatuuseeko. Kyokka, ekibiina kyakuŋŋaana. Kyali kinene nnyo ne kiba nti Yesu n’abatume be baali tebasobola kulya wadde okuwummula. Yesu yagamba abatume be: “Mujje mmwe mwekka kyama mu kifo eteri bantu muwummuleko katono.” (Makko 6:31) Baalinnya eryato, oboolyawo kumpi ne Kaperunawumu, ne basomoka Ennyanja y’e Ggaliraaya okugenda mu kifo eteri bantu. Naye ekibiina ky’abantu baayita ku lubalama nga badduka ne basookayo eryato. Yesu yandikoze ki? Yanyiiga olw’okuba baamulemesa okubeerako yekka? N’akatono!
5. Yesu yawulira atya ebibiina by’abantu bwe byajja gy’ali, era yakola ki?
5 Omutima gwa Yesu gwakwatibwako bwe yalaba ekibiina kino eky’enkumi n’enkumi z’abantu, nga mw’otwalidde n’abalwadde, abaali bamulindiridde. (Matayo 14:14; Makko 6:44) Ng’assa essira ku kyakubiriza Yesu okulaga obusaasizi era ne Kye yakola, Makko yawandiika: “N’alaba ebibiina bingi, n’abasaasira, kubanga baali ng’endiga ezitalina musumba; n’atanula okubayigiriza ebigambo bingi.” (Makko 6:34) Yesu teyalaba bulabi nnamungi w’abantu. Yalaba abantu kinnoomu abalina ebyetaago eby’eby’omwoyo. Baalinga endiga ezibuze, ezitalina musumba ow’okuzitwala ku ttale oba okuzikuuma. Yesu yali amanyi nti abakulembeze b’eddiini abataalina busaasizi, abandibadde abasumba abafaayo, baanyoomanga bunyoomi abantu aba bulijjo era ne basuulirira ebyetaago byabwe eby’eby’omwoyo. (Ezeekyeri 34:2-4; Yokaana 7:47-49) Yesu yayagala abayise mu ngeri ya njawulo, ng’abakolera ekisingayo obulungi. Yatandika okubayigiriza ku Bwakabaka bwa Katonda.
6, 7. (a) Enjiri ziraga nti Yesu yakulembeza ki ng’akola ku byetaago by’abantu? (b) Kiki ekyakubiriza Yesu okubuulira n’okuyigiriza?
6 Weetegereze engeri ebintu gye byaddiriŋŋamu, n’ekiragibwa nti kye kyakulembezebwa mu kifo ekirala we boogera ku byaliwo bino. Bino byawandiikibwa Lukka, eyali omusawo era ng’afaayo ku bulamu bw’abalala. “Ebibiina . . . ne [bagoberera Yesu]; n’abaaniriza, n’ayogera nabo ebigambo by’Obwakabaka bwa Katonda, n’abaali beetaaga okuwonyezebwa n’abawonya.” (Lukka 9:11, italiki zaffe; Abakkolosaayi 4:14) Wadde tekiri bwe kityo ku buli nsonga yonna ekwata ku byamagero, ku luno, Lukka bye yawandiika ebyaluŋŋamizibwa bisooka kwogera ku ki? Nti Yesu yayigiriza abantu.
7 Mu butuufu kino kikwatagana n’ekiteekebwako essira mu Makko 6:34. Olunyiriri olwo lulaga bulungi engeri Yesu gye yakubirizibwamu okulaga obusaasizi. Yayigiriza abantu okusobola okukola ku byetaago byabwe eby’eby’omwoyo. Emabegako mu buweereza bwe, Yesu yali agambye: “Kiŋŋwanidde okubuulira enjiri ey’obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala; kubanga kye kyantumya.” (Lukka 4:43) Kyokka, twandibadde bakyamu singa tulowooza nti Yesu yalangirira obubaka bw’Obwakabaka okutuukiriza obutuukiriza omukolo. Nedda, obusaasizi bwe yalina eri abantu bwe bwamukubiriza okubabuulira amawulire amalungi. Ekisingayo obulungi Yesu kye yali ayinza okukolera—abalwadde, abaliko lubaale, abaavu, oba abalumwa enjala—kwe kubayamba okumanya, okukkiriza, n’okwagala amazima agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Amazima ago gaali makulu nnyo olw’ekifo Obwakabaka kye bulina mu kulaga obutuufu bw’obufuzi bwa Yakuwa era n’okusobozesa abantu okufuna emikisa egy’olubeerera.
