Koppa Ekyokulabirako kya Yesu
“Mbawadde ekyokulabirako, era nga bwe mbakoze nze, nammwe mukolenga bwe mutyo.”—YOKAANA 13:15.
1. Lwaki Abakristaayo basaanidde okukoppa Yesu?
MU BYAFAAYO by’abantu byonna, omuntu omu yekka y’ataakola kibi. Omuntu oyo ye Yesu. Ng’oggyeko Yesu, ‘tewaliiwo muntu atayonoona.’ (1 Bassekabaka 8:46; Abaruumi 3:23) Eyo ye nsonga lwaki, Abakristaayo ab’amazima baagala okukoppa ekyokulabirako kye ekirungi ennyo. Nga Nisani 14, 33 C.E., ng’ebulayo akaseera katono attibwe, Yesu kennyini yagamba abagoberezi be okumukoppa. Yabagamba: “Mbawadde ekyokulabirako, era nga bwe mbakoze nze, nammwe mukolenga bwe mutyo.” (Yokaana 13:15) Mu kiro ekyo ekyasembayo, Yesu yayogera ku ngeri Abakristaayo gye bayinza okumukoppamu. Mu kitundu kino, tujja kwekenneenya engeri ezo.
Obwetaavu bw’Okubeera Omwetoowaze
2, 3. Mu ngeri ki Yesu gye yassaawo ekyokulabirako eky’obwetoowaze?
2 Yesu bwe yagamba abayigirizwa be okumukoppa, kirabika yali abakubiriza okubeera abeetoowaze. Emirundi egiwerako, yakubiriza abagoberezi be okubeera abeetoowaze, era mu kiro ekya Nisani 14, yabalaga nti yali mwetoowaze ng’abanaaza ebigere. Oluvannyuma lw’ekyo, Yesu yagamba: “Kale oba nga nze Mukama wammwe era Omuyigiriza mbanaazizza ebigere, era nammwe kibagwanira okunaazagananga ebigere.” (Yokaana 13:14) Oluvannyuma lw’ekyo, yagamba abatume be okumukoppa. Ekyo nga kyali kyakulabirako kirungi nnyo eky’obwetoowaze!
3 Omutume Pawulo yagamba nti nga Yesu tannajja ku nsi, ‘yali mu kifaananyi kya Katonda.’ Wadde kyali kityo, yaleka ekitiibwa ekyo eky’omu ggulu n’afuuka omuntu omwetoowaze. Ate era ‘yeetoowaza, n’aba muwulize okutuusa lwe yafiira ku muti.’ (Abafiripi 2:6-8) Kirowoozeeko ekyo. Yesu, addirira Katonda mu bukulu, yakkiriza okubeera owa wansi ku bamalayika, okuzaalibwa ng’omwana omuwere, okukuzibwa era n’okugondera abazadde abatatuukiridde, ate era n’okuttibwa ng’omumenyi w’amateeka. (Abakkolosaayi 1:15, 16; Abaebbulaniya 2:6, 7) Ng’ekyo kyali kikolwa kya bwetoowaze nnyo! Kisoboka okukoppa ‘endowooza’ eyo ne tubeera ‘abeetoowaze’ nga Yesu? (Abafiripi 2:3-5) Kisoboka, naye si kyangu.
4. Bintu ki ebireetera abantu okufuna amalala, naye lwaki ekyo kya kabi?
4 Omuntu bw’ataba mwetoowaze abeera wa malala. (Engero 6:16-19) Amalala gaasuula Setaani. (1 Timoseewo 3:6) Kyangu nnyo omuntu okufuna amalala naye kiba kizibu nnyo okugeggyamu. Abantu bayinza okufuna amalala olw’ensi yaabwe, olwa langi yaabwe, olw’ebintu bye balina, olw’obuyigirize bwe balina, olw’ebifo bye balimu, olw’endabika yaabwe, n’olw’ebintu ebirala bingi. Kyokka, tewali na kimu ku ebyo Yakuwa ky’atwala ng’ekikulu. (1 Abakkolinso 4:7) Era singa tufuna amalala olw’ebintu ebyo, enkolagana yaffe ne Yakuwa eyonooneka. ‘Wadde nga Mukama mukulu, alowooza ku beetoowaze; naye ab’amalala abeesamba.’—Zabbuli 138:6; Engero 8:13.
