LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 4/15 lup. 27-31
  • ‘Temukoowanga’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Temukoowanga’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • TUKUŊŊAANA OKUZZIŊŊANAMU AMAANYI N’OKUSINZA YAKUWA
  • NOONYA ABANTU AB’EMITIMA EMIRUNGI
  • FUBA OKUSOMA EBITABO BYAFFE
  • WAGIRA ENTEEKATEEKA Z’EKIBIINA KYA YAKUWA
  • WEEYISE MU NGERI ESANYUSA KATONDA
  • ‘Mumanyenga Ebintu Ebisinga Obukulu’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Yakuwa Awa Ekibiina Kye Obulagirizi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Otambulira Wamu n’Ekibiina kya Yakuwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Enkuŋŋaana ‘Ezitukubiriza Okwagalana n’Okukola Ebirungi’
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 4/15 lup. 27-31

‘Temukoowanga’

“Tetulekuliranga kukola birungi.”​—BAG. 6:9.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Bintu ki Katonda by’atuwadde okutuyamba okweyongera okumuweereza n’obunyiikivu?

  • Okufumiitiriza ku nsonga esinga obukulu etuleetera okubaawo mu nkuŋŋaana kyanditukubiriza kukola ki?

  • Bwe tuba ab’okweyongera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu, kiki kye tusaanidde okukola?

1, 2. Okufumiitiriza ku bintu ekibiina kya Yakuwa bye kikola kituganyula kitya?

TUGITWALA nga nkizo ya maanyi okuba nti tuli mu kibiina kya Yakuwa. Okwolesebwa okuli mu Ezeekyeri essuula 1 ne Danyeri essuula 7 kulaga ebyo Yakuwa by’akola okusobola okulaba nti ekigendererwa kye kituukirira. Yesu akulembera ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Yakuwa era akiwa obulagirizi kisobole okwemalira ku mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi, okuyigiriza n’okuzzaamu amaanyi abo abakola omulimu ogwo, era n’okuyamba abantu okufuuka abaweereza ba Yakuwa. Okumanya ekyo kituleetera okwongera okwesiga ekibiina kya Yakuwa.​—Mat. 24:45.

2 Okufaananako ekibiina kya Yakuwa, naawe weemalidde ku kukola Katonda by’ayagala? Oweereza Yakuwa n’obunyiikivu oba kyandiba nti otandise okuddirira? Oboolyawo oyinza okuba ng’okiraba nti otandise okuddirira. Ekyo kyatuuka ne ku Bakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo abo okulowooza ku bunyiikivu Yesu bwe yayoleka ng’aweereza Katonda. Ekyo kyandibayambye obutaggwamu maanyi n’obutalekulira. (Beb. 12:3) Mu ngeri y’emu, okufumiitiriza ku bintu ekibiina kya Yakuwa bye kikola, bye twalaba mu kitundu ekyayita, kijja kutuyamba okweyongera okuba abanyiikivu n’okuba abagumiikiriza nga tuweereza Yakuwa.

3. Kiki ekinaatuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu, era biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Pawulo yalaga ekintu ekirala kye tusaanidde okukola okusobola okweyongera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu. Yagamba nti tulina okweyongera ‘okukola ebintu ebirungi.’ (Bag. 6:9) Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu bitaano ebinaatuyamba okusigala nga tuli banyiikivu n’okweyongera okutambulira awamu n’ekibiina kya Yakuwa. Ekyo kijja kutuyamba okulaba wa we twetaaga okukola enkyukakyuka.

