‘Mumanyenga Ebintu Ebisinga Obukulu’
‘Mumanyenga ebintu ebisinga obukulu.’—BAF. 1:10.
1, 2. Bunnabbi ki obukwata ku nnaku ez’oluvannyuma obuyinza okuba nga bwewuunyisa abayigirizwa ba Yesu, era lwaki?
YESU yali agambye abayigirizwa be nti yeekaalu yali egenda kuzikirizibwa. Ekyo kyeraliikiriza nnyo Peetero, Yakobo, Yokaana, ne Andereya. (Mak. 13:1-4) Bwe kityo, baamubuuza nti: “Tubuulire, ebintu ebyo biribaawo ddi, era kabonero ki akaliraga okubeerawo kwo n’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu?” (Mat. 24:1-3) Yesu bwe yali abaddamu, yababuulira ebintu ebyandibaddewo nga Yerusaalemi kinaatera okuzikirizibwa awamu n’ebyo ebyandibaddewo mu nnaku ez’oluvannyuma ez’ensi ya Sitaani. Yesu yayogera ku bintu ebibi ebyandibaddewo, gamba ng’entalo, enjala, n’okweyongerayongera kw’obujeemu. Naye waliwo n’ekintu ekirungi ekyandibaddewo Yesu kye yayogerako. Yagamba nti: “Amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.”—Mat. 24:7-14.
2 Abayigirizwa baali bamaze ekiseera nga bakolera wamu ne Yesu omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (Luk. 8:1; 9:1, 2) Bayinza okuba nga bajjukira ebigambo bino Yesu bye yali abagambye: “Eby’okukungula bingi naye abakozi batono. Kale musabe Nnannyini makungula aweereze abakozi mu makungula ge.” (Luk. 10:2) Kyokka bateekwa okuba nga beebuuza: ‘Tunaasobola tutya okubuulira mu “nsi yonna etuuliddwamu” n’okuwa “obujulirwa eri amawanga gonna”? Era abakozi banaava wa?’ Mu butuufu abayigirizwa bayinza okuba nga baali tebalaba ngeri bigambo ebiri mu Matayo 24:14 gye byandituukiriziddwamu.
3. Ebigambo ebiri mu Lukka 21:34 bituukiriziddwa bitya leero, era bibuuzo ki buli omu ku ffe by’asaanidde okwebuuza?
3 Obunnabbi bwa Yesu butuukirira mu kiseera kino. Kati abantu bukadde na bukadde beenyigira mu mulimu gw’okubuulira mu nsi yonna. (Is. 60:22) Kyokka Yesu yakiraga nti mu nnaku zino ez’oluvannyuma, abamu ku bayigirizwa be kyandibakaluubiridde okusigala nga bakulembeza omulimu gw’okubuulira mu bulamu bwabwe. Bandyemalidde ku bintu ebirala ekyo ne kibaleetera okuwugulibwa. (Soma Lukka 21:34.) Ekyo kyennyini kye kiriwo leero. Abamu ku bantu ba Katonda bawuguliddwa. Ekyo kyeyolekera mu ebyo bye basalawo bwe kituuka ku mirimu, ku buyigirize obwa waggulu, ku by’obugagga, awamu n’ebiseera bye bamalira ku by’emizannyo ne ku by’okwesanyusaamu. Abamu okweraliikirira ebintu eby’obulamu kibaleetedde okunafuwa mu by’omwoyo. Kati weebuuze: ‘Nze nnyimiridde ntya? Ebyo bye nsalawo biraga nti okukola Katonda by’ayagala kye nkulembeza mu bulamu bwange?’
4. (a) Kiki Pawulo kye yasabira Abakristaayo ab’omu Firipi, era lwaki? (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino n’ekiddako, era ebitundu bino binaatuyamba bitya?
4 Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka baalina okufuba ennyo okusobola okukulembeza ebintu eby’omwoyo mu bulamu bwabwe. Eyo ye nsonga lwaki omutume Pawulo yasabira bakkiriza banne ab’omu Firipi ‘basobole okumanya ebintu ebisinga obukulu.’ (Soma Abafiripi 1:9-11.) Okufaananako omutume Pawulo, Abakristaayo abasinga obungi abaaliwo mu kiseera ekyo ‘baayolekanga obuvumu nga babuulira ekigambo kya Katonda awatali kutya.’ (Baf. 1:12-14) Mu ngeri y’emu, abasinga obungi ku ffe leero twoleka obuvumu nga tubuulira Ekigambo kya Katonda. Kyokka, okwekenneenya ebyo ekibiina kya Yakuwa bye kikola leero kijja kutuzzaamu nnyo amaanyi era kijja kutuyamba okweyongera okubuulira n’obunyiikivu. Mu kitundu kino tugenda kwekenneenya engeri Yakuwa gy’akozesaamu ekibiina kye okutuukiriza ebigambo ebiri mu Matayo 24:14. Tugenda kulaba omulimu ekibiina kya Yakuwa gwe kyemaliddeko, era ekyo kijja kutuzzaamu nnyo amaanyi awamu n’ab’omu maka gaffe. Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba ekyo ekiyinza okutuyamba okweyongera okukola omulimu Yakuwa gw’atuwadde n’okutambulira awamu n’ekibiina kye.
