LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 11/15 lup. 10-14
  • Yesu Yali Mwetoowaze

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yesu Yali Mwetoowaze
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ‘SAALI MUJEEMU ERA SAAKYUKA KUDDA NNYUMA’
  • YESU YAYOLEKA ‘OBWETOOWAZE’ NG’ALI KU NSI
  • NDI “MUWOMBEEFU MU MUTIMA”
  • “BULI EYEETOOWAZA ALIGULUMIZIBWA”
  • YESU AJJA ‘KWEBAGALA EMBALAASI OLW’AMAZIMA N’OBWETOOWAZE’
  • Beera Mwetoowaze
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Yakuwa Ayagala Nnyo Abaweereza Be Abeetoowaze
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Yakuwa Abikkula Ekitiibwa Kye eri Abeetoowaze
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Koppa Ekyokulabirako kya Yesu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 11/15 lup. 10-14

Yesu Yali Mwetoowaze

“Mbateereddewo ekyokulabirako, nga bwe nkoze nnammwe bwe musaanidde okukola.”​—YOK. 13:15.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Omwana wa Katonda yayoleka atya obwetoowaze nga tannajja ku nsi?

  • Yesu yayoleka atya obwetoowaze ng’ali ku nsi?

  • Miganyulo ki egyava mu kuba nti Yesu yayoleka obwetoowaze?

1, 2. Yesu bwe yali anaatera okuttibwa, kiki kye yayigiriza abatume be?

YESU anaatera okuttibwa era ali wamu n’abatume be mu kisenge ekya waggulu mu emu ku nnyumba eziri mu Yerusaalemi. Bwe baba balya eky’ekiro, Yesu ayimuka ne yeeyambulako ekyambalo kye eky’okungulu. Akwata ekitambaala n’akyesiba. Ateeka amazzi mu bbaafu n’atandika okunaaza ebigere by’abayigirizwa be era n’abisiimuula ng’akozesa ekitambaala kye yeesibye. Bw’amala okubanaaza ebigere, azzaako ekyambalo kye eky’okungulu. Lwaki Yesu yakola ekintu ekyo ekyakolebwanga abantu abaatwalibwanga okuba aba wansi?​—Yok. 13:3-5.

2 Yesu yagamba nti: “Mutegedde kye mbakoze? . . . Oba nga nze Mukama wammwe era Omuyigiriza, mbanaazizza ebigere, nammwe mugwanidde buli omu okunaazanga ebigere bya munne. Mbateereddewo ekyokulabirako, nga bwe nkoze nammwe bwe musaanidde okukola.” (Yok. 13:12-15) Mu kukola ekintu ekyakolebwanga abantu abaatwalibwanga okuba aba wansi, Yesu yayamba abatume be okukiraba nti baalina okuba abeetoowaze.

3. (a) Yesu yalaga atya nti kikulu nnyo okuba abeetoowaze? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Yesu bwe yanaaza ebigere by’abatume be, ogwo si gwe mulundi gwe yali asoose okukiraga nti kikulu nnyo okuba abeetoowaze. Lumu abatume bwe baali bakaayana ku ani ku bo eyali asinga obukulu, Yesu yayita omwana omuto n’amusembeza w’ali n’abagamba nti: “Buli asembeza omwana ono omuto ku lw’erinnya lyange, nange aba ansembezza, na buli ansembeza aba asembezza oyo eyantuma. Kubanga buli eyeetwala okuba owa wansi mu mmwe ye mukulu.” (Luk. 9:46-48) Ku mulundi omulala, Yesu bwe yali ayogera n’Abafalisaayo abaali beetwala okuba aba waggulu ku bantu abalala, yagamba nti: “Buli eyeegulumiza alitoowazibwa, na buli eyeetoowaza aligulumizibwa.” (Luk. 14:11) Yesu ayagala abagoberezi be okuba abeetoowaze. Tayagala babe ba malala oba balowooze nti ba waggulu ku bantu abalala. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri Yesu gye yayolekamu obwetoowaze era n’engeri gye tuyinza okumukoppa. Ate era tugenda kulaba engeri okuba abeetoowaze gye kiyinza okutuganyula n’engeri gye kiyinza okuganyula abalala.