TUKUŊŊAANA OKUZZIŊŊANAMU AMAANYI N’OKUSINZA YAKUWA

4. Lwaki tuyinza okugamba nti okukuŋŋaana awamu kintu kikulu nnyo mu kusinza okw’amazima?

4 Okuva edda n’edda, okukuŋŋaana awamu kibadde kintu kikulu nnyo eri abaweereza ba Yakuwa. Ebitonde eby’omwoyo ebiri mu ggulu bikuŋŋaanira mu maaso ga Yakuwa. (1 Bassek. 22:19; Yob. 1:6; 2:1; Dan. 7:10) Abaisiraeri baalinanga okukuŋŋaana awamu ‘bawulire era bayige okutya Yakuwa.’ (Ma. 31:10-12) Abayudaaya abaaliwo mu kyasa ekyasooka baagendanga mu makuŋŋaaniro okusoma Ebyawandiikibwa. (Luk. 4:16; Bik. 15:21) Abakristaayo abaasooka baakitwalanga nga kikulu okukuŋŋaana awamu era n’Abakristaayo ab’amazima leero enkuŋŋaana bazitwala ng’ekintu ekikulu. Abakristaayo ab’amazima ‘buli omu alowooza ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi.’ Twetaaga ‘okuzziŋŋanamu amaanyi naddala nga bwe tulaba nti olunaku lwa Yakuwa lusembedde.’​—Beb. 10:24, 25.

5. Tuyinza tutya okuzziŋŋanamu amaanyi nga tuli mu nkuŋŋaana?

5 Engeri emu gye tuyinza okuzziŋŋanamu amaanyi kwe kubaako bye tuddamu mu nkuŋŋaana. Ng’ekyokulabirako, osobola okuddamu ekibuuzo ekiba kibuuziddwa, osobola okulaga engeri gye tuyinza okukolera ku kyawandiikibwa, oba osobola okuwaayo ekyokulabirako ekiraga ensonga lwaki kikulu okukolera ku misingi gya Bayibuli. (Zab. 22:22; 40:9) K’obe ng’omaze myaka emeka ng’obaawo mu nkuŋŋaana, ebyo bakkiriza banno, abato n’abakulu, bye baddamu mu nkuŋŋaana bisobola okukuzzaamu amaanyi.

EKITUNDU EKY’OKU NSI EKY’EKIBIINA KYA YAKUWA KIRIMU:

  1. Akakiiko Akafuzi

  2. Obukiiko bw’Amatabi

  3. Abalabirizi abakyalira ebibiina

  4. Obukiiko bw’abakadde

  5. Ebibiina

  6. Ababuulizi

6. Enkuŋŋaana zaffe zituganyula zitya?

6 Waliwo n’ensonga endala lwaki Katonda ayagala tukuŋŋaanenga wamu. Ebyo bye tuyiga mu nkuŋŋaana z’ekibiina ne mu nkuŋŋaana ennene bituyamba okweyongera okubuulira n’obuvumu wadde ng’abantu batuziyiza oba nga tebaagala kuwulira bubaka bwaffe. (Bik. 4:23, 31) Emboozi eziweebwa n’ebitundu ebirala ebiba mu nkuŋŋaana bituzzaamu amaanyi era binyweza okukkiriza kwaffe. (Bik. 15:32; Bar. 1:11, 12) Bwe tubeerako awamu ne bakkiriza bannaffe tubudaabudibwa era tufuna essanyu lingi. (Zab. 94:12, 13) Akakiiko Akakola ku by’Okuyigiriza akali wansi w’Akakiiko Akafuzi ke kakola enteekateeka ez’okuyigiriza abantu ba Yakuwa mu nsi yonna. Tuli basanyufu nnyo olw’obulagirizi bwe tufuna mu nkuŋŋaana zaffe buli wiiki!

7, 8. (a) Ensonga esinga obukulu lwaki tugenda mu nkuŋŋaana y’eruwa? (b) Okubaawo mu nkuŋŋaana kikuganyudde kitya?

7 Ng’oggyeko okuba nti enkuŋŋaana zituganyula nnyo, ensonga esinga obukulu lwaki tugenda mu nkuŋŋaana kwe kusinza Yakuwa. (Soma Zabbuli 95:6.) Tugitwala nga nkizo ya maanyi okutendereza Katonda waffe omulungi ennyo! (Bak. 3:16) Yakuwa agwanidde okusinzibwa. Tumusinza nga tubeerawo mu nkuŋŋaana era nga tuzenyigiramu. (Kub. 4:11) Eyo ye nsonga lwaki ebyawandiikibwa bitukubiriza ‘obutalekaayo kukuŋŋaananga wamu ng’abamu bwe bakola.’​—Beb. 10:25.

