Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Jjuuni 1
“Bangi balowooza nti eddiini zonna eziri mu nsi makubo ag’enjawulo agatutuusa eri Katonda. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Baibuli ky’egamba. [Soma Yoswa 24:15.] Ekitundu kino kirimu ensonga ezituyamba okutegeera oba ng’eddiini yaffe esobola okututuusa eri Katonda ow’amazima.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 12.
Awake! Jjuuni
“Ffenna twali tufiiriddwako abantu baffe. Olowooza twanditidde nti abamu ku bo banyiivu era nga baagala okutukolako akabi? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Omubuulizi 9:5, 6.] Ekitundu kino kijja kukuzzaamu nnyo amaanyi.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 22.
The Watchtower Jjulaayi 1
“Abantu bangi abalina Baibuli bazibuwalirwa okugitegeera. Naawe bw’otyo bw’oli? [Muleke abeeko ky’addamu.] Okusinziira ku lunyiriri luno, Nnannyini kuwandiika Baibuli ayagala tugitegeere bulungi era tugiganyulwemu. [Soma Zabbuli 119:130.] Magazini eno erimu ebintu bisatu ebiyinza okukuyamba okutegeera Baibuli.”
Awake! Jjulaayi
“Leero abantu bangi bennyamivu. Ggwe olowooza Katonda afaayo ku bantu abennyamivu? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Zabbuli 34:18.] Magazini eno ennyonnyola engeri abo abennyamivu gye bayinza okuyambibwamu Katonda, wadde nga era kibeetaagisa okufuna obujjanjabi. Era etuwa amagezi ku ngeri y’okubabudaabudamu.”