‘SAALI MUJEEMU ERA SAAKYUKA KUDDA NNYUMA’

4. Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka yayoleka atya obwetoowaze bwe yali tannajja ku nsi?

4 Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka yayoleka obwetoowaze ne bwe yali tannajja ku nsi. Yesu yamala emyaka butabalika ng’ali ne Kitaawe mu ggulu nga tannajja ku nsi. Ekitabo kya Isaaya kiraga nti Yesu yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Kitaawe. Kigamba nti: “Mukama Katonda ampadde olulimi lw’abo abayigirizibwa, ndyoke mmanye okugumya n’ebigambo oyo akooye: azuukusa buli lukya, azuukusa okutu kwange okuwulira ng’abo abayigirizibwa. Mukama Katonda aggudde okutu kwange, ne siba mujeemu ne sikyuka kudda nnyuma.” (Is. 50:4, 5) Yesu yali mwetoowaze era yasangayo nnyo omwoyo nga Yakuwa amuyigiriza. Yali ayagala nnyo Katonda ow’amazima amuyigirize. Ate era Yesu ateekwa okuba nga yeetegerezanga engeri Yakuwa gye yayolekangamu obwetoowaze ng’alaga abantu abatatuukiridde ekisa.

5. Yesu bw’atakkiriziganya n’Omulyolyomi, yalaga atya nti mwetoowaze era nti amanyi obuyinza bwe we bukoma?

5 Bamalayika abamu tebaali beetoowaze nga Yesu. Malayika omu eyafuuka Sitaani Omulyolyomi yafuna amalala era n’atandika okulowooza nti yali wa waggulu nnyo ku balala. N’ekyavaamu, yajeemera Yakuwa. Kyokka ye Yesu yali wa njawulo. Yali mumativu n’ekifo Yakuwa kye yali amuwadde era yali tayagala kukozesa bubi buyinza bwe. Ng’ekyokulabirako, “bw’atakkiriziganya n’Omulyolyomi ku bikwata ku mulambo gwa Musa,” Yesu yeewala okukola ekintu ekisukka ku buyinza bwe, wadde nga ye Mikayiri, malayika omukulu. Omwana wa Katonda yayoleka obwetoowaze era yali amanyi obuyinza bwe we bukoma. Yaleka Yakuwa, Omulamuzi ow’oku ntikko, okukwata ensonga eyo nga bw’ayagala era mu kiseera kye ekituufu.​—Soma Yuda 9.

6. Yesu yayoleka atya obwetoowaze bwe yakkiriza okujja ku nsi nga Masiya?

6 Bwe yali tannajja ku nsi, Yesu ateekwa okuba nga yali amanyi obunnabbi bwonna obukwata ku bintu ebyandimutuuseeko ng’azze ku nsi nga Masiya. Bwe kityo, ateekwa okuba nga yali akimanyi nti yali agenda kubonaabona. Wadde kyali kityo, Yesu yakkiriza okujja ku nsi okuwaayo obulamu bwe ku lw’abantu. Lwaki yakkiriza okujja ku nsi? Omutume Pawulo yakiraga nti ekyo yakikola olw’okuba mwetoowaze. Yagamba nti: “Wadde yali mu kifaananyi kya Katonda, teyalowooza ku kya kwezza buyinza asobole okwenkanankana ne Katonda. Wabula yeggyako buli kye yalina n’afuuka ng’omuddu, era n’abeera mu kifaananyi eky’abantu.”​—Baf. 2:6, 7.

