Okwejjukanya
Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Febwali 22, 2010. Akubiriza essomero ajja kukubiriza okwejjukanya mu ddakiika 20, ng’akwesigamya ku ebyo bye twayiga okuva nga Jjanwali 4 okutuuka mu Febwali 22, 2010.
1. Nsonga ki eziyinza okuba nga ze zaaviirako Abaisiraeri abamu okulwawo okugabana obusika bwabwe mu Nsi Ensuubize, era kino tukiyigirako ki? (Yoswa. 18:2, 3) [it-1-E lup. 359 kat. 5]
2. Yoswa yasinziira ku ki okwogera ebigambo ebiri mu Yoswa 24:14, 15, era kino kyanditukutteko kitya? [w08 5/15 lup. 17-18 kat. 4-6]
3. Ngeri ki emu abasinza ba Baali n’ensinza yaabwe gye byafuuka omutego era ekyambika eri Abaisiraeri? (Balam. 2:3) [w08 2/15 lup. 27 kat. 2-3]
4. Kiki kye tuyinza okuyigira ku ngeri Ekudi gye yayolekamu obuvumu ng’akozesa ekitala? (Balam. 3:16, 21) [w97-E 3/15 lup. 31 kat. 4]
5. Kituzzaamu kitya amaanyi bwe tuyiga ku ngeri Yakuwa gye yanunulamu Gidiyoni n’abasajja be 300? (Balam. 7:19-22) [w05-E 7/15 lup. 16 kat. 8]
6. Mu ngeri ki Yakuwa gye ‘yalumwa mu mwoyo gwe olw’ennaku Abaisiraeri gye baalimu’? (Balam. 10:16) [cl lup. 254-255 kat. 10-11]
7. Yefusa bwe yali nga yeeyama yalina ekirowoozo eky’okuwaayo omuntu nga ssaddaaka? (Balam. 11:30, 31) [w05 3/1 lup. 10 kat. 1]
8. Ddala amaanyi ga Samusooni gaali mu nviiri ze? (Balam. 16:18-20) [w05-E 3/15 lup. 28 kat. 5-6]
9. Okutegeera ekyo Samusooni kye yakola ekyogerwako mu Ekyabalamuzi 16:3 kituyamba kitya? [w04 10/15 lup. 15 kat. 7-8]
10. Bwe kiba nti ‘buli muntu yakolanga ekyali ekirungi mu maaso ge’ ekyo kyaleetawo akavuyo? (Balam. 17:6) [w05 3/1 lup. 11 kat. 6]