LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 1/15 lup. 3-7
  • ‘Jjangu Ongoberere’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Jjangu Ongoberere’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Lwaki Tugoberera Yesu?
  • Koppa Engeri Yesu gye Yayolekamu Amagezi
  • Ba Mwetoowaze nga Yesu
  • Ba Munyiikivu nga Yesu
  • Okugoberera Yesu Kitegeeza Okwagala Abalala
  • Lwaki Tusaanidde Okugoberera “Kristo”?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Yesu Yali Mwetoowaze
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Koppa Ekyokulabirako kya Yesu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • ‘Mbateereddewo Ekyokulabirako’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 1/15 lup. 3-7

‘Jjangu Ongoberere’

“Omuntu bw’ayagala okungoberera, yeefiirize yekka, yeetikkenga [omuti gwe ogw’okubonaabona] buli lunaku, angoberere.”​—LUK. 9:23.

1, 2. (a) Yesu yayita abantu bakole ki? (b) Ggwe oyanukudde otya okuyita kwa Yesu okwo?

NG’ANAATERA okufundikira obuweereza bwe, Yesu yabuulira mu kitundu ky’e Pereya ekiri mu bukiika ddyo bwa Buyudaaya, emitala w’omugga Yoludaani. Omusajja omu yamutuukirira n’amubuuza kye yalina okukola okusobola okufuna obulamu obutaggwawo. Bwe yakitegeera nti omusajja oyo yali akwata Amateeka ga Musa, Yesu alina kye yamusaba okukola. Yamugamba: “Genda otunde byonna by’oli nabyo, ogabire abaavu, naawe oliba n’obugagga mu ggulu: olyoke ojje ongoberere.” (Mak. 10:21) Kirowoozeeko​—okuyitibwa ogoberere Yesu, Omwana eyazaalibwa omu yekka owa Katonda Ali Waggulu Ennyo!

2 Omusajja oyo yagaana okugoberera Yesu, naye abalala bakkiriza. Emabegako, Yesu yali agambye Firipo nti: “Ngoberera.” (Yok. 1:43) Kino Firipo yakikkiriza era oluvannyuma yafuuka omutume we. Yesu yayita ne Matayo amugoberere n’akkiriza. (Mat. 9:9; 10:2-4) Mu butuufu, yayita abantu bonna abaagala obutuukirivu bwe yagamba nti: “Omuntu [yenna] bw’ayagala okungoberera, yeefiirize yekka, yeetikkenga [omuti gwe ogw’okubonaabona] buli lunaku, angoberere.” (Luk. 9:23) N’olwekyo, omuntu yenna asobola okuba omugoberezi wa Yesu bw’aba nga ddala ayagala. Ggwe oyagala okuba omugoberezi we? Abasinga obungi ku ffe twayanukula dda okuyitibwa okwo, era tukubiriza n’abala okukola kye kimu bwe tugenda okubuulira.

3. Tuyinza tutya okwewala okuwaba ne tulekera awo okugoberera Yesu?

3 Eky’ennaku kiri nti abamu abakkiriza amazima ga Baibuli batuuka ekiseera ne bagaabulira. Bagenda baddirira mpola ne ‘bawaba,’ n’oluvannyuma ne balekera awo okugoberera Yesu. (Beb. 2:1) Ekyo tuyinza tutya okukyewala? Kiba kirungi okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Kiki ekyandeetera okugoberera Yesu? Okugoberera Yesu kitegeeza ki?’ Okulowooza ku by’okuddamu mu bibuuzo ebyo ebibiri kijja kutuyamba okunywerera ku kkubo eddungi lye twasalawo okukwata. Era kijja kutuyamba okukubiriza abalala okugoberera Yesu.

Lwaki Tugoberera Yesu?

4, 5. Lwaki Yesu asaanidde okutukulembera?

4 Nnabbi Yeremiya yagamba nti: “Ai Mukama, mmanyi ng’ekkubo ery’omuntu teriri mu ye yennyini: tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.” (Yer. 10:23) Ebyafaayo by’omuntu biraga obutuufu bw’ebigambo bya Yeremiya ebyo. Kyeyolese bulungi nti abantu abatatuukiridde tebasobola kwefuga bokka. Twakkiriza okugoberera Yesu oluvannyuma lw’okukiraba nti ebisaanyizo by’alina ng’Omukulembeze waffe tewali muntu yenna abirina. Ka tulabe ebimu ku bisaanyizo Yesu by’alina.