YESU YAYOLEKA ‘OBWETOOWAZE’ NG’ALI KU NSI

7, 8. Yesu yayoleka atya obwetoowaze ng’akyali muto era yabwoleka atya mu buweereza bwe ku nsi?

7 Omutume Pawulo yawandiika nti: “[Yesu] bwe yeesanga ng’alinga omuntu, yeetoowaza n’abeera muwulize okutuuka n’okufa, yee, okufiira ku muti ogw’okubonaabona.” (Baf. 2:8) Bwe yali akyali muto, Yesu yateekawo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obwetoowaze. ‘Yagonderanga’ bazadde be, Yusufu ne Maliyamu, wadde nga baali tebatuukiridde. (Luk. 2:51) Yesu yateerawo abaana abato ekyokulabirako ekirungi. Abaana bwe bagondera bazadde baabwe, Katonda abawa emikisa.

8 Yesu bwe yakula, yeeyongera okwoleka obwetoowaze ng’akulembeza Yakuwa by’ayagala mu kifo ky’okukulembeza ebibye ku bubwe. (Yok. 4:34) Mu buweereza bwe ku nsi, Yesu Kristo yakozesanga erinnya lya Katonda era yayamba abantu okutegeera Yakuwa n’ebigendererwa bye. Yesu yakolera ku ebyo bye yayigirizanga. Ng’ekyokulabirako, Yesu bwe yali ayigiriza abayigirizwa be okusaba, yatandika n’ebigambo bino: “Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe.” (Mat. 6:9) Yesu yakiraga nti ekintu abagoberezi be kye basaanidde okukulembeza mu bulamu bwabwe kwe kutukuza erinnya lya Yakuwa. Ekyo kyennyini ne Yesu kye yakola. Bwe yali anaatera okuttibwa, Yesu yasaba Yakuwa nti: “Mbamanyisizza erinnya lyo era nja kulimanyisa.” (Yok. 17:26) Yesu yakiraga nti Yakuwa ye yamuyamba okukola ebintu byonna bye yakola ng’ali wano ku nsi.​—Yok. 5:19.

9. Kiki nnabbi Zekkaliya kye yayogera ku Masiya, era obunnabbi obwo bwatuukirizibwa butya?

9 Ng’ayogera ku Masiya, nnabbi Zekkaliya yagamba nti: “Sanyuka nnyo, ggwe omuwala wa Sayuuni: yogerera waggulu, ggwe omuwala wa Yerusaalemi; laba, kabaka wo ajja gy’oli; ye mutuukirivu era alina obulokozi; muwombeefu era nga yeebagadde endogoyi, n’akayana omwana gw’endogoyi.” (Zek. 9:9) Obunnabbi obwo bwatuukirizibwa Yesu bwe yayingira mu Yerusaalemi ng’embaga y’Okuyitako ey’omwaka gwa 33 E.E. enaatera okutuuka. Abantu baayalirira ebyambalo byabwe eby’okungulu mu luguudo era ne batema amatabi g’emiti ne bagaalirira mu luguudo. Yesu bwe yali ayingira mu Yerusaalemi, abantu baasanyuka nnyo. Wadde ng’abantu baamwaniriza nga Kabaka era ne bamutendereza nnyo, Yesu yasigala nga mwetoowaze.​—Mat. 21:4-11.

10. Yesu okusigala nga mwesigwa okutuukira ddala okufa kyalaga ki?

10 Yesu Kristo yali mwetoowaze era yali muwulize okutuukira ddala lwe yattibwa ku muti ogw’okubonaabona. Yesu yakiraga bulungi nti abantu basobola okusigala nga beesigwa eri Yakuwa ne bwe baba mu mbeera enzibu ennyo. Yesu era yakiraga nti Sitaani yali mulimba okugamba nti abantu baweereza Yakuwa olw’okuba alina by’abawa. (Yob. 1:9-11; 2:4) Yesu bwe yasigala nga mwesigwa eri Yakuwa, yakiraga nti Yakuwa y’aggwanidde okufuga obutonde bwonna era nti obufuzi bwa Yakuwa bwe busingayo okuba obulungi. Yakuwa ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo okulaba ng’Omwana we asigadde nga mwesigwa gy’ali.​—Soma Engero 27:11.