Okubeera Abeetoowaze nga Tuli ne Baganda Baffe
5. Lwaki abakadde kibeetaagisa okubeera abeetoowaze?
5 Ebyo bye tukola mu buweereza obw’ennimiro n’obuvunaanyizibwa bwe tulina mu kibiina tebyandituleetedde kubeera ba malala. (1 Ebyomumirembe 29:14; 1 Timoseewo 6:17, 18) Ekituufu kiri nti, gye tukoma okubeera n’obuvunaanyizibwa obw’amaanyi, gye kikoma n’okutwetaagisa okubeera abeetoowaze. Omutume Peetero yagamba abakadde ‘obuteefuula abaami b’ebyo bye baateresebwa, naye okubeera ebyokulabirako eri ekisibo.’ (1 Peetero 5:3) N’olwekyo, abakadde balondebwa okuweereza abalala era n’okubateerawo ekyokulabirako ekirungi, so si okubeera abaami.—Lukka 22:24-26; 2 Abakkolinso 1:24.
6. Ddi lwe kyetaagisa Abakristaayo okubeera abeetoowaze?
6 Abakadde si be bokka abalina okubeera abeetoowaze. Abavubuka abayinza okufuna amalala olw’amaanyi ge balina oba olw’okuba balowooza mangu okusinga bannamukadde, Peetero yabakubiriza bw’ati: “Mwesibenga obuwombeefu, okuweerezagananga mwekka na mwekka: kubanga Katonda aziyiza ab’amalala, naye abawombeefu abawa ekisa.” (1 Peetero 5:5) Kikulu nnyo ffenna okubeera abeetoowaze nga Kristo. Kitwetaagisa okubeera abakkakkamu okusobola okubuulira amawulire amalungi, naddala singa tusanga abantu abateefiirayo oba abakambwe. Okusobola okukkiriza okubuulirirwa oba okukola enkyukakyuka mu bulamu bwaffe n’okugaziya ku buweereza bwaffe, kitwetaagisa okubeera abeetoowaze. Ate era, kitwetaagisa okuba abeetoowaze, abavumu, n’okubeera n’okukkiriza tuleme kuddirira singa baba batwogeddeko eby’obulimba, nga tutwaliddwa mu mbuga z’amateeka oba nga tuyigganyizibwa.—1 Peetero 5:6.
7, 8. Biki ebisobola okutuyamba okubeera abeetoowaze?
7 Omuntu asobola atya okweggyamu amalala n’aba ‘mwetoowaze, era n’atwala abalala nti bamusinga’? (Abafiripi 2:3) Kino akikola nga yeetunuulira nga Yakuwa bw’amutunuulira. Yesu yayogera ku ndowooza entuufu gye twandibadde nayo bwe yagamba nti: “Nammwe bwe mutyo, bwe mumalanga okukola byonna bye mwalagirwa, mugambenga nti Ffe tuli baddu abatasaana; ebyatugwanira okukola bye tukoze.” (Lukka 17:10) Kijjukire nti ebyo Yesu bye yakola bisingira wala nnyo ebyo ffe bye tusobola okukola. Kyokka, yasigala nga mwetoowaze.
8 Ate era, tusobola okusaba Yakuwa atuyambe okubeera n’endowooza entuufu. Okufaananako omuwandiisi wa zabbuli, tusobola okusaba bwe tuti: ‘Ompe amagezi n’okutegeera, kubanga nnakkirizanga ebyo bye walagira.’ (Zabbuli 119:66) Yakuwa ajja kutuyamba okwetunuulira mu ngeri entuufu, era ajja kutuwa omukisa bwe tunaabeera abeetoowaze. (Engero 18:12) Yesu yagamba: “Buli aneegulumizanga anakkakkanyizibwanga na buli aneekakkanyanga anaagulumizibwanga.”—Matayo 23:12.
Okuba n’Endowooza Entuufu ku Kituufu n’Ekikyamu
9. Yesu yatwala atya ekituufu n’ekikyamu?
9 Wadde yamala emyaka 33 ng’ali n’abantu abatatuukiridde, Yesu ‘teyayonoona.’ (Abaebbulaniya 4:15) Omuwandiisi wa zabbuli bwe yali alagula ku Masiya, yagamba: “Wayagala obutuukirivu, wakyawa obubi.” (Zabbuli 45:7; Abaebbulaniya 1:9) Bwe kituuka ku kwagala obutuukirivu n’okukyawa ekibi Abakristaayo bafuba okukoppa Yesu. Tebakoma ku kumanya bumanya kituufu na kikyamu kyokka; naye era bakyawa ekikyamu ne baagala ekituufu. (Amosi 5:15) Ekyo kibayamba okulwanyisa okwegomba okubi okuleetebwa ekibi ekisikire.—Olubereberye 8:21; Abaruumi 7:21-25.
