EBYAFAAYO
Tumaze Emyaka 50 nga Tuweereza nga Bapayoniya mu Bitundu Ebiri Okumpi ne Arctic Circle
Lumu waliwo mukwano gwaffe eyali aweereza nga payoniya gwe twagamba nti: “Ggwe tekikukaluubirira kuweereza nga payoniya. Bazadde bo bombi bali mu mazima, basobola okukuwagira.” Kyokka yatuddamu nti: “Ffenna tulina Kitaffe omu.” Ekyo kye yatuddamu kyalimu ensonga enkulu: Kitaffe ow’omu ggulu alabirira abaweereza be era abazzaamu amaanyi. Mu butuufu, Yakuwa atulabiridde bulungi mu kiseera kyonna kye tumaze nga tumuweereza.
BAZADDE baffe baatuzaala abaana kkumi era twali tubeera ku faamu mu bukiikakono bwa Ostrobothnia mu Finland. Ssematalo II we yatandikira, twali tukyali baana bato. Wadde ng’eddwaniro lyali walako okuva we twali tubeera, twali tukimanyi nti olutalo olwo lwali luleetedde abantu bangi okubonaabona. Lumu ekiro ekibuga Oulu ne Kalajoki ebyali okumpi ne we twali tubeera byasuulibwako bbomu era ne tulaba omuliro mu bbanga. Bazadde baffe baatugamba nti bwe tulabanga ennyonyi ennwanyi nga ziyitawo, twekwekenga. Mwannyinaffe omukulu, Tauno, bwe yatubuulira ku kisuubizo kya Katonda eky’ensi omutajja kuba kubonaabona, twayagala okumanya ebisingawo.
Tauno yayiga amazima nga wa myaka 14, oluvannyuma lw’okusoma ebitabo by’Abayizi ba Bayibuli. Olw’okuba yali amanyi ekyo Bayibuli ky’eyigiriza, Ssematalo II bwe yatandika, Tauno yagaana okuyingira amagye. Baamusiba mu kkomera era ne bamutulugunya nnyo. Kyokka ekyo kyamuleetera okwagala okweyongera okuweereza Yakuwa, era bwe yateebwa okuva mu kkomera yeeyongera okubuulira n’obunyiikivu. Ekyokulabirako ekirungi Tauno kye yatuteerawo kyatuleetera okwagala okugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa. Era twagendanga ne mu nkuŋŋaana ennene. Okusobola okufuna ssente ez’okututwala mu nkuŋŋaana ezo, twalinanga okukola ennyo. Twatungiranga baliraanwa baffe engoye, twalimanga obutungulu, era twanogeranga abantu ennyaanya. Okuva bwe kiri nti twalinanga emirimu mingi ku faamu yaffe, twagendanga mu nkuŋŋaana ennene za njawulo.
Okuva ku kkono: Matti (taata), Tauno, Maria Emilia (maama), Väinö (gwe baleze), Saimi, Aili, ne Annikki mu 1935
Ebyo bye twayiga ebikwata ku Yakuwa n’ebigendererwa bye byatuleetera okumwagala ennyo era ne tusalawo okwewaayo gy’ali. Twabatizibwa mu 1947 (Annikki yali wa myaka 15 ate Aili yali wa myaka 17). Muganda waffe Saimi naye yabatizibwa mu 1947. Era twayiga Bayibuli ne muganda waffe ayitibwa Linnea, mu kiseera ekyo eyali omufumbo. Linnea, omwami we, n’abaana baabwe baafuka Abajulirwa ba Yakuwa. Bwe twamala okubatizibwa, tweteerawo ekiruubirirwa eky’okuweerezangako nga bapayoniya abawagizi.
