Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ddesemba 29
WIIKI ETANDIKA DDESEMBA 29
Oluyimba 37 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 18 ¶1-8 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Yoswa 12-15 (Ddak. 10)
Okwejjukanya (Ddak. 20)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: Yogera ku ‘bintu ebirungi’ ebiri mu tterekero lyaffe eddungi.—Mat. 12:35a.
Ddak. 20: Abayizi Bo n’Abaana Bo Weeyongere Okubayigiriza “Ebintu Ebirungi.” (Mat. 12:35a) Kukubaganya birowoozo. Kozesa ebyawandiikibwa bino wammanga okulaga ekyo kye tusuubira mu bayizi baffe n’abaana baffe abakulaakulana: 1 Abakkolinso 13:11; 1 Peetero 2:2, 3. Nnyonnyola kye kitegeeza “okulega” ku ‘mata ag’ekigambo kya Katonda’ era n’engeri gye tuyinza okuyamba abayizi baffe n’abaana baffe okukikola. Nnyonnyola omusingi oguli mu Makko 4:28. (Laba Omunaala gw’Omukuumi, ogwa Ddesemba 15, 2014, lup. 12-13, kat. 6-8.) Buuza ebibuuzo omubuulizi alina obumanyirivu eyayamba omuyizi we okukulaakulana mu by’omwoyo oba omuzadde eyayamba omwana we okukulaakulana.—Bef. 4:13-15; laba Akasanduuko k’Ebibuuzo mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Maayi 2014.
Ddak. 10: “Sembeza Abagenyi Osobole Okwogerako Nabo ku ‘Bintu Ebirungi’ (Mat. 12:35a).” Kukubaganya birowoozo. Bangi bwe bafubye okusembeza abagenyi, birungi ki ebivuddemu? Biki bye tuyinza okukola okulaga nti tusembeza abagenyi, naddala okusembeza abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna? Yogera ku nteekateeka y’ekibiina kyammwe ey’okuliirako awamu eky’emisana na buli mwogezi aba abakyalidde.
Oluyimba 124 n’Okusaba