EKITUNDU EKY’OMU GGULU EKY’EKIBIINA KYA YAKUWA KIGENDA MU MAASO
5, 6. (a) Lwaki Yakuwa yalaga abaweereza be ebintu ebikwata ku kitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kye? (b) Kiki Ezeekyeri kye yalaba mu kwolesebwa kwe yafuna?
5 Waliwo ebintu bingi Yakuwa bye yasalawo obutateeka mu Kigambo kye. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli tetubuulira bingi bikwata ku bwongo oba ku bwengula, wadde ng’okumanya ebikwata ku bintu ebyo kyandibadde kituwuniikiriza nnyo! Mu kifo ky’ekyo, okuyitira mu Bayibuli Yakuwa atubuulira ebyo by’ayagala n’ebyo bye tulina okukola okusobola okumusanyusa. (2 Tim. 3:16, 17) Bayibuli etubuulira ebikwata ku kitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa. Ebintu ebikwata ku kitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa bye tusomako mu kitabo kya Isaaya, Ezeekyeri, Danyeri, n’Okubikkulirwa bituwuniikiriza nnyo! (Is. 6:1-4; Ez. 1:4-14, 22-24; Dan. 7:9-14; Kub. 4:1-11) Lwaki Yakuwa yasalawo okutubuulira ebintu ebikwata ku kitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kye?
6 Yakuwa ayagala bulijjo tukijjukire nti tuli mu kibiina kye, omuli ekitundu eky’omu ggulu n’eky’oku nsi. Ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa kirina ebintu bingi bye kikola okusobola okutuukiriza ekigendererwa kya Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, Ezeekyeri yafuna okwolesebwa n’alaba ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa nga kikiikiriddwa eggaali eddene ennyo. Eggaali eryo lyali liddukira ku sipiidi ya maanyi era nga likyuka mu bwangu obw’ekitalo. (Ez. 1:15-21) Ezeekyeri era yalaba oyo eyali avuga eggaali eryo. Yagamba nti: ‘Yali afaanana ng’ekyuma ekimasamasa ekyetooloddwa omuliro. Kyali ng’ekitiibwa kya Yakuwa.’ (Ez. 1:25-28) Ezeekyeri ateekwa okuba nga yawuniikirira nnyo oluvannyuma lw’okufuna okwolesebwa okwo! Yakiraba nti Yakuwa y’addukanya ekibiina kye ng’ayitira mu mwoyo gwe omutukuvu. Okwolesebwa okukwata ku ggaali eryo kulaga nti ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa kigenda mu maaso.
7. Okwolesebwa Danyeri kwe yafuna kutuyamba kutya okwongera okwesiga Yakuwa ne Yesu?
7 Danyeri naye yafuna okwolesebwa, era ebyo bye yalaba bituyamba okwongera okwesiga Yakuwa ne Yesu. Yalaba Yakuwa, “omukadde eyaakamala ennaku ennyingi” ng’atudde ku ntebe eriko ennimi z’omuliro era ng’eriko ne nnamuziga. (Dan. 7:9) Yakuwa yali ayagala Danyeri akimanye nti ekibiina kye kigenda mu maaso okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye. Danyeri era yalaba Yesu, oyo “eyafaanana ng’omwana w’omuntu,” ng’aweebwa obuyinza okulabirira ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Yakuwa. Yesu tafugira myaka mitono, wabula “okufuga kwe kwe kufuga okw’emirembe gyonna okutaliggwaawo, n’obwakabaka bwe bwe butalizikirizibwa.” (Dan. 7:13, 14) Okwolesebwa okwo kutuyamba okwongera okwesiga Yakuwa awamu n’ebyo by’akola okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye. Olw’okuba Yakuwa yawa Yesu “okufuga, n’ekitiibwa, n’obwakabaka,” ekyo kiraga nti Yakuwa yeesiga Omwana we. Bwe kityo, naffe tusaanidde okwesiga Yesu, Omukulembeze waffe.