TUYINGIRA OBUWEEREZA OBW’EKISEERA KYONNA
Okuva ku kkono: Eeva Kallio, Saimi Mattila-Syrjälä, Aili, Annikki, ne Saara Noponen mu 1949
Mu 1955, twagenda okubeera mu kibuga Kemi. Wadde nga ffembi twali tukola emirimu egy’ekiseera kyonna, twali twagala okuweereza nga bapayoniya, kyokka twali tutya nti tuyinza obutasobola kweyimirizaawo. Twali tulowooza nti twetaaga okusooka okuterekawo ku ssente ezandituyambye okweyimirizaawo. Mu kiseera ekyo we twayogererako ne mwannyinaffe, gwe twogeddeko waggulu, eyali aweereza nga payoniya. Yatuyamba okukiraba nti okusobola okuweereza nga bapayoniya, twali twetaaga okwesiga Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu, nti asobola okutulabirira.
Nga tugenda ku lukuŋŋaana olunene mu Kuopio mu 1952.Okuva ku kkono: Annikki, Aili, ne Eeva Kallio
Mu kiseera ekyo, ssente ze twalinawo zaali zitumala okweyimirizaawo okumala emyezi ebiri gyokka. Bwe kityo, wadde nga twalinamu okutya, mu Maayi 1957, twasaba okuweereza nga bapayoniya okumala emyezi ebiri mu kibuga Pello mu Lapland. Kyokka, oluvannyuma lw’emyezi egyo ebiri, ssente zaffe zonna zaali zikyaliwo. Bwe kityo twasalawo okusaba okuweereza nga bapayoniya okumala emyezi emirala ebiri. Emyezi egyo we gyaggwerako, ssente zaffe zonna era zaali zikyaliwo. Ekyo kyatukakasa nti ddala Yakuwa yali ajja kutulabirira. Kati tumaze emyaka 50 nga tuweereza nga bapayoniya naye ssente zaffe ezo zikyaliwo! Bwe tulowooza ku kiseera kye tumaze nga tuweereza Yakuwa, tuwulira nga gy’obeera Yakuwa abadde atukutte ku mukono gwaffe ng’atugamba nti: ‘Temutya; nze nnaabayambanga.’—Is. 41:13.
Tumaze emyaka egisukka mu 50 nga tuweereza nga bapayoniya, naye ssente zaffe zikyaliwo!
Kaisu Reikko ne Aili nga bali mu buweereza bw’ennimiro
Mu 1958, omulabirizi waffe ow’ekitundu yatusaba okugenda okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo mu kibuga Sodankylä ekya Lapland. Mu kiseera ekyo, mu kitundu ekyo mwalimu Omujulirwa wa Yakuwa omu yekka. Muganda waffe oyo yayiga amazima mu ngeri eyeewuunyisa. Katabani ke kaali kagenze ne bayizi bannaako okulambula mu kibuga kya Finland ekikulu, Helsinki. Bwe baali bayita mu kibuga nga batambula, katabani ke ke kaali kasembye emabega ku layini. Waliwo muganda waffe nnamukadde eyawa akalenzi ako magazini ya Watchtower era n’akagamba kagitwalire maama waako. Akalenzi ako kaagitwalira maama waako, era maama waako bwe yagisoma, yakirabirawo nti yali azudde amazima.
Twapangisa ennyumba eyali waggulu w’ebbajjiro era mu nnyumba eyo mwe twafuniranga enkuŋŋaana. Mu kusooka, twabeeranga bana mu nkuŋŋaana: ffe ababiri, muganda waffe eyali abeera mu kitundu ekyo, awamu ne muwala we. Bwe twabanga mu nkuŋŋaana, twasomeranga wamu ebintu ebyalinanga okusomebwa mu wiiki eyo. Oluvannyuma, omusajja eyali yasomako n’Abajulirwa ba Yakuwa yajja n’atandika okukolera mu bbajjiro eryali ku nju kwe twali tusula. Omusajja oyo awamu n’ab’omu maka ge baatandika okujja mu nkuŋŋaana. Oluvannyuma lw’ekiseera, ye ne mukyala we baabatizibwa. Ow’oluganda oyo yatandika okukubiriza enkuŋŋaana zaffe. Waliwo n’abasajja abalala abaali bakola mu bbajjiro abaatandika okujja mu nkuŋŋaana zaffe era ne bafuuka abaweereza ba Yakuwa. Mu myaka mitono, omuwendo gw’ababuulizi gweyongera era ekibiina ne kitandikibwawo.