5 Ekisooka, Yakuwa kennyini ye yalonda Yesu okuba Masiya era Omukulembeze waffe. Ani ayinza okutulondera Omukulembeze omulungi okusinga Omutonzi waffe? Ekyokubiri, Yesu alina engeri ennungi ennyo ze tusobola okukoppa. (Soma Isaaya 11:2, 3.) Yatuteerawo ekyokulabirako ekituukiridde. (1 Peet. 2:21) Ekyokusatu, Yesu afaayo nnyo ku bagoberezi be, nga kino yakyoleka bwe yabafiirira. (Soma Yokaana 10:14, 15.) Era akiraga nti musumba mulungi ng’atulaga ekkubo erituleetera essanyu mu kiseera kino era erinaatutuusa mu bulamu obutaggwawo. (Yok. 10:10, 11; Kub. 7:16, 17) Olw’ensonga ezo awamu n’endala, twasalawo okugoberera Yesu. Naye, okugoberera Yesu kizingiramu ki?

6. Okugoberera Yesu kizingiramu ki?

6 Okuba abagoberezi ba Yesu tekikoma ku kweyita bweyisi Bakristaayo. Wadde ng’abantu abeeyita Abakristaayo leero bawera obuwumbi nga bubiri, ebikolwa byabwe biraga nti ‘bakozi ba bujeemu.’ (Soma Matayo 7:21-23.) Abo abalaga nti baagala okugoberera Yesu tubannyonnyola nti Abakristaayo ab’amazima balina okukoppa ekyokulabirako kye n’okukolera ku ebyo bye yayigiriza buli lunaku. Kino okusobola okukitegeera obulungi, ka twekenneenye ebimu ku bintu bye tumanyi ku Yesu.

Koppa Engeri Yesu gye Yayolekamu Amagezi

7, 8. (a) Amagezi kye ki, era lwaki Yesu yalina amagezi mangi nnyo? (b) Yesu yayoleka atya amagezi, era tuyinza tutya okumukoppa?

7 Yesu yayoleka engeri ennungi nnyingi, naye ka twetegerezeeko nnya: amagezi ge, obwetoowaze bwe, obunyiikivu bwe, n’okwagala kwe. Ekisooka, lowooza ku magezi ge​—okuba nti okumanya kwe n’okutegeera yabiteeka mu nkola. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Mu [Yesu] eby’obugagga byonna eby’amagezi n’okumanya mwe byaterekebwa.” (Bak. 2:3, NW) Amagezi agenkana awo Yesu yagaggya wa? Ye kennyini yagamba nti: “Nga Kitange bwe yanjigiriza, bwe njogera bwe ntyo.” (Yok. 8:28) Amagezi yagaggya ku Yakuwa, era tekyewuunyisa nti buli kye yakola kyabanga kya magezi.

8 Ng’ekyokulabirako, Yesu yayoleka amagezi bwe yasalawo okuba n’obulamu obwangu nga yeemalira ku kintu kimu kyokka: kukola Katonda by’ayagala. Yayoleka amagezi bwe yakozesa amaanyi ge n’ebiseera bye okutumbula omulimu gw’Obwakabaka. Naffe tugoberera ekyokulabirako kya Yesu bwe tufuba okuba ‘n’eriiso eriraba awamu’ nga twewala okumalira ebiseera byaffe n’amaanyi gaffe ku bintu ebitali bikulu mu bulamu. (Mat. 6:22) Abakristaayo bangi bafubye okwongera ku biseera bye bamala mu mulimu gw’okubuulira, mu kifo ky’okwenoonyeza eby’obugagga. Abamu basobodde n’okufuuka bapayoniya. Bw’oba oli omu ku bano, ky’okoze kirungi nnyo. ‘Okusooka okunoonya obwakabaka’ kireeta essanyu lingi awamu n’obumativu.​—Mat. 6:33.

