Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Agusito 1
“Bangi balowooza nti abantu bonna abalungi bajja kugenda mu ggulu. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze engeri ekyawandiikibwa kino gye kyogera ku nsi. [Soma Zabbuli 37:11, 29.] Ekitundu kino kiraga ekyo Yesu kye yayigiriza ku mbeera abantu gye balibeeramu ku nsi.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 22.
Awake! Agusito
“Okufiirwa omuzadde kye kimu ku bintu ebisinga okuleetera omuntu ennaku ey’amaanyi. Ekyo okikkiriza? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bangi babudaabudiddwa ebyawandiikibwa gamba nga kino. [Soma Okubikkulirwa 21:4.] Ekitundu kino kinnyonnyola engeri gye tuyinza okwewala okweraliikirira ekisukkiridde, naddala abavubuka.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 10.
The Watchtower Ssebutemba 1
“Abamu bagamba nti bw’oba omwesigwa eri Katonda, ajja kukuwa eby’obugagga naye nti bw’oba omwavu kiba kiraga nti tosiimibwa mu maaso ge. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekyewuunyisa kiri nti, Yesu teyali mugagga. [Soma Lukka 9:58.] Magazini eno eraga mikisa gya ngeri ki abaweereza ba Katonda gye basuubira okufuna.”
Awake! Ssebutemba
“Olowooza abavubuka balina ebizibu bingi okusinga bwe kyali mu myaka egyayita? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bangi bagamba nti ekyawandiikibwa kino kituukagana bulungi n’ekiseera kye tulimu. [Soma 2 Timoseewo 3:1.] Magazini eno erimu amagezi okuva mu Baibuli agasobola okuyamba abazadde n’abavubuka okwaŋŋanga ebizibu ebiriwo leero.”