OBUZIBU BWE TWAYOLEKAGANA NABWO
Bwe twabanga tugenda okubuulira twatambulanga eŋŋendo empanvu. Mu biseera eby’omusana, twatambulanga, twavuganga obugaali, era oluusi twakozesanga n’amaato nga tugenda okubuulira. Naye okusingira ddala twakozesanga nnyo obugaali. Ng’oggyeko okubukozesa nga tugenda okubuulira, twabukozesanga nga tugenda ku nkuŋŋaana ennene oba nga tugenda okukyalira bazadde baffe, abaali babeera ewala okuva we twali tubeera. Mu biseera by’obutiti, twalinyanga bbaasi nga tugenda mu bitundu gye twabanga tugenda okubuulira. Bwe twamalanga okubuulira ekyalo ekimu, twatambulanga ne tugenda ku kyalo ekirala. Ebiseera ebimu omuzira gwabanga mungi nnyo era oluusi gwajjulanga mu nguudo. Bwe waabangawo abantu abaabanga baakayita mu luguudo nga bali mu bigaali ebisikibwa embalaasi, naffe kyatwanguyiranga okuyita mu luguudo olwo nga tuyitira we baabanga bayise. Omuzira bwe gwabanga gutandise okusaanuuka, kyabanga kizibu okuguyitamu.
Nga tubuulira mu biseera by’obutiti
Obudde bwe bwabanga obunnyogovu ennyo, twayambalanga gambuutusi nga munda tutaddemu sitookisi bbiri oba ssatu ng’okwo kw’otadde ne sitookisi ez’ebyoya. Omuzira gwayingiranga mu gambuutusi zaffe nga tutambula. Bwe twabanga tuyingira mu nnyumba y’omuntu, twaggyangamu gambuutusi ne tuyiwa omuzira ogwabanga guyingiddemu. Ate era ebikooti byaffe ebiwanvu bye twayambalanga byakweyanga mu muzira ne bitoba era oluvannyuma ne bikwata omuzira. Omukyala omu gwe twali tugenze okubuulira yatugamba nti, “Bawala mmwe muteekwa okuba nga mulina okukkiriza kwa maanyi. Olaba muzze okutubuulira mu budde obubi bwe buti!” Twali tutambudde mayiro nga musanvu okutuuka ew’omukyala oyo.
Olw’okuba twalinanga okutambula eŋŋendo empanvu, emirundi mingi twasulanga mu maka g’abantu ab’omu kitundu gye twabanga tugenze okubuulira. Obudde bwe bwatandikanga okuwungeera, twatandikanga okusaba abantu okutusuza. Wadde ng’abantu abasinga obungi baali baavu, baali ba kisa era baatufuniranga aw’okusula era oluusi baatuwanga n’eby’okulya. Ebiseera ebisinga baatuwanga amaliba okweyalira n’okwebikka. Kyokka abantu abamu baabanga n’ebisenge by’abagenyi. Ng’ekyokulabirako, omukyala omu eyalina ennyumba ennene yatusuza mu kisenge ky’abagenyi omwali ekitanda ekirungi n’amasuuka amalungi. Emirundi mingi twakubaganyanga ebirowoozo ku Bayibuli n’abantu abaabanga batusuzizza okutuukira ddala mu matumbi budde. Lumu twasula mu kisenge kimu n’omwami ne mukyala we abaatusuza. Twakubaganya nabo ebirowoozo ku Byawandiikibwa kumpi ekiro kyonna. Omwami oyo ne mukyala we baatubuuza ebibuuzo bingi.
TWAFUNA EBIBALA MU MULIMU GW’OKUBUULIRA
Ebitundu by’e Lapland birabika bulungi nnyo. Naye ffe ekyasinga okutusanyusa, be bantu ab’omu bitundu ebyo abaali baagala okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Mu bantu abo mwe mwali abasalamala abaali bazze e Lapland. Bwe twagendanga mu bifo we baasulanga, oluusi twayingiranga mu nnyumba nga mulimu abasajja bangi kyokka nga ffe tuli babiri ffekka. Abasajja abo baali baagala nnyo okuyiga ebikwata ku Katonda era bakkirizanga n’okutwala ebitabo byaffe.
