LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 2/01 lup. 8
  • Yakuwa Awa Amaanyi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yakuwa Awa Amaanyi
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Similar Material
  • Yakuwa Awa Amaanyi Oyo Akooye
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • “Munoonye Yakuwa n’Amaanyi Ge”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Yakuwa Ajja Kukuwa Amaanyi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • ‘Temukoowanga’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
km 2/01 lup. 8

Yakuwa Awa Amaanyi

1 Kiki ky’olowooza ku mutume Pawulo? Bwe tusoma ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume, tutegeera engeri gye yali omunyiikivu ennyo mu buweereza bwa Yakuwa. Pawulo yasobola atya okutuukiriza byonna bye yakola? Yagamba: “Nnyinzizza byonna mu oyo ampa amaanyi.” (Baf. 4:13) Naffe tuyinza okuganyulwa mu maanyi Yakuwa g’awa. Mu ngeri ki? Nga tukozesa enteekateeka mukaaga z’atuteereddewo okutuzzaamu amaanyi n’okutunyweza mu by’omwoyo.

2 Ekigambo kya Katonda: Nga bwe tuteekwa okulya emmere okusobola okubeera n’amaanyi mu mubiri, tuteekwa okweriisa Ekigambo kya Katonda okusobola okubeera abalamu mu by’omwoyo. (Mat. 4:4) Baibuli etuwa amaanyi agatuwanirira. Okusobola okukuuma obunyiikivu bwaffe n’ebbugumu mu mazima, tulina okweyigiriza mu ngeri ey’amakulu n’okufumiitiriza buli lunaku, bwe kiba nga kisoboka.​—Zab. 1:2, 3.

3 Okusaba: Kikulu okusemberera Yakuwa, nnaddala mu biseera eby’obwetaavu obw’enjawulo. Okuyitira mu mwoyo gwe, awa amaanyi abo abagamusaba. (Luk. 11:13; Bef. 3:16) Ebyawandiikibwa bitukubiriza ‘okunyiikirira mu kusaba.’ (Bar. 12:12) Ekyo okikola?

4 Ekibiina: Era tunywezebwa n’okuzzibwamu amaanyi okuyitira mu nkuŋŋaana z’ekibiina era n’enkolagana ennungi gye tuba nayo ne baganda baffe ne bannyinaffe. (Beb. 10:24, 25) Bwe tubeera n’ebizibu, batuzzaamu amaanyi era batuyamba mu ngeri ey’okwagala.​—Nge. 17:17; Mu. 4:10.

5 Obuweereza bw’Omu Nnimiro: Bwe twenyigira mu buweereza obutayosa kituyamba okussa ebirowoozo byaffe ku Bwakabaka n’emikisa gyabwo. Tufuna essanyu bwe tuyamba abalala okuyiga ebikwata ku Yakuwa. (Bik. 20:35) Si bonna nti basobola okugenda okuweerereza obwetaavu gye businga oba okwenyigira mu buweereza obw’ekiseera kyonna, naye mu ngeri endala tusobola okwenyigira mu buweereza mu ngeri ey’omuganyulo.​—Beb. 6:10-12.

6 Abalabirizi Abakristaayo: Tuganyulwa mu kuzzibwamu amaanyi n’obuyambi abakadde bwe batuwa. Yakuwa abawadde omulimu ogw’okulunda ekisibo kye. (1 Peet. 5:2) Abalabirizi abatambula bazimba ebibiina bye baweereza, era nga ne Pawulo bwe yakola mu kiseera kye.​—Bar. 1:11, 12.

7 Ebyokulabirako by’Abeesigwa: Kizzaamu amaanyi okulowooza ku byokulabirako ebirungi eby’abakozi bannaffe abeesigwa, ab’edda n’ab’omu kiseera kyaffe. (Beb. 12:1) Bw’oba ng’oyagala okuzzibwamu amaanyi, lwaki tosoma ebyafaayo ebikwata ku bulamu bw’abalala ebisangibwa mu magazini zaffe, lipoota ezimba esangibwa mu Yearbook, oba ebyafaayo ebimu ebinyuma eby’Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu kiseera kyaffe ebisangibwa mu kitabo Proclaimers?

8 Ow’oluganda omu, kati aweza emyaka egy’obukulu 90, yakkiriza amazima ng’akyali muto. Ng’akyali muvubuka, okukkiriza kwe kwagezesebwa. Okusookera ddala, abamu abaali bakolaganira awamu n’ekibiina n’obunyiikivu baayabulira entegeka ya Yakuwa. Ate ne wabaawo omulimu gw’okubuulira nnyumba ku nnyumba gwe yasanga nga muzibu nnyo. Wadde nga kyali bwe kityo, yeesigama ku Yakuwa buli kiseera. Mangu ddala yatandika okunyumirwa obuweereza. Naye ate leero? Wadde ng’alina ebizibu by’obulwadde, akyali omu ku abo abali mu maka ga Beseri mu Brooklyn, ng’aweerereza ku Kakiiko Akafuzi. Teyejjusa olw’okunywerera ku ntegeka ya Yakuwa.

9 Mwannyinaffe omu ali mu maka ga Beseri ag’omu Bungereza yabatizibwa nga wa myaka 13. Yatandika okukola nga payoniya ne mukulu we omwaka ogwaddako, ate mu mwaka ogwaddirira ogwo, taata we yasibibwa mu kkomera olw’obutaba na ludda lw’awagira mu kiseera kya Ssematalo II. Mwannyinaffe yeeyongera okwesigama ku maanyi ga Yakuwa, era yeeyongera okuweereza Katonda ow’amazima. Nga wayiseewo ekiseera, yafumbirwa ow’oluganda omwesigwa, era bombi beeyongera okukola Yakuwa by’ayagala. Oluvannyuma lw’emyaka 35 nga bali mu bufumbo, mwami we yafa kibwatukira. Ate era, yafuna amaanyi okuva eri Yakuwa, era yeeyongedde okuweereza Yakuwa okutuuka leero, nga yeesunga okuweereza emirembe gyonna ng’omu ku abo abanaabeera mu maka ga Yakuwa ag’oku nsi.

10 Yakuwa ayamba era awa amaanyi abaweereza be abeesigwa. “Awa amaanyi abazirika; n’oyo atalina [maanyi] era amwongerako amaanyi.” Tuyinza okufuna ku maanyi gano agatakoma nga tukozesa ebintu mukaaga by’atuwadde ebyogeddwako waggulu. Jjukira: ‘Abo abalindirira Mukama baliddamu obuggya amanyi gaabwe. Balidduka mbiro ne batakoowa; balitambula ne bataggwamu maanyi.’ (Is. 40:29-31) Pawulo yeesigama nnyo ku maanyi ga Yakuwa, naffe tuteekwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share