LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • cl sul. 29 lup. 348-359
  • ‘Okumanya Okwagala kwa Kristo’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Okumanya Okwagala kwa Kristo’
  • Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “Tewali Alina Kwagala Kusinga kw’Oyo”
  • “N’Abasaasira”
  • “Kitange, Basonyiwe”
  • ‘Omanyi Okwagala kwa Kristo’?
  • Okubirizibwa Munda Yo Okweyisa nga Yesu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Yayagala Nnyo Abantu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Asaasira Omugenge era Amuwonya
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Yesu Kristo—Omuminsani Eyasinga Bonna
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
See More
Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
cl sul. 29 lup. 348-359
Yesu ng’alaga omuntu obusaasizi.

ESSUULA 29

‘Okumanya Okwagala kwa Kristo’

1-3. (a) Kiki ekyaleetera Yesu okwagala okubeera nga Kitaawe? (b) Ngeri ki eziraga okwagala kwa Yesu ze tugenda okwekenneenya?

WALI olabye omwana omuto ng’agezaako okugeegeenya kitaawe? Ayinza okugeegeenya engeri taata we gy’atambulamu, gy’ayogeramu, oba gye yeeyisaamu. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, omwana ayinza okukoppa empisa za kitaawe n’engeri kitaawe gy’atwalamu ebintu eby’omwoyo. Engeri omwana gy’ayagalamu kitaawe oba gy’amwenyumiririzaamu emuleetera okwagala okumukoppa.

2 Kiri kitya ku nkolagana eriwo wakati wa Yesu ne Kitaawe ow’omu ggulu? Lumu Yesu yagamba nti: “Njagala Kitange.” (Yokaana 14:31) Tewali n’omu ayinza kwagala Yakuwa okusinga Omwana we, eyali ne Yakuwa ebbanga eggwanvu ennyo ng’ebitonde ebirala byonna tebinnabaawo. Okwagala okwo kwaleetera Omwana okwagala okubeera nga Kitaawe.—Yokaana 14:9.

3 Mu ssuula ezaasooka mu katabo kano, twayogera ku ngeri Yesu gye yakoppamu engeri Yakuwa gy’akozesaamu amaanyi ge, obwenkanya bwe, n’amagezi ge. Naye Yesu yayoleka atya okwagala Kitaawe kwe yalaga? Ka twekenneenye engeri ssatu eziraga okwagala kwa Yesu era nga ze zino, omwoyo ogw’okwerekereza, obusaasizi, n’okubeera omwetegefu okusonyiwa.

“Tewali Alina Kwagala Kusinga kw’Oyo”

4. Yesu yassaawo atya ekyokulabirako ekisingirayo eky’okwerekereza?

4 Yesu yassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo eky’okwagala okw’okwerekereza. Okwerekereza kuzingiramu okukulembeza ebyetaago by’abalala so si ebyaffe. Yesu yayoleka atya okwagala ng’okwo? Ye kennyini yagamba nti: “Tewali alina kwagala kusinga kw’oyo awaayo obulamu bwe ku lwa mikwano gye.” (Yokaana 15:13) Kyeyagalire Yesu yawaayo obulamu bwe obutuukiridde ku lwaffe. Kye kikolwa eky’okwagala ekisingirayo ddala omuntu yenna kye yali akoze. Kyokka Yesu yayoleka okwagala okw’okwerekereza ne mu ngeri endala.

5. Lwaki tugamba nti Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka yayoleka okwagala okw’okwerekereza bwe yava mu ggulu?

5 Nga tannajja ku nsi, Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka yalina ekifo eky’ekitiibwa mu ggulu. Yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa awamu n’ebitonde eby’omwoyo ebirala bingi nnyo. Wadde nga yalina enkizo ezo, Omwana ono omwagalwa “yeggyako buli kye yalina n’aba ng’omuddu, era n’afuuka omuntu.” (Abafiripi 2:7) Kyeyagalire, yajja okubeera mu bantu aboonoonyi mu nsi “eri mu buyinza bw’omubi.” (1 Yokaana 5:19) Mazima ddala Omwana wa Katonda yayoleka okwagala okw’okwerekereza.

