LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 2/15 lup. 26-27
  • Yigira ku Nsobi z’Abaisiraeri

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yigira ku Nsobi z’Abaisiraeri
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Enkolagana Yavaamu Okusinza Ebifaananyi
  • Obulimi Bwavaamu Okusinza Baali
  • Kulabula kw’Amaanyi gye Tuli Leero
  • “Balina Omukisa Abo Abeekuuma Bye Yategeeza”
  • “Mwegendereze Waleme Kubaawo Abafuula Abaddu”!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • “Abantu Abalina Yakuwa nga Ye Katonda Waabwe”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Temufuuka Bawulizi Abeerabira
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Ebikulu Okuva mu Kitabo ky’Ekyamateeka
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 2/15 lup. 26-27

Yigira ku Nsobi z’Abaisiraeri

ABAISIRAERI baagenda okuyingira mu Nsi Ensuubize nga bamanyi Yakuwa ky’abasuubira okukola. Okuyitira mu Musa, Katonda yali alagidde nti: “Muligobamu bonna abatuula mu nsi mu maaso gammwe, ne muzikiriza amayinja gaabwe gonna agaliko ebifaananyi, ne muzikiriza ebifaananyi byabwe byonna ebifumbe, ne musuulasuula ebifo byabwe byonna ebigulumivu.”​—Kubal. 33:52.

Abaisiraeri tebaalina kukola ndagaano n’abatuuze ba mu nsi eyo, newakubadde okufumbiriganwa nabo. (Ma. 7:2, 3) Mu butuufu baalabulwa nti: “Weekuume wekka, tolagaananga ndagaano n’abo abali mu nsi gy’ogenda, ereme okuba ng’ekyambika wakati mu ggwe.” (Kuv. 34:12) Kyokka Abaisiraeri baajeemera Katonda era baagwa mu kyambika. Kiki ekyabaleetera okugwa? Tuyiga ki mu ebyo ebyabatuukako?​—1 Kol. 10:11.

Enkolagana Yavaamu Okusinza Ebifaananyi

Bwe baali bayingira mu Nsi Ensuubize, Abaisiraeri baawangula abantu abaali bagibeeramu. Kyokka, tebaagondera mateeka ga Katonda mu bujjuvu. Tebaagoberamu ddala balabe baabwe. (Balam. 1:1–2:10) Mu kifo ky’ekyo, okubeera wakati mu ‘mawanga omusanvu’ agaali mu nsi eyo kyaleetera Abaisiraeri okukolagana n’abantu abo n’okubakolako omukwano. (Ma. 7:1) Kino kyabaviiramu ki? Baibuli egamba nti: “Ne bawasa abawala baabwe okuba bakazi baabwe, ne bawa abawala baabwe bo eri batabani baabwe, ne baweereza bakatonda baabwe. Abaana ba Isiraeri ne bakola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi, ne beerabira Mukama Katonda waabwe, ne baweerezanga Babaali ne Baasera.” (Balam. 3:5-7) Enkolagana n’abantu b’omu nsi eyo kyaleetera Abaisiraeri okufumbiriganwa nabo n’okusinza ebifaananyi. Kasita baatandika okufumbiriganwa nabo, kyali kizibu nnyo Abaisiraeri okugoba abakaafiiri bano mu nsi. Okusinza okw’amazima kwayonoonebwa, era Abaisiraeri baatandika okusinza bakatonda ab’obulimba.

Bwe baafuuka mikwano gyabwe, abatuuze b’omu Nsi Ensuubize baali bafuuse ba kabi nnyo eri Abaisiraeri okusinga bwe baali nga bakyali balabe baabwe. Lowooza ku ngeri endala okusinza okulongoofu gye kuyinza okuba nga kwayonoonekamu.

Obulimi Bwavaamu Okusinza Baali

Bwe baayingira mu Nsi Ensuubize, Abaisiraeri baava mu bulamu obw’obutaba na kifo kya nkalakkalira era bangi ku bo ne bafuuka balimi. Kyandiba nti engeri gye baalimangamu yali efaanana n’ey’abalimi abaali mu nsi eyo okusooka. Kirabika Abaisiraeri tebaakoma ku kukoppa nnima y’Abakanani, wabula baakoppa ensinza yaabwe eyalina akakwate n’obulimi.