11. Ssaddaaka ya Yesu Kristo eganyula etya abo abamukkiririzaamu?

11 Yesu bwe yattibwa ku muti ogw’okubonaabona, yawaayo ssaddaaka y’ekinunulo ku lw’abantu. (Mat. 20:28) Ssaddaaka eyo esobozesa abantu abatatuukiridde okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwawo. Pawulo yagamba nti: “Okuyitira mu kikolwa ekimu ekyoleka obutuukirivu, abantu aba buli ngeri baayitibwa batuukirivu olw’obulamu.” (Bar. 5:18) Ssaddaaka ya Yesu esobozesa Abakristaayo abaafukibwako amafuta okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutasobola kuzikirizibwa mu ggulu era esobozesa ‘ab’endiga endala’ okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi.​—Yok. 10:16; Bar. 8:16, 17.

NDI “MUWOMBEEFU MU MUTIMA”

12. Engeri Yesu gye yayisaamu abantu abatatuukiridde, yalaga etya nti mwetoowaze era nti muteefu?

12 Yesu yayita ‘abo bonna abaali bategana era abaali bazitoowereddwa’ okujja gy’ali. Yagamba nti: “Mwetikke ekikoligo kyange era muyigire ku nze, kubanga ndi muteefu era muwombeefu mu mutima, mulifuna ekiwummulo mu bulamu bwammwe.” (Mat. 11:28, 29) Olw’okuba Yesu yali mwetoowaze era nga muteefu, yalaganga abantu ekisa era yali tasosola. Teyasuubiranga bayigirizwa be kukola bintu bisukka ku busobozi bwabwe. Yesu yabasiimanga era yabazzangamu amaanyi. Teyabaleeteranga kuwulira ng’abatalina kye basobola kukola oba ng’abatalina mugaso. Teyabakambuwaliranga era teyabatulugunyanga. Mu kifo ky’ekyo, yagamba abagoberezi be nti ekikoligo kye kyangu era nti omugugu gwe si muzito. Bwe bandimukoppye era ne bakolera ku ebyo bye yali abayigiriza, bandifunye ekiwummulo mu bulamu bwabwe. Abantu aba buli ngeri, abakazi n’abasajja, abato n’abakulu, kyabanguyiranga okubeera awali Yesu.​—Mat. 11:30.

13. Kiki ekiraga nti Yesu yakwatirwanga ekisa abantu abaabanga n’ebizibu?

13 Yesu yakwatirwanga ekisa abantu abaabanga n’ebizibu era yabayambanga. Lumu bwe yali ava mu Yeriko, Yesu yasanga abasajja abazibe b’amaaso babiri, Battimaayo ne mukwano gwe. Abasajja abo baamwegayirira abayambe naye abantu ne babagamba okusirika. Yesu yali asobola okugaana okuyamba abasajja abo, naye ekyo teyakikola. Yabakwatirwa ekisa n’abazibula amaaso. Yesu yakoppa Kitaawe ng’ayoleka obwetoowaze era ng’akwatirwa ekisa abantu abaabanga n’ebizibu.​—Mat. 20:29-34; Mak. 10:46-52.

“BULI EYEETOOWAZA ALIGULUMIZIBWA”

14. Miganyulo ki egyava mu kuba nti Yesu yayoleka obwetoowaze?

14 Olw’okuba Yesu yayoleka obwetoowaze, ekyo kyavaamu emiganyulo mingi era kyaleetera abalala essanyu. Yakuwa yasanyuka nnyo okulaba Omwana we ng’akola by’ayagala. Yesu yayisa bulungi abatume be n’abayigirizwa be era ekyo kyabazzaamu nnyo amaanyi. Yesu yateerawo abayigirizwa be ekyokulabirako ekirungi, yabayigiriza ebintu bingi, era yabasiimanga. Ekyo kyabayamba okukulaakulana mu by’omwoyo. Yesu yayamba n’abantu abalala bangi ng’abayigiriza, ng’abazzaamu amaanyi, era ng’akola ku byetaago byabwe. Mu butuufu, abantu bonna abakkiririza mu ssaddaaka ya Yesu bajja kufuna emikisa egy’olubeerera.