6, 7. (a) Mu ngeri ki Yesu gye yalagamu okwagala okw’okwerekereza? (b) Kyakulabirako ki ekirungi ekyoleka okwagala okw’okwerekereza ekiri mu Yokaana 19:25-27?

6 Mu buweereza bwe bwonna ku nsi, Yesu yayoleka okwagala okw’okwerekereza mu ngeri nnyingi. Yali teyeerowoozaako yekka. Yeemalira ku buweereza bwe ne kiba nti yeerekereza ebintu bingi ebyandibadde bimusobozesa okuba obulungi. Yagamba nti: “Ebibe birina we bisula n’ebinyonyi birina ebisu, naye Omwana w’omuntu talina w’assa mutwe gwe.” (Matayo 8:20) Olw’okuba Yesu yali mubazzi mukugu, yandisobodde okwezimbira ennyumba ennungi oba okukola ebibajje ebirungi n’abitunda asobole okufuna ssente. Kyokka teyakozesa bukugu bwe kwefunira bintu.

7 Ekyokulabirako ekirungi ennyo ekyoleka okwagala kwa Yesu okw’okwerekereza kiri mu Yokaana 19:25-27. Yesu ateekwa okuba nga yalina ebintu bingi mu birowoozo ku lunaku lwe yattibwa. Wadde yali mu bulumi bungi ng’ali ku muti, yali alowooza nnyo ku bayigirizwa be, ku mulimu gw’okubuulira, era n’okusingira ddala ku bwesigwa bwe n’engeri gye bwandikutte ku linnya lya Kitaawe. Mu butuufu, ebiseera eby’omu maaso eby’abantu bonna byali byesigamye ku Yesu! Kyokka ng’ebulayo akaseera katono afe, Yesu era yalaga nti afaayo ne ku nnyina, Maliyamu, kirabika eyali nnamwandu mu kiseera ekyo. Yesu yasaba omutume Yokaana okulabirira Maliyamu, nga gy’obeera nti Maliyamu yali maama wa Yokaana. Era oluvannyuma lw’ekyo, Yokaana yatwala Maliyamu ewuwe. Bwe kityo, Yesu yakola enteekateeka ez’okulabirira nnyina mu by’omubiri ne mu by’omwoyo. Ng’ekyo kyali kikolwa kirungi nnyo ekyoleka okwagala okw’okwerekereza!

“N’Abasaasira”

8. Ekigambo ky’Oluyonaani Bayibuli ky’ekozesa okwogera ku busaasizi bwa Yesu kirina makulu ki?

8 Okufaananako Kitaawe, Yesu yali musaasizi. Ebyawandiikibwa biraga nti Yesu yafubanga okuyamba abali mu nnaku kubanga yabakwatirwanga ekisa. Bw’eba eyogera ku busaasizi bwa Yesu, Bayibuli ekozesa ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “n’abasaasira.” Omwekenneenya omu yagamba nti: “[Ekigambo ekyo] kyogera . . . ku nneewulira etuukira ddala ku ntobo y’omutima gw’omuntu. Kye kigambo ky’Oluyonaani ekisingayo okunnyonnyola obusaasizi.” Lowooza ku mbeera zino eziraga engeri Yesu gye yasaasiramu abantu era n’abaako ky’akolawo.

9, 10. (a) Kiki ekyaviirako Yesu n’abatume be okunoonya ekifo ekisirifu? (b) Abantu bwe baayingirira eddembe lye, Yesu yakolawo ki, era lwaki?

9 Yakola ku byetaago eby’omwoyo. Ebiri mu Makko 6:30-34, biraga ekyasinga okukubiriza Yesu okusaasira abalala. Lowooza ku ebyo ebyaliwo. Abatume baali basanyufu kubanga baali baakamala okubuulira mu bifo ebitali bimu. Baddayo eri Yesu ne bamutegeeza byonna bye baali balabye ne bye baali bawulidde. Naye ekibiina ky’abantu kyakuŋŋaana, ne kiremesa Yesu n’abatume okufuna wadde akadde okulya. Kyokka olw’okuba Yesu yalaba nti abatume be baali bakooye, yabagamba nti “Mujje tugende mu kifo etali bantu muwummuleko.” Baasaabalira mu lyato ku Nnyanja y’e Ggaliraaya okugenda mu kifo ekisirifu etaali bantu. Naye abantu abamu baabalaba era abalala ne bakiwulirako nti bagenda. Abantu abo bonna badduka nga bayita ku lukalu ne basooka Yesu n’abatume okutuukayo!

