LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 3/10 lup. 4
  • Bye Tuyinza Okwogera Nga Tugaba Magazini

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bye Tuyinza Okwogera Nga Tugaba Magazini
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Similar Material
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
km 3/10 lup. 4

Bye Tuyinza Okwogera Nga Tugaba Magazini

The Watchtower Maaki 1

Soma Okuva 20:15. Oluvannyuma gamba nti: “Wadde ng’abasinga obungi bagezaako okukwata ekiragiro kino, abamu balowooza nti okubba n’engeri endala ez’obutali bwesigwa tebiba bibi singa omuntu aba akikoze olw’embeera eziteebeereka. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekitundu kino kiraga emiganyulo egiri mu kubeera omwesigwa ekiseera kyonna.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 12.

Awake! Maaki

“Bangi bawa Baibuli ekitiibwa naye balowooza nti ebintu ebisinga obungi ebigirimu si bya mugaso nnyo mu kiseera kino. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu. Era osome Abaruumi 15:4.] Ekitundu kino kinnyonnyola ensonga lwaki n’ebintu ebikadde ennyo ebiri mu Baibuli bikyali bya mugaso.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 28.

The Watchtower Apuli 1

“Abantu bwe basabibwa okulonda omusajja eyasinga okuleeta enkyukakyuka ku nsi mu byafaayo, bangi balonda Yesu. Naawe gw’olonda? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ensonga lwaki tetusaanidde kukkiriza buli kimu ekyogerwa ku Yesu bwe tuba ab’okutegeera amazima. [Soma Yokaana 17:3.] Magazini eno ey’enjawulo eya Watchtower eraga ekyo kyennyini Baibuli ky’eyigiriza ku Yesu ne bye yayigiriza.”

Awake! Apuli

“Kirabika nti tetulina biseera bimala okusobola okukola buli kimu kye twandyagadde okukola. Okkiriziganya nange? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bangi bakisanze nti amagezi gano ga muganyulo. [Soma Abafiripi 1:10.] Magazini eno ewa amagezi aganaatuyamba okukozesa obulungi ebiseera byaffe.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share