Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Febwali 1
“Olowooza Katonda awuliriza essaala zonna? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekyo Yesu kye yayogera ku nsonga eno. [Soma Matayo 6:7.] Ekitundu kino kiraga engeri Baibuli gy’eddamu ebibuuzo ebina ebikwata ku kusaba abantu bye batera okubuuza.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 16.
Awake! Febwali
“Bangi balowooza nti buli kimu ekibatuukako mu bulamu kiba kyabategekerwa dda. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Okusinziira ku kyawandiikibwa kino, tulina eddembe ery’okwesalirawo. [Soma Ekyamateeka 30:19.] Ekitundu kino kiraga ekyo Baibuli ky’eyogera ku ndowooza egamba nti buli ekitutuukako mu bulamu kiba kyatutegekerwa dda.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 12.
The Watchtower Maaki 1
“Olowooza buli ekitutuukako mu bulamu kiba kyatutegekerwa dda? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekyo Baibuli ky’eyogera ku nsonga eno. [Soma Omubuulizi 9:11.] Magazini eno ennyonnyola nti, wadde nga Katonda yateekateeka dda okufuula ensi eno ennungi mu biseera eby’omu maaso, buli omu amuleka okwesalirawo engeri gy’ayagala okukozesaamu obulamu bwe.”
Awake! Maaki
“Bangi leero beeraliikirira nnyo ebikwata ku ssente, naddala mu kiseera kino ng’eby’enfuna bizibuwadde nnyo. Ekyo okkiriziganya nakyo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze amagezi gano agatuweebwa mu Baibuli. [Soma 1 Timoseewo 6:8, 10.] Magazini eno erimu emisingi gya Baibuli egisobola okutuyamba okukozesa obulungi ssente zaffe mu ngeri eyinza okutuleetera okuba n’emirembe mu mutima.”