Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Ssebutemba 1
“Emirundi egimu abantu bakola ebintu ebibi olw’okuba baabuzaabuzibwa eddiini ez’obulimba. Olowooza kiki ekiviirako abantu bano okulimbibwa ennyo bwe batyo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Baibuli ky’etugamba okukola. [Soma 1 Yokaana 4:1.] Ekitundu kino kinnyonnyola ensonga lwaki kikulu okugeraageranya enzikiriza zaffe n’ekyo Ekigambo kya Katonda kye kigamba.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 10.
Awake! Ssebutemba
Soma Matayo 5:39 era obuuze nti: “Olowooza Yesu yali ategeeza nti tulina kusirikanga busirisi nga waliwo atukoze ekikyamu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekitundu kino kiraga ekyo Baibuli ky’eyogera ku kwetaasa n’okufuna obukuumi mu b’obuyinza.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 10.
The Watchtower Okitobba 1
“Abantu abali mu madiini ag’enjawulo okwetooloola ensi yonna basaba. Olowooza ddala Katonda awulira era addamu okusaba? [Muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli etukubiriza okusaba. [Soma Abafiripi 4:6, 7.] Magazini eno etuwa eby’okuddamu mu bibuuzo omusanvu ebikwata ku kusaba abantu bye batera okwebuuza.”
Awake! Okitobba
“Tutera okuwulira abantu abaliiriddwamu olukwe bannaabwe mu bufumbo, bannabyabufuzi, n’abantu abalala. Olowooza kyeyongedde okuba ekizibu okufuna omuntu omwesigwa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bangi balowooza nti ekyawandiikibwa kino kituukiriziddwa. [Soma 2 Timoseewo 3:1-5.] Magazini eno ennyonnyola wa gye tuyinza okusanga abantu abeesigwa.”