Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Maayi 1
“Ensi yandibadde etya singa buli omu yali akolera ku bigambo bya Yesu bino? [Soma Matayo 7:12, era muleke abeeko ky’addamu.] Ekitundu kino kyogera ku zimu ku njigiriza za Yesu okulaga ekyo kyennyini ekizingirwa mu kubeera Omukristaayo.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 16.
Awake! Maayi
“Olowooza embeera y’eby’enfuna eneerongooka kati? [Muleke abeeko ky’addamu.] Abasinga obungi tebamanyi ngeri Baibuli gy’esobola kutuyambamu nga tuli mu mbeera ng’eyo enzibu. [Soma ekyawandiikibwa ekiri mu kitundu.] Ekitundu kino kiraga engeri amagezi agali mu Baibuli gye gasobola okukuyamba okwaŋŋanga embeera y’eby’enfuna ekyukakyuka.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 18.
The Watchtower Jjuuni 1
“Obutafaananako myaka egyayita, leero amakanisa mangi tegoogera ku kibi. Olowooza mu kiseera kino tekikyetaagisa kwogera ku kibi, oba kye kintu ekitukwatako? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Abaruumi 5:12.] Magazini eno eraga ekyo Baibuli ky’eyogera ku kibi.”
Awake! Jjuuni
“Kirabika nti ebyeraliikiriza mu bulamu byeyongera bweyongezi. Okkiriziganya nange? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bangi bakkiriza nti ebigambo bino biwa emu ku nsonga lwaki waliwo ebyeraliikiriza bingi. [Soma 2 Timoseewo 3:1.] Magazini eno eyogera ku ngeri okweraliikirira gye kuyinza okukosaamu obulamu bwaffe. Era eyogera n’ebyo bye tuyinza okukola obuteeraliikirira nnyo.”