Waliwo ebintu bingi ebyatuleetera essanyu. Lumu essaawa ey’oku siteegi ya bbaasi yali mu maaso eddakiika ttaano era twatuuka ku siteegi nga bbaasi emaze okusimbula. Twasalawo okulinnya bbaasi eyali egenda mu kitundu ekirala. Twali tetubuulirangako mu kitundu ekyo. Ku nnyumba gye twasookerako, twasangawo omukyala n’atugamba nti, “Nsanyuse okubalaba, obwedda ndi wano nga mbalinze.” Omukyala oyo yali agambye muganda we gwe twali tuyigiriza Bayibuli atugambe okugenda ewuwe ku lunaku olwo. Kyokka muganda we oyo yali tasobodde kutubuulira. Twatandika okuyigiriza omukyala oyo Bayibuli, era twatandika n’okuyigiriza ab’eŋŋanda ze abaali babeera okumpi ne we yali abeera. Ekiseera kyatuuka ne tutandika okubayigiririza awamu, era bonna awamu baali nga kkumi na babiri. Kati omukyala oyo awamu n’ab’eŋŋanda ze bangi Bajulirwa ba Yakuwa.
Mu 1965, twasindikibwa okuweereza mu kibiina ekiri mu Kuusamo, era n’okutuusa kati gye tukyali. Mu kiseera ekyo waaliyo ababuulizi batono nnyo. Mu kusooka, tekyatwanguyira kubuulira mu kitundu kino. Abantu baali bannaddiini nnyo era nga tebaagala Bajulirwa ba Yakuwa. Kyokka, abantu abasinga obungi baali bassa ekitiibwa mu Bayibuli, era ekyo kyakifuulanga kyangu okwogera nabo ku bintu ebiri mu Bayibuli. Mpolampola, twagenda tutegeera abantu b’omu kitundu era oluvannyuma lw’emyaka ng’ebiri, kyatandika okutwanguyira okufuna abayizi ba Bayibuli.
TUKYABUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Abamu ku abo be twayigiriza Bayibuli
Kati tetukyasobola kumala lunaku lulamba nga tubuulira, naye tubuulira kumpi buli lunaku. Mu 1987, Aili, nga wa myaka 56, yafuna ebbaluwa emukkiriza okuvuga emmotoka era ekyo kituyambye nnyo okubunyisa amawulire amalungi mu kitundu mwe tubuulira. Ate omukisa omulala gwe twafuna kwe kuba nti Ekizimbe ky’Obwakabaka ekipya bwe kyazimbibwa, baatuwaako aw’okusula.
Kituleetedde essanyu lingi okulaba ng’abantu bangi mu bukiikakono bwa Finland bakkirizza amazima. We twatandikira okuweereza nga bapayoniya, mu kitundu ekyo mwalimu ababuulizi batono nnyo. Naye kati waliyo ebibiina bingi. Emirundi mingi bwe tubeera ku nkuŋŋaana ennene, wabaawo abantu abajja ne batubuuza obanga tukyabajjukira. Abamu ku bo twasomanga ne bazadde baabwe Bayibuli nga bakyali bato. Ensigo ze twasiga emyaka mingi emabega zivuddemu ebibala!—1 Kol. 3:6.
Tunyumirwa okubuulira enkuba ne bw’eba etonnye
Mu 2008, twaweza emyaka 50 nga tuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo. Twebaza nnyo Yakuwa okuba nti atusobozesezza okuziŋŋanamu amaanyi ne tusobola okukola omulimu gwe okumala emyaka mingi. Tetubadde na bintu bingi mu bulamu, naye tetubulwangako kintu kyonna kye twetaaga mu bulamu. (Zab. 23:1) Kati tukiraba nti twali tetwetaaga kutya kutandika kuweereza nga bapayoniya. Emyaka gyonna gye tumaze nga tuweereza nga bapayoniya, Yakuwa atuzizzaamu nnyo amaanyi nga bwe yasuubiza mu Isaaya 41:10, awagamba nti: ‘Nnaakuwanga amaanyi, nnaakuyambanga, era nnaakuwaniriranga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.’