10 Yesu yanyiiga nti baali bayingiridde eddembe lye? Nedda. Yakwatibwako nnyo bwe yalaba ekibiina ky’abantu kino, ekyalimu enkumi n’enkumi z’abantu, nga bamulindiridde. Makko yawandiika nti: “N’alaba ekibiina ky’abantu ekinene n’abasaasira kubanga baali ng’endiga ezitalina musumba. Awo n’atandika okubayigiriza ebintu bingi.” Yesu yalaba nti abantu baali beetaaga okuyigirizibwa ebikwata ku Katonda. Baalinga endiga ezibuze ezitalina musumba ow’okuziwa obulagirizi n’okuzikuuma. Yesu yali akimanyi nti abakulembeze b’eddiini abaali basuubirwa okubeera abasumba abafaayo, baali tebafaayo n’akamu ku bantu aba bulijjo. (Yokaana 7:47-49) Yakwatirwa abantu abo ekisa, era n’atandika okubayigiriza ebintu bingi “ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda.” (Lukka 9:11) Weetegereze nti Yesu yakwatirwa abantu abo ekisa nga tannaba na kumanya obanga bandikkirizza bye yali agenda okubayigiriza. Mu ngeri endala, obusaasizi bwe tebwajjawo luvannyuma lwa kuyigiriza bantu wabula bwe bwamukubiriza okubayigiriza.

Yesu alaga omugenge obusasizi ng’amukwatako. Abaliwo beenyinyala omugenge olw’endabika ye.

‘Yagolola omukono gwe n’amukwatako’

11, 12. (a) Abagenge baatwalibwanga batya mu kiseera Bayibuli we yawandiikibwa, naye Yesu yakola ki bwe yatuukirirwa omusajja eyali “ajjudde ebigenge”? (b) Omugenge yawulira atya Yesu bwe yamukwatako, era ekyokulabirako ky’omusawo omu kikakasa kitya ekyo?

11 Yakendeeza ku kubonaabona kw’abalala. Abantu abaalina endwadde ezitali zimu baakiraba nti Yesu yali musaasizi, era tebaatya kumutuukirira. Kino kyeyoleka bulungi lumu bwe yali n’ekibiina ky’abantu, n’atuukirirwa omusajja “ajjudde ebigenge.” (Lukka 5:12) Mu biseera by’edda, abagenge baayawulibwanga ku balala baleme okubasiiga obulwadde. (Okubala 5:1-4) Naye ekiseera bwe kyayitawo, balabbi baatumbula endowooza ekwata ku bagenge etaali ya busaasizi era ne bassaawo amateeka agaali ganyigiriza ennyo abagenge.a Kyokka weetegereze ekyo Yesu kye yakolera omugenge. Bayibuli egamba nti: “Omugenge n’ajja gy’ali n’afukamira n’amwegayirira nti: ‘Bw’oba oyagala, osobola okunfuula omulongoofu.’ N’amusaasira, n’agolola omukono gwe, n’amukwatako, n’amugamba nti: ‘Njagala! Fuuka mulongoofu.’ Amangu ago ebigenge ne bimuvaako n’afuuka mulongoofu.” (Makko 1:40-42) Yesu yali akimanyi nti kyali kimenya mateeka omugenge okubeera mu bantu abalala. Kyokka mu kifo ky’okumugobaganya, yamukwatirwa ekisa era n’akola ekintu ekyali kitasuubirwa. Yamukwatako!