8. Ezeekyeri ne Isaaya baakwatibwako batya okwolesebwa Yakuwa kwe yabawa, era okwolesebwa okwo kwanditukutteko kutya?
8 Okwolesebwa okukwata ku kitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa kwanditukutteko kutya? Okufaananako Ezeekyeri, okumanya ebyo Yakuwa by’akola kituleetera okuwuniikirira n’okuba abeetoowaze. (Ez. 1:28) Era okufaananako Isaaya, okulowooza ku bikwata ku kibiina kya Yakuwa kisobola okutukubiriza okubaako kye tukolawo. Yakuwa bwe yali anoonya omuntu ow’okutuma okugenda okubuulira abalala ebimukwatako, Isaaya yasitukiramu. (Soma Isaaya 6:5, 8.) Isaaya yali akimanyi nti Yakuwa yali wamu naye, era nti yali ajja kumuyamba okwaŋŋanga ebizibu byonna bye yandyolekaganye nabyo. Mu ngeri y’emu, okumanya ebikwata ku kitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa kyanditukubirizza okubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa. Kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti tuli mu kibiina ekigenda mu maaso nga kyemalidde ku kukola ebyo Yakuwa by’ayagala.
EKITUNDU EKY’OKU NSI EKY’EKIBIINA KYA YAKUWA
9, 10. Lwaki kyali kyetaagisa okuteekawo ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Yakuwa?
9 Okuyitira mu Mwana we, Yakuwa yassaawo ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kye ekikolera awamu n’ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kye. Ekyo kyali kyetaagisa okusobola okulaba nti omulimu ogwogerwako mu Matayo 24:14 gukolebwa bulungi. Lwaki tekyandibadde kyangu kukola mulimu ogwo singa ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Yakuwa tekyaliwo? Ka tulabeyo ensonga ssatu.
10 Esooka, Yesu yagamba nti abayigirizwa be bandibuulidde amawulire amalungi “okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba ewala.” (Bik. 1:8) Ey’okubiri, abo ababuulira amawulire amalungi bandibadde beetaaga okuliisibwa mu by’omwoyo n’okuzzibwamu amaanyi. (Yok. 21:15-17) Ey’okusatu, abo ababuulira amawulire amalungi bandibadde beetaaga okukuŋŋaananga awamu okusinza Yakuwa n’okuyiga engeri y’okukolamu omulimu ogwo. (Beb. 10:24, 25) Ebintu ebyo byonna okusobola okukolebwa, abayigirizwa ba Yesu bandibadde beetaaga okuba nga bategekeddwa bulungi.
11. Tuyinza tutya okukiraga nti tuwagira ekibiina kya Yakuwa?
11 Tuyinza tutya okukiraga nti tuwagira ekibiina kya Yakuwa? Engeri emu gye tuyinza okukiragamu kwe kwesiga ab’oluganda Yakuwa ne Yesu be balonze okutwala obukulembeze mu mulimu gw’okubuulira. Ab’oluganda abo ebiseera byabwe n’amaanyi gaabwe tebabimalidde ku bintu by’ensi. Kati olwo ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Yakuwa kyemalidde ku ki?
KIKULEMBEZA “EBINTU EBISINGA OBULUKU”
12, 13. Abakadde batuukiriza batya obuvunaanyizibwa bwabwe, era ekyokulabirako kyabwe kikuzzaamu kitya amaanyi?
12 Okwetooloola ensi, waliwo abakadde abatali bamu abaweereddwa obuvunaanyizibwa obw’okuteekateeka n’okulabirira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi gye baweereza. Ab’oluganda abo bwe baba baliko bye basalawo, bafuba okukolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda, ekiringa ‘ettabaaza eri ebigere byaffe n’omusana eri ekkubo lyaffe,’ era basaba Yakuwa abayambe okusalawo obulungi.—Zab. 119:105; Mat. 7:7, 8.
13 Okufaananako ab’oluganda abaali batwala obukulembeze mu kibiina mu kyasa ekyasooka, abakadde abalabirira omulimu gw’okubuulira leero beemalidde ku mulimu ‘gw’okuyigiriza ekigambo kya Katonda.’ (Bik. 6:4) Okulaba engeri omulimu gw’okubuulira gye gukulaakulanamu mu bitundu gye baweereza n’okwetooloola ensi yonna, kibasanyusa nnyo. (Bik. 21:19, 20) Mu kifo ky’okuteerawo abantu ba Katonda olukunkumuli lw’amateeka, ab’oluganda abo bafuba okukolera ku bulagirizi obuli mu Byawandiikibwa n’obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu nga bakola enteekateeka ezeetaagisa okusobozesa omulimu gw’okubuulira okugenda mu maaso. (Soma Ebikolwa 15:28.) Mu kukola batyo, ab’oluganda abo bateerawo abalala mu kibiina ekyokulabirako ekirungi.—Bef. 4:11, 12.