10. Bwe tweyongera okukola ‘ebitasaana,’ kiba kyoleka ki?
10 Yesu yagamba Nikodemu Omufalisaayo nti: “Buli muntu yenna akola ebitasaana akyawa omusana [“ekitangaala,” NW] so tajja eri omusana, ebikolwa bye bireme okunenyezebwa. Naye akola amazima ajja eri omusana ebikolwa bye birabike nga byakolerwa mu Katonda.” (Yokaana 3:20, 21) Lowooza ku kino: Yokaana yagamba nti Yesu ye yali ‘ekitangaala eky’amazima ekyakira buli muntu.’ (Yokaana 1:9, 10) Kyokka, ye Yesu yagamba nti singa tukola “ebitasaana,” kwe kugamba ebintu ebikyamu, ebitakkirizibwa Katonda, tuba tukyawa ekitangaala. Osobola okuteebereza engeri omuntu gy’ayinza okukyawamu Yesu n’emitindo gye? Abantu abateenenya ne beeyongera okukola ekibi, kye bakolera ddala. Oboolyawo bo bayinza obutalowooza nti bakyawa Yesu n’emitindo gye, naye ye Yesu ye akitwala nti ekyo kye bakolera ddala.
Engeri y’Okufunamu Endowooza ya Yesu ku Kituufu n’Ekikyamu
11. Kiki ekyetaagisa bwe tuba ab’okubeera n’endowooza Kristo gye yalina ku kituufu n’ekikyamu?
11 Kitwetaagisa okutegeera obulungi endowooza Yakuwa gy’alina ku kituufu n’ekikyamu. Kino tukikola nga tusoma Ekigambo kye, Baibuli. Bwe tuba tugenda okukisoma, tulina okusaba ng’omuwandiisi wa zabbuli nti: “Ondage amakubo go, ai Mukama; onjigirize empenda zo.” (Zabbuli 25:4) Kyokka, kijjukire nti Setaani mulimba. (2 Abakkolinso 11:14) Asobola okuleetera Omukristaayo atali mwegendereza okutandika okutwala ekikyamu ng’ekituufu. N’olwekyo, tulina okufumiitiriza ennyo ku ebyo bye tuyiga era n’okugoberera okubuulirira kwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.” (Matayo 24:45-47) Okusoma, okusaba, n’okufumiitiriza ku bye tuyiga bijja kutuyamba okukula mu by’omwoyo era n’okubeera mu abo abayinza ‘okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.’ (Abaebbulaniya 5:14) Mu ngeri eyo, tujja kusobola okukyawa ekikyamu twagale ekituufu.
12. Kubuulirira ki okuli mu Baibuli okutuyamba okwewala ekibi?
12 Bwe tukyawa ekibi, endowooza embi tejja kusimba makanda mu mitima gyaffe. Nga wayiseewo emyaka mingi oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, omutume Yokaana yagamba: “Temwagalanga nsi newakubadde ebiri mu nsi. Omuntu yenna bw’ayagala ensi, okwagala kwa Kitaffe tekuba mu ye. Kubanga buli ekiri mu nsi, okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso, n’okwegulumiza kw’obulamu okutaliimu, tebiva eri Kitaffe, naye biva eri ensi.”—1 Yokaana 2:15, 16.
13, 14. (a) Lwaki kya kabi nnyo Abakristaayo okwagala ebintu eby’omu nsi? (b) Tusobola tutya okwewala ebintu eby’omu nsi?
13 Abantu abamu bayinza okugamba nti ebintu byonna ebiri mu nsi si bibi. Wadde kiri kityo, ensi n’ebintu ebigirimu bisobola okutuwugula ne tuva ku Yakuwa. Era tewali kintu na kimu ekiri mu nsi ekisobola okutuyamba okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda. N’olwekyo, singa twagala ebintu ebiri mu nsi, wadde ng’ebimu biyinza obutaba bikyamu, tuba tuli mu kabi. (1 Timoseewo 6:9, 10) Ng’oggyeko ekyo, ebintu ebisinga obungi mu nsi bibi era biyinza okutwonoona. Singa buli kiseera programu ze tulaba ku ttivi z’ezo ezikubiriza ebikolwa eby’obukambwe, okwagala ebintu n’ebikolwa eby’obugwenyufu, tujja kutandika okutunuulira ebintu ebyo ng’ebitali bibi era biyinza okututwaliriza. Singa tubeera n’abantu abaluubirira okufuna eby’obugagga oba abettanira ennyo bizineesi, naffe tuyinza okutandika okuluubirira ebintu ebyo.—Matayo 6:24; 1 Abakkolinso 15:33.