12 Oyinza okuteeberezamu engeri omugenge gye yawuliramu bwe yakwatibwako? Lowooza ku kyokulabirako kino. Dr. Paul Brand, omukugu ku bulwadde bw’ebigenge, ayogera bw’ati ku mugenge gwe yajjanjaba mu Buyindi. Bwe yali amukebera, yateeka omukono gwe ku bibegaabega by’omugenge n’amunnyonnyola okuyitira mu mutaputa, obujjanjabi omusajja oyo bwe yalina okufuna. Omugenge yatandika okukaaba. Omusawo yabuuza nti, “Nnina kye njogedde ekimunyiiziza?” Omutaputa yabuuza omusajja mu lulimi lwe era oluvannyuma n’agamba omusawo nti: “Nedda, musawo. Agamba nti akaaba lwa kuba otadde omukono gwo ku bibegaabega bye. Abadde amaze emyaka mingi nnyo nga tewali muntu amukwatako.” Eri omugenge eyajja eri Yesu, okumukwatako kyalina n’amakulu agasingawo. Oluvannyuma lw’okumukwatako, endwadde eyali emuleetedde okuboolebwa yawona!

13, 14. (a) Yesu yasanga baani bwe yali anaatera okutuuka mu kibuga ky’e Nayini, era lwaki embeera eyo yali ya nnaku nnyo? (b) Olw’obusaasizi, Yesu yakolera ki nnamwandu w’e Nayini?

13 Yakendeeza ennaku y’abalala. Yesu yakwatibwako nnyo olw’ennaku y’abalala. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku biri mu Lukka 7:11-15. Ebyo byaliwo bwe yali mu buweereza bwe ng’ayolekera ekibuga Nayini eky’omu Ggaliraaya. Yesu bwe yali anaatera okutuuka ku mulyango gw’ekibuga, yasanga abaali bagenda okuziika. Embeera yali ya nnaku nnyo. Omwana nnamwandu gwe yalina yekka yali afudde. Kyandiba ng’emabegako yali mu mbeera y’emu ng’agenda okuziika bbaawe. Ku luno yali agenda kuziika mutabani we, oboolyawo nga ye yali amulabirira. Ekibiina ky’abantu ekyali kimuwerekerako kiyinza okuba nga kyalimu abakungubazi abakuba ebiwoobe n’abayimba ennyimba ez’okukungubaga. (Yeremiya 9:17, 18; Matayo 9:23) Kyokka Yesu yeekaliriza maama eyali mu nnaku ennyingi, era n’asemberera akatanda akaaliko omulambo gwa mutabani we.

14 Yesu ‘yasaasira’ maama eyali akungubaga. Mu ddoboozi erizzaamu amaanyi yamugamba nti: “Lekera awo okukaaba.” Yabasemberera era n’akwata ku katanda. Abaali bakasitudde, oboolyawo n’ekibiina kyonna, baayimirira. Mu ddoboozi ery’omwanguka, Yesu yagamba nti: “Muvubuka, nkugamba nti, situka!” Kiki ekyaddirira? “Oyo eyali afudde n’asituka n’atandika okwogera” nga gy’obeera azuukusiddwa mu tulo! Bayibuli era egattako nti: “N’amuwa nnyina.”

15. (a) Bayibuli by’eyogera ku ngeri Yesu gye yasaasiramu abalala biraga kakwate ki akaliwo wakati w‘obusaasizi n’ebikolwa? (b) Tuyinza tutya okukoppa Yesu?

15 Kiki kye tuyiga mu ebyo ebyaliwo? Mu buli mbeera, weetegereze akakwate akaliwo wakati w’obusaasizi n’ebikolwa. Yesu yalaba ennaku y’abalala n’abasaasira, era bwe yabasaasira yabaako ky’akolawo. Tuyinza tutya okumukoppa? Abakristaayo tulina obuvunaanyizibwa okubuulira amawulire amalungi n’okufuula abantu abayigirizwa. Okusingira ddala okwagala kwe tulina eri Katonda kwe kutuleetera okukola ekyo. Era tusaanidde okukijjukira nti omulimu guno gwoleka obusaasizi. Bwe tulumirirwa abantu nga Yesu, omutima gwaffe gujja kutukubiriza okukola kyonna kye tusobola okubabuulira amawulire amalungi. (Matayo 22:37-39) Ate bo bakkiriza bannaffe ababa babonaabona oba abakungubaga? Tetuyinza kuggyawo kubonaabona oba okuzuukiza abafu. Kyokka tuyinza okubasaasira nga tubaako ne kye tukolawo okubayamba.—Abeefeso 4:32.

