Sembeza Abagenyi Osobole Okwogerako Nabo ku ‘Bintu Ebirungi’ (Mat. 12:35a)
Ffenna tusaanidde ‘okusembeza abagenyi,’ tusobole okwogerako nabo ku bintu ebirungi bye twayiga. (Bar. 12:13) Abakadde basaanidde okukola enteekateeka ez’okusembeza aboogezi ababa bakyadde n’okubayambako ku ssente z’entambula. Naye kiyinza obutatwanguyira kusembeza bagenyi nga tuwulira nti tetulina busobozi, oba nti awaka waffe tewasaanira kukyala bagenyi. Ebyo Yesu bye yagamba Maliza bisobola okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu. (Luk. 10:39-42) Yakiggumiza nti “ekisinga obulungi” nga tusembezza abalala kwe kubeerako awamu n’abo n’okuzziŋŋanamu amaanyi, so si ekijjulo makeke oba okuyooyoota awaka. Bwe tukolera ku magezi gano, ffenna tusobola okugabana “ebintu ebirungi” ne baganda baffe ng’Ekigambo kya Katonda bwe kitukubiriza.—3 Yok. 5-8.