Ba Mwetoowaze nga Yesu

9, 10. Yesu yayoleka atya obwetoowaze?

9 Engeri endala Yesu gye yayoleka mu bulamu bwe bwe bwetoowaze. Abantu abatatuukiridde batera okwagala okwegulumiza bwe bafuna obuyinza. Naye Yesu yali wa njawulo nnyo. Wadde nga yalina ekifo kikulu nnyo mu kutuukirizibwa kw’ebigendererwa bya Yakuwa, teyagezaako kwegulumiza. Kino kitukubiriza okumukoppa. Omutume Pawulo yagamba nti: “Mubeerengamu okulowooza kuli, era okwali mu Kristo Yesu; oyo bwe yasooka okubeera mu kifaananyi kya Katonda, teyalowooza kintu ekyegombebwa okwenkanankana ne Katonda, naye yeggyako ekitiibwa, bwe yatwala engeri y’omuddu, n’abeera mu kifaananyi ky’abantu.” (Baf. 2:5-7) Kino kyali kizingiramu ki?

10 Yesu yalina enkizo ey’ekitalo okuba awali Kitaawe ow’omu ggulu, naye “yeggyako ekitiibwa” ekyo. Obulamu bwe bwakyusibwa ne bussibwa mu lubuto lw’omuwala Omuyudaaya embeerera okumala emyezi mwenda okutuusa lwe yazaalibwa mu maka g’omusajja eyali omubazzi. Mu maka ga Yusufu ago Yesu mwe yakulira okuva obuto okutuuka lwe yavubuka. Wadde nga yali atuukiridde, yalaga obuwulize eri bazadde be abaali batatuukiridde. (Luk. 2:51, 52) Nga yalaga obwetoowaze bwa nsusso!

11. Tuyinza tutya okukoppa obwetoowaze bwa Yesu?

11 Tulaga obwetoowaze ng’obwa Yesu bwe tukkiriza okukola emirimu egirabika ng’egya wansi. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku kubuulira amawulire amalungi. Omulimu ogwo guyinza okulabika ng’ogwa wansi, naddala ng’abantu tebaagala kuwuliriza, nga batusekerera, oba nga batuyisa bubi. Kyokka bwe tugukola n’obunyiikivu, tuba tuyamba abalala okufuuka abagoberezi ba Yesu. Kino kiyamba mu kuwonyawo obulamu. (Soma 2 Timoseewo 4:1-5.) Ekyokulabirako ekirala kye ky’okuyonja Ekizimbe ky’Obwakabaka. Kino kizingiramu okukola ebintu ng’okwera, okulondalonda ebisasiro, okusiimula, n’okulongoosa bukabuyonjo, nga bino byonna bitwetaagisa okuba abeetoowaze! Tukimanyi nti okuyonja Ekizimbe ky’Obwakabaka​—ekifo we tusinziza Katonda owa mazima​—kitundu kya buweereza bwaffe obutukuvu. N’olwekyo, bwe twewaayo okukola emirimu egirabika ng’egya wansi, tuba twoleka obwetoowaze era tuba tutambulira mu bigere bya Kristo.

Ba Munyiikivu nga Yesu

12, 13. (a) Yesu yayoleka atya obunyiikivu, era kiki ekyamuleetera okukola atyo? (b) Kiki ekinaatuyamba okuba abanyiikivu mu kubuulira?

12 Lowooza ku bunyiikivu Yesu bwe yalaga mu buweereza bwe. Yesu yakola ebintu bingi ng’ali ku nsi. Mu buto bwe ateekwa okuba nga yakolanga ne kitaawe eyamukuza, Yusufu, eyali omubazzi. Mu buweereza bwe, Yesu yakola ebyamagero bingi, omwali okuwonya abalwadde n’okuzuukiza abafu. Naye omulimu gwe omukulu kwali kubuulira mawulire amalungi n’okuyigiriza abo abaali baagala okuwuliriza. (Mat. 4:23) Ng’abagoberezi be, naffe tulina okukola omulimu gwe gumu. Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kye? Engeri emu gye tuyinza okukikola kwe kuba n’ebigendererwa ng’ebya Yesu nga tukola omulimu ogwo.

