Bye Tuyinza Okwogera Nga Tugaba Magazini
The Watchtower Apuli 1
“Baibuli egamba nti Yesu yafa, naye ebitabo ebimu bigamba nti teyafa wabula nti yawasa era n’azaala n’abaana. Ekyo ggwe wali okiwuliddeko? [Muleke abeeko ky’addamu.] Kikulu nnyo okumanya amazima. [Soma Yokaana 17:3.] Ekitundu kino kituwa ensonga lwaki tusaanidde okwesiga ebyo Baibuli by’eyogera ku Yesu.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 26.
Awake! Apuli
Soma Zabbuli 37:9-11. Oluvannyuma mubuuze nti: “Olowooza ensi eneefaanana etya ng’ebyo ebiri mu kyawandiikibwa kino bituukiriziddwa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekitundu kino kyogera ku bunnabbi buno obuzaamu amaanyi era kinnyonnyola ensonga lwaki obubi bweyongedde nnyo mu nsi leero.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 20.
The Watchtower Maayi 1
“Wali weebuuzizzaako ensonga lwaki Katonda aleseewo okubonaabona? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze engeri omuwandiisi wa Baibuli omu gye yabuuzaamu ekibuuzo abantu abasinga obungi kye beebuuza. [Soma Zabbuli 10:1.] Magazini eno ennyonnyola ekyo Baibuli kyeyogera ku nsonga lwaki Katonda aleseewo okubonaabona era ne ky’akola kati okusobola okukuggyawo.”
Awake! Maayi
“Bangi baagala okulekerawo okunywa sigala naye kibazibuwalira nnyo. Waliwo omuntu yenna gw’omanyi ayagala okuva ku sigala? [Muleke abeeko ky’addamu.] Abamu bakisanze nga kya muganyulo okusaba obuyambi okuva eri mikwano gyabwe n’abeŋŋanda zaabwe. [Soma Omubuulizi 4:12a.] Magazini eno erimu amagezi agasobola okuyamba omuntu okuva ku sigala.”