8. Yesu yalowooza atya ku kubuulira kwe n’okuyigiriza kwe?
8 Yesu okunyiikirira okubuulira Obwakabaka ye nsonga enkulu lwaki yajja ku nsi. Ng’anaatera okukomekkereza obuweereza bwe obw’oku nsi, Yesu yagamba Piraato: “Nze nnazaalirwa ekyo, n’ekyo kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima. Buli ow’amazima awulira eddoboozi lyange.” (Yokaana 18:37) Twalaba mu bitundu ebibiri ebivuddeko nti Yesu yali muntu alina enneewulira—afaayo, atuukirikika, afaayo ku nneewulira z’abalala, eyeesiga abalala, era n’okusinga byonna, ow’okwagala. Twetaaga okutegeera engeri ze ezo singa ddala tuli ba kutegeera endowooza ya Kristo. Era kikulu okutegeera nti endowooza ya Kristo etwaliramu okutegeera nti yakulembeza omulimu gwe ogw’okubuulira n’okuyigiriza.
Yakubiriza Abalala Okuwa Obujulirwa
9. Baani abaalina okukulembeza okubuulira n’okuyigiriza?
9 Okukulembeza okubuulira n’okuyigiriza—ng’ekikolwa eky’okwagala n’obusaasizi—tekyali kya kukolebwa Yesu yekka. Yakubiriza abagoberezi be okukoppa ebiruubirirwa bye, bye yakulembeza, era n’ebikolwa bye. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’okulonda abatume be 12, bandikoze ki? Makko 3:14, 15 zitutegeeza nti: “N’ayawulamu ekkumi n’ababiri okubeeranga awamu naye, era abatumenga okubuulira, n’okuba n’obuyinza okugobanga emizimu.” (Italiki zaffe) Olaba abatume kye baalina okukulembeza?
10, 11. (a) Ng’atuma abatume, Yesu yabagamba kukola ki? (b) Mu kutuma abatume, kiki ekyateekebwako essira?
10 Ekiseera bwe kyayitawo, Yesu yasobozesa 12 okuwonya abalala era n’okugoba emizimu. (Matayo 10:1; Lukka 9:1) Oluvannyuma yabatuma okugenda eri “endiga ezaabula ez’omu nnyumba ya Isiraeri.” Okukola ki? Yesu yabalagira: “Bwe mubanga mutambula mubuulirenga nga mugamba nti Obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka. Muwonyenga abalwadde, muzuukizenga abafu, mulongoosenga abagenge, mugobenga dayimooni.” (Matayo 10:5-8; Lukka 9:2) Mu butuufu baakola ki? “Ne bagenda [1] ne babuulira okwenenya. [2] Ne bagoba dayimooni mungi, ne basiiga amafuta ku balwadde bangi ne babawonya.”—Makko 6:12, 13.
11 Okuva okuyigiriza bwe kutasooka kwogerwako ku buli mulundi, okwetegereza ensengeka eyo waggulu, tekiba kuteeka ssira erisukkiridde ku kirina okukulembezebwa oba ku biruubirirwa ebizingirwamu? (Lukka 10:1-8) Kyokka, tetulina kubuusa maaso emirundi emingi okuyigiriza bwe kusooka okwogerwako n’oluvannyuma okuwonya ne kulyoka kwogerwako. Lowooza ku nnyiriri eziriraanyewo ezikwata ku nsonga eno. Nga tannatuma abatume 12, Yesu yali akwatiddwako embeera ebibiina by’abantu gye baalimu. Tusoma: “Yesu n’ayitayita mu bibuga byonna, n’embuga zonna, ng’ayigiriza mu makuŋŋaniro gaabwe, ng’abuulira enjiri ey’obwakabaka, ng’awonya endwadde zonna n’obunafu bwonna. Naye bwe yalaba ebibiina, n’abisaasira, kubanga baali bakooye nnyo nga basaasaanye, ng’endiga ezitalina musumba. N’alyoka agamba abayigirizwa be nti Eby’okukungula bye bingi, naye abakozi be batono. Kale musabe Omwami w’eby’okukungula, asindike abakozi mu by’okukungula bye.”—Matayo 9:35-38.
12. Ebikolwa bya Yesu n’abatume eby’eby’amagero byandituukirizza kigendererwa ki ekirala?
12 Nga babeera naye, abatume bandiyize endowooza ya Kristo. Baakitegeera nti okulaga abantu okwagala n’ekisa kyali kitwaliramu okubuulira n’okuyigiriza ku Bwakabaka—ekyo kye kyandibadde ekintu ekikulu mu bikolwa byabwe ebirungi. Nga kituukana n’ekyo, ebikolwa ebirungi eby’omubiri, gamba ng’okuwonya abalwadde, byatuukiriza ekisingawo ku kuyamba obuyambi abaali mu bwetaavu. Nga bw’oyinza okuteebereza, abantu abamu bayinza okusikirizibwa olw’okuwonyezebwa n’emmere egabibwa mu ngeri y’ekyamagero. (Matayo 4:24, 25; 8:16; 9:32, 33; 14:35, 36; Yokaana 6:26) Kyokka, ng’oggyeko okuyamba abantu mu by’omubiri, ebikolwa ebyo mu butuufu byaleetera abalabi okutegeera nti Yesu ye yali Omwana wa Katonda era “nnabbi” Musa gwe yalagulako.—Yokaana 6:14; Ekyamateeka 18:15.