8 Enkuŋŋaana zaffe kye kimu ku bintu Yakuwa by’atuwadde okutuyamba okusigala nga tuli beesigwa gy’ali okutuukirira ddala ku nkomerero. Naffe bwe tutyo bwe tuzitwala? Bwe kiba bwe kityo, tujja kukola kyonna ekisoboka okulaba nti tubaawo mu nkuŋŋaana zonna wadde nga tulina eby’okukola bingi. (Baf. 1:10) Tetusaanidde kusubwa lukuŋŋaana lwonna okuggyako nga waliwo ensonga ey’amaanyi ennyo.

NOONYA ABANTU AB’EMITIMA EMIRUNGI

9. Kiki ekiraga nti omulimu gw’okubuulira mukulu nnyo?

9 Ekintu ekirala kye tulina okukola okusobola okutambulira awamu n’ekibiina kya Yakuwa kwe kuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Yesu ye yatandikawo omulimu gw’okubuulira bwe yali wano ku nsi. (Mat. 28:19, 20) Okuva olwo, omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi n’okufuula abantu abayigirizwa kye kimu ku bintu ebikulu ekibiina kya Yakuwa bye kibadde kikola. Waliwo ebyokulabirako bingi ebiraga nti bamalayika batuwagira nga tukola omulimu gw’okubuulira era nti batuyamba okuzuula abantu ‘abalina endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo.’ (Bik. 13:48; Kub. 14:6, 7) Ensonga enkulu lwaki ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Yakuwa kyateekebwawo kwe kulaba nti omulimu ogwo gukolebwa bulungi. Naffe omulimu ogwo gwe tukulembeza mu bulamu bwaffe?

10. (a) Kiki ekiyambye ow’oluganda omu okwongera okwagala amazima? (b) Omulimu gw’okubuulira gukuyambye gutya okwongera okwagala amazima?

10 Bwe tuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira kituyamba okwongera okwagala amazima. Lowooza ku bigambo bino Ow’oluganda Mitchel, amaze ekiseera ng’aweereza ng’omukadde era nga payoniya bye yayogera. Yagamba nti: ‘Njagala nnyo okuyamba abantu okuyiga amazima. Buli lw’ensoma magazini y’Omunaala gw’Omukuumi oba Awake! nsangamu amagezi amalungi ennyo. Mba mpulira nga njagala okugenda okubuulira abantu ku bintu bye mba nsomye mu magazini ezo n’okubasikiriza okuzisoma. Omulimu gw’okubuulira gunnyambye okukulembeza ebintu ebisinga obukulu mu bulamu. Nfuba okulaba nti tewali kintu kyonna kiyingirira biseera bye nnateekawo okugendanga okubuulira.’ Okufaananako ow’oluganda oyo, naffe bwe tuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira, kijja kutuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa mu nnaku zino ez’oluvannyuma.​—Soma 1 Abakkolinso 15:58.

FUBA OKUSOMA EBITABO BYAFFE

11. Lwaki tusaanidde okufuba okusoma ebitabo byonna bye tufuna era ne tufumiitiriza ku ebyo bye tusoma?

11 Yakuwa atuzzaamu amaanyi ng’ayitira mu bitabo ebitali bimu bye tufuna mu kibiina. Oyinza okuba ng’olina ekitundu kye wasoma mu kimu ku bitabo byaffe n’owulira nga gy’obeera baali bakiwandiikidde ggwe. Ekyo tekyaliwo mu butanwa. Okuyitira mu bitabo byaffe, Yakuwa atuyigiriza era atuwa obulagirizi bwe twetaaga. Yakuwa yagamba nti: ‘Nnaakuyigirizanga era nnaakulaganga ekkubo ly’onooyitangamu.’ (Zab. 32:8) Tufuba okusoma ebitabo byonna bye tufuna era ne tufumiitiriza ku ebyo bye tusoma? Bwe tukola bwe tutyo, kijja kutuyamba okweyongera okubala ebibala n’obutaddirira mu by’omwoyo mu nnaku zino ez’oluvannyuma.​—Soma Zabbuli 1:1-3; 35:28; 119:97.