14, 15. (a) Bintu ki ebikolebwa okusobola okutuyamba okubuulira amawulire amalungi mu nsi yonna? (b) Enkizo gy’olina ey’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira ogitwala otya?
14 Ab’oluganda bangi okwetooloola ensi bakola butaweera okuteekateeka enkuŋŋaana z’ekibiina, enkuŋŋaana ennene, awamu n’ebitabo bye tukozesa mu kibiina ne mu buweereza. Ng’ekyokulabirako, ab’oluganda bangi bakola nga bannakyewa okuvvuunula ebitabo byaffe mu nnimi ezisukka mu 600. Ekyo kisobozesezza abantu bangi okuyiga ‘ebintu bya Katonda eby’ekitalo’ mu nnimi zaabwe. (Bik. 2:7-11) Waliwo baganda baffe ne bannyinaffe bangi abakola omulimu gw’okukuba ebitabo byaffe. Oluvannyuma ebitabo ebyo biweerezebwa mu bibiina ebiri okumpi n’ewala.
15 Ne mu bitundu byaffe, waliwo ab’oluganda bangi abakola ebintu ebitali bimu okusobola okutuyamba okulembeza omulimu gw’okubuulira mu bulamu bwaffe. Ng’ekyokulabirako, waliwo ab’oluganda bangi abayambako mu mulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka n’ebizimbe by’Enkuŋŋaana Ennene, abadduukirira abo ababa bagwiriddwako obutyabaga oba abo ababa beetaaga obujjanjabi obw’amaanyi, abateekateeka enkuŋŋaana ennene, awamu n’abo abasomesa mu masomero g’ekibiina. Lwaki ab’oluganda abo bakola ebintu ebyo byonna? Babikola okusobozesa omulimu gw’okubuulira okugenda mu maaso, okuyamba abo abakola omulimu ogwo okunywera mu by’omwoyo, n’okuyamba abantu abalala okufuuka abaweereza ba Yakuwa. Tewali kubuusabuusa nti ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Yakuwa kikulembeza ebintu ebisinga obukulu.
KOPPA EKIBIINA KYA YAKUWA
16. Bintu ki by’oyinza okusomako oba bye muyinza okusomako mu kusinza kwammwe okw’amaka?
16 Otera okufuna ebiseera n’ofumiitiriza ku bintu ebikwata ku kibiina kya Yakuwa? Ab’oluganda abamu bakozesa ekiseera eky’okusinza kw’amaka oba eky’okwesomesa okusoma ku bintu ebyo n’okubifumiitirizaako. Ng’ekyokulabirako, osobola okusoma ku ebyo ebiri mu kwolesebwa okwaweebwa Isaaya, Ezeekyeri, Danyeri, ne Yokaana. Ate era ekitabo Jehovah’s Witnesses—Proclaimers of God’s Kingdom n’ebitabo ebirala oba DVD bisobola okukuyamba okwongera okutegeera ekibiina kya Yakuwa.
17, 18. (a) Ekitundu kino kikuganyudde kitya? (b) Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?
17 Okufumiitiriza ku bintu Yakuwa by’akola ng’ayitira mu kibiina kye kituganyula nnyo. Okufaananako ekibiina kya Yakuwa, naffe tusaanidde okuba abamalirivu okukulembeza ebintu ebisinga obukulu. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kuba ng’omutume Pawulo. Yagamba nti: “Olw’okuba twasaasirwa ne tuweebwa obuweereza buno, tetulekulira.” (2 Kol. 4:1) Ate era omutume Pawulo yagamba bakkiriza banne nti: “Tetulekuliranga kukola birungi, kubanga ekiseera bwe kirituuka tulikungula singa tetukoowa.”—Bag. 6:9.
18 Kyandiba nti waliwo enkyukakyuka ze twetaaga okukola kinnoomu oba ng’amaka okusobola okukulembeza ebintu ebisinga obukulu mu bulamu? Kyandiba nti waliwo ebintu bye tulina okwerekereza kituyambe okwemalira ku mulimu gw’okubuulira? Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba ebintu bitaano ebinaatuyamba okweyongera okutambulira awamu n’ekibiina kya Yakuwa.