13 Okusingira ddala, okwagala Katonda kwe kwaleetera Yesu okubuulira n’okuyigiriza abantu. Naye n’amazima ge yayigirizanga yali agaagala nnyo. Yali agatwala ng’ekintu eky’omuwendo ennyo, era yafuba okugayigiriza abalala. Ng’abasomesa oba ‘abayigiriza,’ naffe amazima ago tugatwala mu ngeri y’emu. Lowooza ku bintu eby’omuwendo bye tuyize mu Kigambo kya Katonda! Tumanyi engeri obufuzi bwa Katonda gye bwasoomoozebwamu n’engeri ensonga eyo gy’ejja okugonjoolwamu. Tumanyi bulungi Ebyawandiikibwa kye byogera ku mbeera y’abafu n’emikisa gye tujja okufuna mu nsi empya. Ka kibe nti ebintu ebyo kye tujje tubiyige oba twabiyiga dda, bisigala nga bya muwendo. (Soma Matayo 13:52.) Ebintu ebyo bwe tubibuulira abalala n’ebbugumu, tuba tukyoleka nti Yakuwa by’atuyigiriza tubyagala.

14. Tuyinza tutya okukoppa engeri Yesu gye yayigirizaamu?

14 Ate era weetegereze engeri Yesu gye yayigirizangamu. Yajulizanga nnyo Ebyawandiikibwa. Emirundi mingi bwe yabanga atandika okwogera ku nsonga enkulu yagambanga nti: “Kyawandiikibwa.” (Mat. 4:4; 21:13) Yajuliza ebyawandiikibwa okuva mu bitabo ebisinga obungi eby’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Okufaananako Yesu, tulina okukozesa ennyo Baibuli nga tubuulira n’okufuba okusomera abantu Ebyawandiikibwa bwe kiba kisoboka. Bwe tukola tutyo, tuba tuyamba abo abalina emitima emirungi okukiraba nti bye tusomesa bya Katonda, so si baffe. Nga kituwa essanyu lingi okulaba omuntu ng’akkirizza okusoma Baibuli n’okutegeera ebintu eby’omuwendo ebiri mu Kigambo kya Katonda! Abantu ng’abo bwe bakkiriza okufuuka abagoberezi ba Yesu, essanyu lijjula okututta.

Okugoberera Yesu Kitegeeza Okwagala Abalala

15. Yesu yayoleka ngeri ki ey’ekitalo, era tukwatibwako tutya bwe tugifumiitirizaako?

15 Engeri Yesu gye yayoleka gye tugenda okusembayo okwogerako y’esinga okubuguumiriza​—okwagala kwe eri abantu. Omutume Pawulo yagamba nti: “Okwagala kwa Kristo kutuwaliriza.” (2 Kol. 5:14) Bwe tufumiitiriza ku ngeri Yesu gy’ayagalamu abantu bonna okutwalira awamu, ne gy’atwagalamu kinnoomu, tukwatibwako nnyo era ne tusikirizibwa okugoberera ekyokulabirako kye.

16, 17. Yesu yalaga atya ababala okwagala?

16 Yesu yalaga atya abalala okwagala? Okuwaayo obulamu bwe ku lw’abantu bonnna kye kikolwa eky’okwagala ekisingayo obulungi. (Yok. 15:13) Kyokka era ne mu buweereza bwe, Yesu yayoleka okwagala. Ng’ekyokulabirako, yali alumirirwa abantu ababonaabona. Yakwatibwa ennaku ey’amaanyi bwe yalaba Malyamu ne banne nga bakaabira Lazaalo eyali afudde. Wadde nga yali agenda kumuzuukiza, Yesu ‘yakaaba amaziga.’​—Yok. 11:32-35.