Abakanani baalina Babaali bangi be basinza​—bakatonda be baali balowooza nti baajimusanga ettaka. Ng’oggyeko okulima n’okukungula ebirime, Abaisiraeri baatuuka ekiseera ne baatandika okusinza bakatonda b’Abakanani nga balowooza nti be baabaleeteranga amakungula amangi. N’olwekyo bangi mu Isiraeri baali balabika ng’abasinza Yakuwa naye nga mu butuufu baali bakyewaggula.

Kulabula kw’Amaanyi gye Tuli Leero

Abaisiraeri we baatandikira okukolagana n’abantu b’omu mu Nsi Ensuubize, tebaalina kigendererwa kya kwenyigira mu kusinza Baali okwalimu obugwenyufu. Naye ekyo kye kyava mu kukolagana n’abantu abo. Singa tukolagana n’abantu abalabika ng’abalungi naye nga tebagoberera nzikiriza na misingi gya Kikristaayo, tekiituviiremu bizibu ng’ebyo? Kyo kituufu nti mu ngeri emu oba endala kitwetaagisa okukolagana n’abatali bakkiriza ku mulimu, ku ssomero, oba awaka. Kyokka, ekyokulabirako ky’Abaisiraeri kitulaga nti okussaawo enkolagana ey’engeri ng’eyo kivaamu emitawaana. Baibuli egamba nti: “Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.”​—1 Kol. 15:33, NW.

Leero, twolekagana n’ebizibu bingi ebifaananako eby’Abaisiraeri. Ensi ya leero nayo erimu ebintu bingi abantu bye basinza. Mu byo mwe muli ssente, eby’obufuzi, abakulembeze b’eddiini abamu, abantu ab’amannya mu kuzannya firimu, mu kuyimba ne mu by’emizaanyo, oluusi n’ab’omu maka. Ekimu ku bino kiyinza okufuuka ekikulu ennyo mu bulamu bwaffe. Okuba n’enkolagana ey’okulusegere n’abantu abatayagala Yakuwa kiyinza okutusuula mu kabi mu by’omwoyo.

Mu kusinza Baali mwalimu okwetaba okw’obugwenyufu era kino kyasendasenda Abaisiraeri bangi. Emitego nga gino gikwasa abantu ba Katonda bangi. Ng’ekyokulabirako, okunyiga obunyizi akapeesa ku kompyuta ng’oli eka oyinza okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu ekyo ne kyonoona omuntu wo ow’omunda. Nga kya nnaku Omukristaayo okusikirizibwa okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu ku Internet!

“Balina Omukisa Abo Abeekuuma Bye Yategeeza”

Bwe kituuka ku kulonda emikwano, buli omu alina okwesalirawo okugondera Yakuwa oba obutamugondera. (Ma. 30:19, 20) N’olwekyo, tulina okwebuuza: ‘B’ani be mbeera nabo mu biseera byange eby’eddembe? Emitindo gya Katonda bagitunuulira batya? Basinza Yakuwa? Okuyita nabo kinannyamba okufuuka Omukristaayo asingawo obulungi?’

Omuwandiisi wa zabbuli yayimba nti: “Balina omukisa abo abatuukirira mu kkubo, abatambulira mu mateeka ga Mukama. Balina omukisa abo abeekuuma bye yategeeza, abamunoonya n’omutima gwonna.” (Zab. 119:1, 2) Mu butuufu, “alina omukisa buli atya Mukama, atambulira mu makubo ge.” (Zab. 128:1) Bwe kituuka ku kulonda emikwano, ka tuyigire ku nsobi Abaisiraeri ze baakola era tubeere bawulize eri Yakuwa.​—Nge. 13:20.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Okuba n’enkolagana ey’okulusegere n’abo abatayagala Yakuwa kiyinza okutuviirako okusinza ebifaananyi

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share