Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Maayi 1
Soma Matayo 24:3. Oluvannyuma gamba: “Abamu balowooza nti ekibuuzo kino kikwata ku nkomerero y’ensi eno. Ggwe olowooza ensi eno eneezikirizibwa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekyo Yesu kye yaddamu kituyamba okutegeera nti ensi eno si y’egenda okuzikirizibwa, wabula kintu kirala. Ekitundu ekiri ku lupapula 16 kyongera okunnyonnyola ensonga eyo.”
Awake! Maayi
“Bannaddiini abamu bayigiriza nti bwe tukola ebisanyusa Katonda, ajja kutuwa eby’obugagga. Oboolyawo, olinayo abantu abalungi b’omanyi nga baavu. Ggwe olowooza Katonda ayagala tube bagagga? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Abebbulaniya 13:5.] Ekitundu kino kinnyonnyola engeri Katonda gy’atuwaamu emikisa.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 12.
The Watchtower Jjuuni 1
“Leero waliwo ebitabo bingi ebikwata ku kukuza abaana, ku mukwano, ne ku ngeri y’okufunamu eby’obugagga. Birina engeri yonna gye bikuganyuddemu? [Muleka abeeko ky’addamu.] Bangi babuusa amaaso ensibuko eno ey’amagezi ageesigika. [Soma 2 Timoseewo 3:16.] Magazini eno ennyonnyola ensonga lwaki twandyesize Baibuli era ewa agamu ku magezi ag’omuganyulo agagirimu.”
Awake! Jjuuni
“Oyinza okuba ng’okimanyi nti leero abantu bangi beebuuza obanga kituufu oba kikyamu okuggyamu embuto. Olowooza Baibuli esobola okuyamba omuntu okusalawo eky’okukola? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma 2 Timoseewo 3:16, 17.] Magazini eno eraga ekyo Baibuli ky’eyogera ku nsonga eno.”