LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 3/10 lup. 4
  • Ebirango

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
km 3/10 lup. 4

Ebirango

◼ Ebitabo eby’okugaba mu Maaki: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Ababuulizi basaanidde okufuba okutandika okuyigiriza abantu Baibuli abafunye akatabo kano oba abasangiddwa nga bakalina. Apuli ne Maayi: Watchtower ne Awake! Bwe muddayo eri abo abaagala okumanya ebisingawo abaaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo oba ku nkuŋŋaana ennene naye nga tebatera kubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina, mubawe akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Tubeere n’ekiruubirirwa eky’okutandika okubayigiriza Baibuli. Jjuuni: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Abantu abasangiddwa nga bakalina, ababuulizi bayinza okubawa akatabo Sinza Katonda Omu Ow’Amazima, Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwawo, oba brocuwa Katonda Atwetaagisa Ki?

◼ Amangu ddala nga mwakafuna magazini ya Watchtower ne Awake!, muziwe ababuulizi kibasobozese okumanya ebizirimu nga tebannaba kuzigaba mu buweereza bw’ennimiro.

◼ Omukolo gw’Ekijjukizo gujja kubaawo ku Lwokubiri nga Maaki 30, 2010. Zino z’ennyimba ezinaayimbibwa ku mukolo ogw’Ekijjukizo: oluyimba 8 ne 109 okuva mu katabo k’ennyimba akapya. Ekibiina kyammwe bwe kiba nga kibeera n’enkuŋŋaana ku lw’okubiri, mufube okuziteeka ku lunaku olulala olwa wiiki eyo. Ate bwe kiba nti ebibiina ebiwerako bikozesa Ekizimbe ky’Obwakabaka kye kimu, era ng’enkuŋŋaana tezisobola kuteekebwa ku lunaku lulala, ziyinza okusazibwamu. Ebitundu ebiri mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza nga bikwatira ddala ku kibiina kyammwe, biyinza okukubirizibwa mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olulala.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share