12. Kiki ekiyinza okutuyamba okwongera okutwala ebitabo byaffe nga bya muwendo?

12 Okulowooza ku bintu ebitali bimu ebikolebwa ne tusobola okufuna ebitabo byaffe kijja kutuyamba okwongera okubitwala nga bya muwendo. Akakiiko Akakola ku by’Okuwandiika akali wansi w’Akakiiko Akafuzi kalabirira omulimu ogw’okunoonyereza, ogw’okuwandiika n’okwekebejja ebiba biwandiikiddwa, ogw’okubivvuunula mu nnimi ezitali zimu, n’ogw’okulonda ebifaananyi ebigenderako. Ate era kategeka n’ebintu ebiba bigenda okuteekebwa ku Intaneeti. Amatabi gaffe agakuba ebitabo bwe gamala okubikuba, gabiweereza mu bibiina ebitali bimu. Lwaki ebintu ebyo byonna bikolebwa? Bikolebwa abantu ba Yakuwa basobole okuliisibwa obulungi mu by’omwoyo. (Is. 65:13) N’olwekyo, ka tufube okusoma ebitabo byonna bye tufuna mu kibiina kya Yakuwa.​—Zab. 119:27.

WAGIRA ENTEEKATEEKA Z’EKIBIINA KYA YAKUWA

13, 14. Baani abali mu ggulu abawagira ekibiina kya Yakuwa, era tuyinza tutya okubakoppa?

13 Mu kwolesebwa kwe yafuna, omutume Yokaana yalaba Yesu nga yeebagadde embalaasi enjeru ng’alwanyisa abo abatagondera Yakuwa. (Kub. 19:11-15) Ate era yalaba Abakristaayo abaafukibwako amafuta abaamala edda okugenda mu ggulu awamu ne bamalayika abeesigwa nga beebagadde embalaasi nga bagoberera Yesu. (Kub. 2:26, 27) Bamalayika n’abaafukibwako amafuta bataddewo ekyokulabirako ekirungi mu kuwagira enteekateeka za Yakuwa.

14 Mu ngeri y’emu, ab’ekibiina ekinene bafuba okuwagira omulimu gwa baganda ba Kristo abaafukibwako amafuta abakyali ku nsi era abatwala obukulembeze mu kibiina kya Yakuwa leero. (Soma Zekkaliya 8:23.) Tuyinza tutya okukiraga nti tuwagira enteekateeka z’ekibiina kya Yakuwa? Engeri emu gye tuyinza okukikolamu kwe kugondera abo abatwala obukulembeze mu kibiina kya Yakuwa. (Beb. 13:7, 17) Kino kitandikira mu bibiina byaffe. Ebyo bye twogera ku bakadde mu kibiina biyamba abalala okubassaamu ekitiibwa n’okusiima emirimu gye bakola? Tukubiriza abaana baffe okussa ekitiibwa mu bakadde n’okukolera ku magezi ge babawa? Waliwo n’engeri endala gye tusobola okuwagiramu ekibiina kya Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, ng’amaka, tufuba okukola enteekateeka okubaako ssente ze tuwaayo okuwagira omulimu gw’okubuulira? (Nge. 3:9; 1 Kol. 16:2; 2 Kol. 8:12) Twenyigira mu kuyonja n’okuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka? Yakuwa bw’anaakiraba nti tuwagira ekibiina kye, ajja kutuwa omwoyo gwe omutukuvu. Omwoyo gwe gujja kutuyamba okufuna amaanyi ge twetaaga okusobola okweyongera okumuweereza mu nnaku zino ez’oluvannyuma.​—Is. 40:29-31.