“Kitange, Basonyiwe”

16. Yesu yalaga atya nti yali mwetegefu okusonyiwa ne bwe yali ku muti ng’akomereddwa?

16 Yesu yayoleka bulungi okwagala kwa Kitaawe mu ngeri endala enkulu. Yali “mwetegefu okusonyiwa.” (Zabbuli 86:5) Kino kyeyoleka bwe yali ku muti gwe yakomererwako. Bwe yali ku muti ogwo ng’ali mu bulumi obw’amaanyi ennyo, yayogera ku ki? Yasaba Yakuwa okubonereza abaamukomerera? Teyakola bw’atyo, wabula yagamba nti: “Kitange, basonyiwe kubanga tebamanyi kye bakola.”—Lukka 23:34.b

17-19. Yesu yakiraga atya nti yali asonyiye omutume Peetero olw’okumwegaana emirundi esatu?

17 Oboolyawo ekyokulabirako ekisingawo ekyoleka engeri Yesu gy’asonyiwamu kirabibwa mu ngeri gye yayisaamu omutume Peetero. Awatali kubuusabuusa Peetero yali ayagala nnyo Yesu. Nga Nisaani 14, ekiro ekyasembayo Yesu alyoke attibwe, Peetero yamugamba nti: “Mukama wange, ndi mwetegefu okugenda naawe mu kkomera era n’okufa naawe.” Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera kitono, Peetero yeegaana Yesu emirundi esatu! Bayibuli etutegeeza ekyaliwo Peetero bwe yeegaana Yesu omulundi ogw’okusatu. Egamba nti: “Mukama waffe n’akyuka n’atunuulira Peetero.” Olw’ekibi ekyo eky’amaanyi kye yakola, Peetero ‘yafuluma wabweru n’akaaba nnyo.’ Yesu bwe yamala okufa, omutume oyo ayinza okuba yeebuuza, ‘Mukama wange yansonyiwa?’—Lukka 22:33, 61, 62.

18 Peetero teyalinda kiseera kiwanvu okufuna eky’okuddamu. Yesu bwe yazuukira nga Nisaani 16, ku lunaku olwo yalabikira Peetero. (Lukka 24:34; 1 Abakkolinso 15:4-8) Lwaki Yesu yafaayo nnyo ku mutume eyamwegaana ne ssekwegaana yenna? Yesu ayinza okuba nga yali ayagala okukakasa Peetero eyali yeenenyezza nti yali akyamwagala era ng’amutwala nga wa muwendo. Kyokka yakola ekisingawo ku kukakasa obukakasa Peetero nti yali akyamwagala.

19 Oluvannyumako, Yesu yalabikira abayigirizwa be ku Nnyanja y’e Ggaliraaya. Ku mulundi guno, emirundi esatu yabuuza Peetero (eyali amwegaanye emirundi esatu) obanga ddala yali amwagala. Oluvannyuma lw’omulundi ogw’okusatu, Peetero yaddamu nti: “Mukama wange, omanyi ebintu byonna; okimanyi nti nkwagala.” Kya lwatu nti olw’okuba Yesu yali asobola okusoma emitima, yali amanyi bulungi nti Peetero amwagala. Kyokka Yesu yawa Peetero omukisa okwoleka okwagala kwe. Okugatta ku ekyo, Yesu yawa Peetero omulimu ‘ogw’okuliisa’ era ‘n’okulundanga endiga’ ze. (Yokaana 21:15-17) Emabegako, Peetero yali aweereddwa omulimu gw’okubuulira. (Lukka 5:10) Naye kati, ng’alaga nti amulinamu obwesige, Yesu yamuwa obuvunaanyizibwa obulala obw’amaanyi. Yamugamba okulabirira abo abandifuuse abagoberezi ba Kristo. Nga wayiseewo ekiseera kitono, Yesu yawa Peetero ekifo ekikulu mu mulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa. (Ebikolwa 2:1-41) Nga Peetero ateekwa okuba yafuna obuweerero bwe yamanya nti Yesu yali amusonyiye era nti akyamulinamu obwesige!

