Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Apuli 5
WIIKI ETANDIKA APULI 5
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 15 ¶18-23, akasanduuko ku lup. 157
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: 1 Samwiri 16-18
Na. 1: 1 Samwiri 18:1-16
Na. 2: Kiki kye Tusaanidde Okulowoozaako nga Twekenneenya Obulombolombo bwa Ssekukkulu? (rs-E lup. 177 ¶4–lup. 178 ¶2)
Na. 3: Lwaki Kirungi Okusembezanga Abagenyi? (Bar. 12:13)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Bw’osanga Omuntu n’Akugamba nti, ‘Sikkiririza mu Katonda.’ Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku katabo Reasoning, olupapula 150 okutuuka ku 151.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 10: Kola Enteekateeka Okuddira Abapya Abaaliwo ku Mukolo gw’Ekijjukizo. Kwogera. Yogera omuwendo gw’abo abaaliwo ku Kijjukizo era n’ebirungi ebyaliwo ebikwata ku mukolo ogwo. Kubiriza bonna okuddira abapya abaaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo era n’okuba n’ekiruubirirwa eky’okutandika okubayigiriza Baibuli. Basaanidde n’okubayita okubaawo ku kwogera okw’enjawulo. Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi ayita omupya okubaawo ku kwogera okw’enjawulo.