WEEYISE MU NGERI ESANYUSA KATONDA

15. Lwaki kitwetaagisa okufuba ennyo okusobola okukola ekituufu mu maaso ga Yakuwa?

15 Okusobola okweyongera okutambulira awamu n’ekibiina kya Yakuwa, tulina okweyisa mu ngeri emusanyusa. (Bef. 5:10, 11) Olw’okuba tetutuukiridde era nga tuli mu nsi efugibwa Sitaani, tulina okufuba ennyo okusobola okukola ekituufu. Abamu ku mmwe baganda baffe ne bannyinaffe kibeetaagisa okufuba ennyo buli lunaku okusobola okusigala nga mulina enkolagana ennungi ne Yakuwa. Mube bakakafu nti Yakuwa alaba okufuba kwammwe era abaagala nnyo. Temulekuliranga! Bwe tufuba okukola Yakuwa by’ayagala, kituleetera essanyu lingi era tuba bakakafu nti tusiimibwa mu maaso ge.​—1 Kol. 9:24-27.

16, 17. (a) Kiki kye tusaanidde okukola singa tukola ekibi eky’amaanyi? (b) Ekyokulabirako kya Anne kituyigiriza ki?

16 Watya singa tukola ekibi eky’amaanyi? Tetusaanidde kugezaako kukikweka. Tusaanidde okutuukirira abakadde mu bwangu nga bwe kisoboka batuyambe. Singa tusalawo okukweka ekibi kyaffe, tuba twongera buzibu ku buzibu. Dawudi bwe yasirikira ebibi bye, yawulira ng’amagumba ge agaali gaggwerera olw’okukaaba obudde okuziba. (Zab. 32:3) Mu butuufu, bwe tukweka ebibi eby’amaanyi bye tuba tukoze, tujja kuggwebwako essanyu era tuyinza n’okufiirwa enkolagana yaffe ne Yakuwa. Naye singa twatula ebibi byaffe era ne tubireka, Yakuwa ajja kutusaasira.​—Nge. 28:13.

17 Lowooza ku Anne.a Bwe yali mu myaka gye egy’obutiini yali aweereza nga payoniya owa bulijjo. Kyokka yatandika okutambulira mu bulamu obw’emirundi ebiri. Agamba nti: “Omuntu wange ow’omunda yatandika okunnumiriza. Essanyu lyanzigwako era buli kiseera nnabanga mwennyamivu.” Kiki kye yakola? Anne agamba nti lumu bwe yali mu lukuŋŋaana ow’oluganda yasoma era n’annyonnyola Yakobo 5:14, 15. Anne yakiraba nti yali yeetaaga obuyambi era yasalawo okutuukirira abakadde bamuyambe. Anne agamba nti: “Ennyiriri ezo ziringa eddagala Yakuwa ly’atuwa okutuyamba okuwona mu by’omwoyo. Eddagala eryo si lyangu kumira, naye liwonya. Nnakolera ku magezi agali mu nnyiriri ezo, era ekyo kyannyamba nnyo.” Kati mwannyinaffe Anne alina omuntu ow’omunda omuyonjo era aweereza Yakuwa n’obunyiikivu.

18. Kiki kye tusaanidde okufuba okukola?

18 Nga tulina enkizo ya maanyi nnyo okuba mu kibiina kya Yakuwa mu nnaku zino ez’oluvannyuma! Tetusaanidde kukkiriza kintu kyonna kutuleetera kufiirwa nkizo eyo. Mu kifo ky’ekyo, ka tufube okubeerangawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina, okubuulira n’obunyiikivu, n’okusoma ebitabo bye tufuna mu kibiina kya Yakuwa. Era ka tufube okuwagira abo abatwala obukulembeze mu kibiina kya Yakuwa n’okweyisa mu ngeri esanyusa Yakuwa. Bwe tunaakola bwe tutyo, kijja kutuyamba okutambulira awamu n’ekibiina kya Yakuwa era tetujja kulekulira kukola bintu birungi.

a Erinnya likyusiddwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share