‘Omanyi Okwagala kwa Kristo’?

20, 21. Tuyinza tutya ‘okumanya okwagala kwa Kristo’ mu bujjuvu?

20 Mazima ddala, Ekigambo kya Yakuwa kinnyonnyola bulungi nnyo okwagala kwa Kristo. Naye okwagala kwa Yesu kwandituleetedde kukola ki? Bayibuli egamba nti: “Mumanye okwagala kwa Kristo okusingira ewala okumanya.” (Abeefeso 3:19) Nga bwe twalabye, ebyo ebitabo by’Enjiri bye byogera ku bulamu bwa Yesu n’obuweereza bwe, bituyigiriza bingi ku kwagala kwa Kristo. Kyokka ‘okumanya okwagala kwa Kristo’ mu bujjuvu kisingawo ku kumanya obumanya Bayibuli by’emwogerako.

21 Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa ‘okumanya’ kitegeeza okumanya ebintu ‘okuyitira mu ebyo by’oyiseemu.’ Bwe twoleka okwagala nga Yesu, nga tuyamba abalala, nga tukola ku byetaago byabwe, era nga tubasonyiwa okuviira ddala ku mutima, awo tuba tusobola okutegeera enneewulira ye. Mu ngeri eyo, okuyitira mu ebyo bye tuyiseemu, ‘tumanya okwagala kwa Kristo okusinga okumanya kwonna.’ Era tetusaanidde kwerabira nti gye tukoma okubeera nga Kristo, gye tukoma okubeera n’enkolagana ennungi n’oyo Yesu gwe yakoppa, Yakuwa Katonda waffe ow’okwagala.

a Amateeka ga balabbi gaali gaagamba nti ebbanga omuntu lye yandisemberedde omugenge teryandisse wansi wa ffuuti mukaaga. Naye singa empewo yali ekunta, ebbanga abantu lye bandisemberedde omugenge teryandisse wansi wa ffuuti 150. Ekitabo Midrash Rabbah kyogera ku labbi eyeekwekanga abagenge n’omulala eyabakasukiranga amayinja okubagoba. N’olwekyo, abagenge baali bamanyi bulungi nnyo obulumi bw’okuboolebwa, okunyoomebwa, n’okukyayibwa.

b Ekitundu ekisooka ekya Lukka 23:34 tekisangibwa mu biwandiiko ebimu eby’edda. Kyokka olw’okuba ebigambo ebyo bisangibwa mu biwandiiko ebirala ebyesigika bingi, byateekebwa mu Enkyusa ey’Ensi Empya n’enkyusa endala nnyingi. Kirabika Yesu yali ayogera ku basirikale Abaruumi abaamukomerera. Baali tebamanyi kye bakola kubanga baali tebamanyi Yesu kye yali. Era oboolyawo yali ategeeza Abayudaaya abaasaba attibwe naye oluvannyuma abandibadde bamukkiririzaamu. (Ebikolwa 2:36-38) Kya lwatu, abakulembeze b’eddiini abaakola olukwe olw’okumutta be baali basinga okuvunaanyizibwa, kubanga baakikola mu bugenderevu. Bangi ku bo baali tebasobola kusonyiyibwa.—Yokaana 11:45-53.

Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako

  • Matayo 9:35-38 Yesu yasaasira atya abalala, era kino kyanditukutteko kitya?

  • Yokaana 13:34, 35 Lwaki kikulu ffe okwoleka okwagala kwa Kristo?

  • Abaruumi 15:1-6 Tuyinza tutya okukoppa endowooza ya Kristo ey’obuteefaako yekka?

  • 2 Abakkolinso 5:14, 15 Okutegeera n’okusiima ekinunulo kyandikoze ki ku ngeri gye tutunuuliramu obulamu, ebiruubirirwa byaffe, n’engeri gye tweyisaamu?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share