14 Ku luuyi olulala, singa twagala Ekigambo kya Yakuwa, tetujja kutwalirizibwa ‘okwegomba kw’omubiri n’okwegomba kw’amaaso era n’okweraga olw’ebintu bye tulina.’ Ate era, bwe tubeera n’abo abakulembeza Obwakabaka bwa Katonda, tujja kubeera nga bo, nga twagala bye baagala era nga twewala bye beewala.—Zabbuli 15:4; Engero 13:20.
15. Okufaananako Yesu, okwagala obutuukirivu n’okukyawa ekibi binaatuyamba kukola ki?
15 Okukyawa ekibi n’okwagala obutuukirivu kye kyayamba Yesu okukuumira amaaso ge ku ‘ssanyu eryali liteekeddwa mu maaso ge.’ (Abaebbulaniya 12:2) Naffe tusobola okukoppa Yesu nga tetukkiriza kintu kyonna kutuwugula. Tukimanyi bulungi nti “ensi eggwaawo n’okwegomba kwayo.” Ate era tukimanyi nti eby’amasanyu ebiri mu nsi eno bya kaseera buseera. Kyokka, ‘akola Katonda by’ayagala ajja kubeerawo emirembe gyonna.’ (1 Yokaana 2:17) Olw’okuba Yesu yakola Katonda by’ayagala, yatemera abantu oluwenda basobole okufuna obulamu obutaggwaawo. (1 Yokaana 5:13) Ka ffenna tumukoppe era tuganyulwe mu ekyo kye yakola ekinaatusobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo.
Okugumiikiriza nga Tuyigganyizibwa
16. Lwaki Yesu yakubiriza abagoberezi be okwagalananga?
16 Yesu yalaga engeri endala abayigirizwa be gye bandibadde bamukoppamu bwe yagamba: “Kino kye kiragiro kyange, mwagalanenga, nga bwe nnabaagala mmwe.” (Yokaana 15:12, 13, 17) Waliwo ensonga nnyingi ezireetera Abakristaayo okwagala baganda baabwe. Ekiseera Yesu we yabagambira ebigambo ebyo, okusingira ddala yali alowooza ku bukyayi bwe baali bagenda okwolekagana nabwo mu nsi. Yabagamba bw’ati: “Ensi bw’ebakyawanga mumanyi nga yasooka kukyawa nze nga tennaba kukyawa mmwe. . . . Omuddu tasinga mukama we. Oba nga banjigganya nze, nammwe bannabayigganyanga; oba nga baakwata ekigambo kyange, n’ekyammwe banaakikwatanga.” (Yokaana 15:18, 20) Ne bwe baba bayigganyizibwa, Abakristaayo bakoppa Yesu. Okusobola okugumira okuyigganyizibwa balina okubeera nga baagalana bokka na bokka.
17. Lwaki ensi ekyawa Abakristaayo ab’amazima?
17 Lwaki ensi yandikyaye Abakristaayo? Lwa kuba “si ba nsi” nga ne Yesu bw’ataali wa nsi. (Yokaana 17:14, 16) Tebalina ludda lwe bawagira mu bya bufuzi, tebayingira magye, era bagoberera emisingi gya Baibuli, gamba ng’egyo egikwata ku kussa ekitiibwa mu bulamu era n’empisa ennungi. (Ebikolwa 15:28, 29; 1 Abakkolinso 6:9-11) Bakulembeza bya mwoyo so si bya bugagga. Bali mu nsi, naye nga Pawulo bwe yagamba, ‘tebagyemalirako nnyo.’ (1 Abakkolinso 7:31) Wadde abantu abamu basiimye empisa ennungi ez’Abajulirwa ba Yakuwa bo tebekkiriranya olw’okuba baagala okusiimibwa. N’ekivuddemu, abantu bangi mu nsi tebabategeera, era babakyaye.
18, 19. Okufaananako Yesu, Abakristaayo bandyeyisizza batya nga bayigganyizibwa?
