Oluyimba 124
Basembeze
Printed Edition
1. Yakuwa afaayo ku bantu bonna.
Teri muntu yenna ye gw’asosola.
Teri n’omu gw’amma
musana na nkuba;
Atuwa emmere n’essanyu.
Buli lwe tulaga bannaffe ’kisa,
Katonda waffe gwe tuba tukoppa.
Kitaffe Yakuwa ajja kusasula
’Birungi ebyo bye tukola.
2. Kirungi nnyo ddala okuyambanga
’Bali mu bwetaavu ffe be tusanga.
Ne bwe kibeera nti ffe tetubamanyi,
Tekitugaana kubayamba.
Tubasembeze nga Lidiya w’edda
Bwe yayita ’waka,
ab’oluganda.
Kitaffe alaba bonna abakoppa
Ebikolwa bye eby’ekisa.
(Era laba Bik. 16:14, 15; Bar. 12:13; 1 Tim. 3:2; Beb. 13:2; 1 Peet. 4:9.)