15. Yesu yaganyulwa atya olw’okwoleka obwetoowaze?

15 Ate kiri kitya ku Yesu? Alina engeri yonna gye yaganyulwa olw’okwoleka obwetoowaze? Yee. Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Buli eyeegulumiza alitoowazibwa na buli eyeetoowaza aligulumizibwa.” (Mat. 23:12) Pawulo yalaga nti ebigambo ebyo byatuukirira ku Yesu. Yagamba nti: “Katonda [yagulumiza Yesu] n’amuteeka mu kifo ekya waggulu ennyo, era mu kisa kye n’amuwa erinnya erisinga amalala gonna, buli vviivi ly’abo abali mu ggulu ne ku nsi ne wansi mu ttaka lifukamire olw’erinnya lya Yesu, era buli lulimi lwatule mu lujjudde nti Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda Kitaffe alyoke aweebwe ekitiibwa.” Olw’okuba Yesu yayoleka obwetoowaze n’obwesigwa ng’ali ku nsi, Yakuwa Katonda yamugulumiza, n’amuwa obuyinza ku bitonde byonna ebiri mu ggulu ne ku nsi.​—Baf. 2:9-11.

YESU AJJA ‘KWEBAGALA EMBALAASI OLW’AMAZIMA N’OBWETOOWAZE’

16. Kiki ekiraga nti Omwana wa Katonda ajja kweyongera okwoleka obwetoowaze mu biseera eby’omu maaso?

16 Omwana wa Katonda ajja kweyongera okwoleka obwetoowaze mu biseera eby’omu maaso. Ng’ayogera ku ngeri Kabaka waffe Yesu gy’ajja okulwanyisa abalabe be, omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Mu kitiibwa kyo genda owangule; weebagale embalaasi yo ogende olw’amazima n’obwetoowaze n’obutuukirivu.” (Zab. 45:4, NW) Ku Kalumagedoni, Yesu Kristo ajja kulwanirira abantu abeetoowaze era abaagala obutuukirivu n’amazima. Ate kiki ekinaabaawo ku nkomerero y’Obufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi, bw’aliba “amaze okuggyawo obufuzi bwonna, obuyinza bwonna, n’amaanyi gonna”? Aneeyongera okuba omwetoowaze? Yee, kubanga Bayibuli egamba nti ‘ajja kuwaayo obwakabaka eri Katonda era Kitaawe.’​—Soma 1 Abakkolinso 15:24-28.

17, 18. (a) Lwaki abaweereza ba Yakuwa basaanidde okuba abeetoowaze nga Yesu? (b) Bibuuzo ki ebijja okuddibwamu mu kitundu ekiddako?

17 Ate kiri kitya eri ffe? Tunaayoleka obwetoowaze nga Yesu? Kabaka waffe Yesu Kristo bw’anaaba azikiriza abantu ababi ku Kalumagedoni, abantu abooleka obwetoowaze era abaagala obutuukirivu be bajja okuwonawo. N’olwekyo, bwe tuba twagala okuwonawo, tulina okuba abeetoowaze. Okufaananako Yesu Kristo, singa naffe twoleka obwetoowaze, kijja kutuganyula era kiganyule n’abalala.

18 Kiki ekinaatuyamba okuba abeetoowaze nga Yesu? Tuyinza tutya okusigala nga tuli beetoowaze wadde ng’oluusi kiyinza obutaba kyangu? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share