13. Obunnabbi obuli mu Ekyamateeka 18:18 bwaggumiza mulimu ki ogwa “nnabbi” eyali ow’okujja?
13 Lwaki kyali kya makulu nti Yesu ye yali “nnabbi” oyo? Omulimu omukulu ogwalagulibwa okukolebwa oyo gwe guluwa? “Nnabbi” oyo yali wa kubeera mututumufu olw’okuwonya mu ngeri y’ekyamagero oba okuwa emmere abalumwa enjala? Ekyamateeka 18:18 lwalagula: “Ndibayimusiza nnabbi ku baganda baabwe, afaanana nga ggwe [Musa]; era nditeeka ebigambo byange mu kamwa ke, era alibabuulira byonna bye ndimulagira.” Ng’abatume bayiga okwoleka engeri ennungi, bandikitegedde nti okwoleka endowooza ya Kristo kyali kitwaliramu okubuulira era n’okuyigiriza. Ekyo kye kisingayo obulungi kye bandikoledde abantu. Mu ngeri eyo, abalwadde n’abaavu bandifunye emiganyulo egy’olubeerera, so si egyo egibaawo mu bulamu bw’omuntu obumpi oba egy’okufuna ekijjulo kimu oba bibiri.—Yokaana 6:26-30.
Kulaakulanya Endowooza ya Kristo Leero
14. Okubeera n’endowooza ya Kristo kizingirwamu kitya mu kubuulira kwaffe?
14 Tewali n’omu ku ffe eyandirowoozezza nti endowooza ya Kristo yalagibwa mu kyasa ekyasooka kyokka—Yesu n’abayigirizwa be abaasooka omutume Pawulo be yawandiikako bw’ati: “Tulina endowooza ya Kristo.” (1 Abakkolinso 2:16, NW) Era twandikkirizza nti tuvunaanyizibwa okubuulira amawulire amalungi n’okufuula abayigirizwa. (Matayo 24:14; 28:19, 20) Kyokka, kya muganyulo okulowooza ku biruubirirwa bye tulina mu kukola omulimu ogwo. Tekyandibadde kutuukiriza butuukiriza mukolo. Okwagala Katonda ye nsonga enkulu etuleetera okwenyigira mu buweereza, era okweyisa nga Yesu kitwaliramu okubuulira n’okuyigiriza nga tukubirizibwa busaasizi.—Matayo 22:37-39.
15. Lwaki okulaga obusaasizi kitundu ekituukirawo mu buweereza bwaffe eri abantu?
15 Kyo kituufu nti si kyangu kusaasira abo be tutali bumu mu nzikiriza, naddala bwe tusanga abateefiirayo, bwe tugaanibwa, oba bwe tuziyizibwa. Kyokka, singa tulekera awo okwagala n’okusaasira abantu, tuyinza okufiirwa ekintu ekikulu ekitukubiriza okwenyigira mu buweereza obw’Ekikristaayo. Kati olwo, tuyinza tutya okukulaakulanya obusaasizi? Tuyinza okugezaako okulaba abantu nga Yesu bwe yabalaba, “[a]bakooye [e]nnyo nga basaasaanye, ng’endiga ezitalina musumba.” (Matayo 9:36) Ebigambo ebyo tebiraga mbeera abantu bangi leero gye balimu? Balekeddwa ttayo era bazibiddwa amaaso mu by’omwoyo abasumba b’eddiini ab’obulimba. N’ekivuddemu, tebamanyi bulagirizi obulungi obuli mu Baibuli wadde embeera z’omu Lusuku lwa Katonda, Obwakabaka bwa Katonda ze bunaatera okuleeta ku nsi. Boolekagana n’ebizibu by’obulamu ebya buli lunaku—nga mw’otwalidde obwavu, obutakkaanya mu maka, obulwadde, n’okufa—nga tebalina ssuubi lya Bwakabaka. Tulina kye beetaaga: amawulire amalungi agawonya obulamu ag’Obwakabaka bwa Katonda obwassibwawo mu ggulu!