17 Yesu bwe yali yaakatandika obuweereza bwe, omugenge yajja gy’ali n’amugamba nti: “Bw’oyagala, oyinza okunnongoosa.” Yesu yamuddamu atya? Baibuli egamba nti: ‘Yamusaasira.’ Era yamukolera ekintu ekitaali kya bulijjo. ‘Yagolola omukono gwe n’amukwatako era n’amugamba nti Njagala; longooka. Amangu ago ebigenge bye byawona n’alongooka.’ Okusinziira ku Mateeka ga Musa, abagenge tebaabanga balongoofu, bwe kityo Yesu yandiwonyezza omusajja oyo nga tamukutteeko. Kyokka bwe yali amuwonya, Yesu yamukwatako, era oboolyawo yali amaze ebbanga ddene nga tewali ayagala kumukwatako. Nga kino kyali kikolwa kya busaasizi!​—Mak. 1:40-42.

18. Tuyinza tutya okulaga nti ‘tulumirirwa’ abalala?

18 Ng’abagoberezi ba Kristo, naffe tusaanidde okulaga abalala okwagala nga ‘tubalumirirwa.’ (1 Peet. 3:8, NW) Kiyinza okutubeerera ekizibu okutegeera obulumi mukkiriza munnaffe bw’awulira ng’alina obulwadde obw’olukonvuba oba ng’aba mwennyamivu buli kiseera​—naddala bwe tuba nga tetubulwalangako. Naye wadde nga Yesu yali talwala, yali ategeera bulungi engeri abalwadde gye bawuliramu. Tuyinza tutya okulaga nti naffe tulumirirwa abalala? Tukikola bwe tuwuliriza n’obugumiikiriza ng’abo abalumizibwa balina ekibali ku mutima kye batubuulira. Muli tuyinza n’okwebuuza, ‘Singa nze mbadde mu mbeera ng’eyo, nnandiwulidde ntya?’ Bwe tufuba okufaayo ku mbeera y’abalala, tujja kusobola ‘okugumya abalina omwoyo omunafu.’ (1 Bas. 5:14) Mu kukola tutyo, tujja kuba tugoberera Yesu.

19. Tukwatibwako tutya olw’ekyokulabirako Yesu kye yateekawo?

19 Nga tuyiga bingi mu bintu Yesu Kristo bye yayogera ne bye yakola! Gye tukoma okuyiga ebimukwatako, gye tukoma okwagala okumukoppa​—era gye tujja okukoma okwagala okuyamba abalala okukola kye kimu. N’olwekyo, ka tweyongere okugoberera Kabaka era Masiya​—mu kiseera kino, n’emirembe gyonna!

Osobola Okunnyonnyola?

• Tuyinza tutya okwoleka amagezi nga Yesu bwe yakola?

• Tuyinza tutya okulaga nti tuli beetoowaze?

• Kiki ekinaatuyamba okuba abanyiikivu mu buweereza bwaffe?

• Tuyinza tutya okukoppa Yesu mu kulaga abalala okwagala?

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

AKATABO AKATUYAMBA OKOPPA KRISTO

Mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti olwa 2007, akatabo ak’empapula 192 akalina omutwe “Come Be My Follower” kaafulumizibwa. Akatabo kano kaakubibwa okuyamba Abakristaayo okwetegereza ebikwata ku Yesu, naddala engeri ze n’ebintu bye yakola. Oluvannyuma lw’essuula ebbiri ezisooka, ekitundu ekisooka kyogera ku ngeri za Yesu zino mu bufunze​—obwetoowaze, obuvumu, amagezi, obuwulize, n’obugumiikiriza.

Okwo ne kazzaako ebitundu ebikwata ku bintu Yesu bye yakola ng’omuyigiriza era ng’omubuulizi w’amawulire amalungi era ne koogera ne ku ngeri gye yayolekamu okwagala okungi ennyo. Kalimu ebintu bingi ebiyamba Omukristaayo okukoppa Yesu.

Tusuubira nti akatabo kano kajja kutuyamba ffenna okwekebera n’okwebuuza: ‘Ddala ngoberera Yesu? Nnyinza ntya okweyongera okumugoberera?’ Era kajja kuyamba “abo bonna abaalina endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo” okufuuka abagoberezi ba Kristo.​—Bik. 13:48, NW.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]

Yesu yakkiriza okujja ku nsi azaalibwe ng’omuntu. Ekyo kyali kimwetaagisa kuba na ngeri ki?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Tusobola tutya okuba abanyiikivu mu buweereza bwaffe?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share