18 Abatume ba Yesu baalaba obukyayi obw’amaanyi obwali mu nsi Yesu bwe yakwatibwa n’attibwa, era ne balaba n’engeri gye yeeyisaamu mu mbeera eyo. Yesu bwe yali mu lusuku Gesusemane, abalabe be bajja okumukwata. Peetero yagezaako okumutaasa ng’akozesa ekitala, naye Yesu yagamba Peetero nti: “Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo: kubanga abo bonna abakwata ekitala balifa kitala.” (Matayo 26:52; Lukka 22:50, 51) Mu biseera eby’edda, Abaisiraeri baakozesanga ebitala okulwanyisa abalabe baabwe. Kyokka, mu kiseera we baakwatira Yesu ebintu byali bikyuse. Obwakabaka bwa Katonda ‘tebwali kitundu kya nsi’ era tebwalina nsalo. (Yokaana 18:36) Mangu ddala, Peetero yali agenda kubeera omu ku abo abandikoze eggwanga ery’eby’omwoyo, era nga bonna balina obutuuze mu ggulu. (Abaggalatiya 6:16; Abafiripi 3:20, 21) N’olwekyo, okuva mu kiseera ekyo n’okweyongerayo, abayigirizwa ba Yesu bandyeyisizza nga ye nga boolekaganye n’okuyigganyizibwa, kwe kugamba, bandibadde bavumu naye nga ba mirembe. Ensonga bandizirese mu mikono gya Yakuwa nga bakakafu nti ajja kubayamba okugumira okuyigganyizibwa.—Lukka 22:42.
19 Nga wayiseewo emyaka mingi, Peetero yawandiika: “Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, n’abalekera ekyokulabirako, mulyoke mutambulirenga mu bigere bye. . . . Bwe yavumibwa, ataavuma nate; bwe yabonyaabonyezebwa, ataakanga; naye yeewaayo eri oyo asala omusango ogw’ensonga.” (1 Peetero 2:21-23) Nga Yesu bwe yalabula, Abakristaayo babaddenga bayigganyizibwa. Mu kyasa ekyasooka ne mu kiseera kyaffe, Abakristaayo bakoppye Yesu era balaze nti beesigwa, era nti ba mirembe. (Okubikkulirwa 2:9, 10) Ka ffenna twoleke obwesigwa era tubeere ba mirembe nga twolekaganye n’okuyigganyizibwa.—2 Timoseewo 3:12.
“Mwambale Mukama Waffe Yesu Kristo”
20-22. Mu ngeri ki Abakristaayo gye ‘bambalamu Mukama waabwe Yesu Kristo’?
20 Pawulo yawandiikira bw’ati ekibiina ky’omu Rooma: ‘Mwambale Mukama waffe Yesu Kristo, so temuleka mubiri kukola kye gwagala.’ (Abaruumi 13:14) Abakristaayo bambala Yesu ng’ekyambalo nga bafuba okukoppa engeri ze n’engeri gye yeeyisaamu wadde nga tebatuukiridde.—1 Abasessaloniika 1:6.
21 Tusobola “okwambala Yesu Kristo” singa tumanya bulungi ebikwata ku bulamu bwe era ne tufuba okweyisa nga ye. Tukoppa obwetoowaze bwe, engeri gye yayagalamu obutuukirivu, gye yakyawamu ekibi, gye yayagalamu baganda be, gy’ataali kitundu kya nsi, era n’engeri gye yagumiikirizaamu okubonaabona. ‘Tetuluubirira kukola ekyo omubiri kye gwagala,’ kwe kugamba, tetukulembeza biruubirirwa bya mu nsi oba okumatiza okwegomba okw’omubiri. Mu kifo ky’ekyo, bwe tuba tulina bye tusalawo oba nga tukola ku bizibu byaffe, twebuuze: ‘Kiki Yesu kye yandikoze mu mbeera ng’eno? Kiki kye yandyagadde nkole?’
22 Ate era, tukoppa Yesu nga tunyiikira ‘okubuulira amawulire amalungi.’ (Matayo 4:23; 1 Abakkolinso 15:58) Mu kukola ekyo, Abakristaayo bakoppa ekyokulabirako kya Yesu, era ekitundu ekiddako kijja kulaga engeri gye bamukoppamu.
Osobola Okunnyonnyola?
• Lwaki kikulu Omukristaayo okubeera omwetoowaze?
• Tusobola tutya okufuna endowooza entuufu ku kikyamu n’ekituufu?
• Mu ngeri ki Abakristaayo gye bakoppamu Yesu nga baziyizibwa oba nga bayigganyizibwa?
• Tuyinza tutya ‘okwambala Mukama waffe Yesu Kristo’?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
Yesu yassaawo ekyokulabirako ekirungi eky’obwetoowaze
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Mu buli kimu Omukristaayo ky’akola, nga mw’otwalidde n’okubuulira, kimwetaagisa okubeera omwetoowaze
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
Setaani ayinza okuleetera Omukristaayo okutandika okutunuulira ebintu ebitasaana ng’ebirungi