Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Febwali 22
WIIKI ETANDIKA FEBWALI 22
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
lv sul. 17 ¶11-22
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Ekyabalamuzi 19-21
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Akatabo ak’Okugaba mu Maaki. Saba ababuulizi babiri bannyonnyole ebintu ebisikiriza ebiri mu katabo akanaagabibwa era n’ennyanjula ezisinze okukola obulungi mu kitundu. Buli omu musabe alage ekyokulabirako oba alage ekyo kyennyini ekyaliwo ku ngeri y’okukozesaamu akatabo ako okutandika okuyigiriza omuntu Baibuli.
Ddak. 10: Okwogera mu Ngeri ey’Amagezi Kikubiriza Abantu Okuwuliriza. Kwogera okwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 251 okutuuka ku lupapula 253, akatundu 2.
Ddak. 10: Yamba Abapya Okutegeera Ekibiina kya Yakuwa. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza ku butundu obusatu obuli wansi w’omutwe omutono oguli ku lupapula 99 mu katabo Organized. Saba abawuliriza boogere engeri gye bayambyemu abapya okwegatta ku kibiina kya Yakuwa. Buuza omubuulizi eyaganyulwa olw’okuba eyamuyigiriza Baibuli yamuyamba mu ngeri eyo.