16. Lwaki twandyagadde okubuulira abalala amawulire amalungi?
16 Bwe kityo, bw’ofumiitiriza ku byetaago eby’eby’omwoyo eby’abantu abakwetoolodde, omutima gwo tegukukubiriza okwagala okukola kyonna ky’osobola okubabuulira ku kigendererwa kya Katonda eky’okwagala? Yee, omulimu gwaffe gwoleka obusaasizi. Bwe tulumirirwa abantu nga Yesu bwe yakola, kijja kweyoleka mu ddoboozi lyaffe, ku maaso gaffe, ne mu ngeri gye tuyigirizaamu. Ebyo byonna bijja kuleetera obubaka bwaffe okusikiriza abo ‘abaagala obulamu obutaggwaawo.’—Ebikolwa 13:48, NW.
17. (a) Ngeri ki ezimu mwe tuyinza okulagira abalala okwagala n’obusaasizi? (b) Lwaki si nsonga ya kulondawo okukola ebikolwa ebirungi oba okwenyigira mu buweereza?
17 Kya lwatu nti okwagala kwaffe n’obusaasizi bwaffe bisaanidde okweyoleka mu bulamu bwaffe bwonna. Kino kitwaliramu okulaga ekisa abanyigirizibwa, abalwadde n’abaavu—nga tukola kyonna kye tusobola okukendeeza ku kubonaabona kwabwe. Kitwaliramu okufuba mu bigambo ne mu bikolwa okumalawo ennaku y’abo abafiiriddwa abaagalwa. (Lukka 7:11-15; Yokaana 11:33-35) Kyokka, okwoleka okw’okwagala, ekisa, n’obusaasizi mu ngeri ng’ezo tekiteekwa kufuuka kintu ekisinga obukulu mu bikolwa byaffe ebirungi, nga bwe kiri eri abantu abamu abafaayo ku mbeera z’abantu. Ekisingawo n’obukulu kwe kufuba okukubirizibwa engeri za Katonda ezo naye nga tuzooleseza mu kwenyigira mu mulimu gw’Ekikristaayo ogw’okubuulira n’okuyigiriza. Jjukira Yesu kye yayogera ku bakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya: “Muwa ekitundu eky’ekkumi ekya nnabbugira ne aneta ne kkumino, ne mulekayo ebigambo ebikulu eby’amateeka, obutalyanga nsonga [“obwenkanya,” NW], n’ekisa [“obusaasizi,” NW], n’okukkirizanga [“obwesigwa,” NW]: naye bino kyabagwanira okubikola, era na biri obutabirekaayo.” (Matayo 23:23) Eri Yesu teyali nsonga ya kwerobozaamu—okulondawo okuyamba abantu mu byetaago byabwe eby’omubiri oba okubayigiriza ensonga z’eby’omwoyo eziwa obulamu. Yesu yakola byombi. Wadde kyali kityo, kitegeerekeka bulungi nti omulimu gwe ogw’okuyigiriza gwe gwali gusinga obukulu kubanga ekirungi ekyaguvaamu kyandibaganyudde emirembe gyonna.—Yokaana 20:16.
18. Okwekenneenya endowooza ya Kristo kwandituleetedde kukola ki?
18 Nga tuli basanyufu nnyo nti Yakuwa atubikkulidde endowooza ya Kristo! Okuyitira mu Njiri, tuyinza okumanya mu ngeri esingawo ebirowoozo, enneewulira, engeri, ebikolwa, era n’ebyo omusajja eyasingayo okwatiikirira mu bonna abaali babaddewo bye yakulembeza. Kiri eri ffe okusoma, okufumiitiriza, n’okuteeka mu nkola ebyo Baibuli by’eyigiriza ku Yesu. Jjukira nti singa ddala tuli ba kweyisa nga Yesu, tuteekwa okusooka okuyiga okulowooza, okuwulira, n’okutunuulira ensonga nga bwe yakola, nga bwe kisoboka eri abantu abatatuukiridde. N’olwekyo, ka tubeere bamalirivu okukulaakulanya n’okwoleka endowooza ya Kristo. Tewaliwo ngeri yonna esinga eyo, ey’okweyisaamu, ey’okuyisaamu abantu, era tewali ngeri esinga eyo, etusobozesa ffe n’abalala okusemberera oyo gwe yakoppa, Katonda waffe omulungi, Yakuwa.—2 Abakkolinso 1:3; Abaebbulaniya 1:3.
Wandizzeemu Otya?
• Baibuli etulaga ki ku ngeri Yesu gye yateranga okuyamba abali mu bwetaavu?
• Yesu yaggumiza ki ng’awa abagoberezi be obulagirizi?
• Tuyinza tutya okwoleka “endowooza ya Kristo” mu bye tukola?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Kintu ki ekisingayo obulungi Abakristaayo kye bayinza okukolera abalala?