LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • cl sul. 18 lup. 214-225
  • Amagezi Agali mu ‘Kigambo kya Katonda’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Amagezi Agali mu ‘Kigambo kya Katonda’
  • Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Lwaki Yawandiisa Ekigambo Kye?
  • Lwaki Yakozesa Abantu Okuwandiika Bayibuli?
  • Lwaki Kitabo Ekikwata ku Bantu?
  • Ebyo Bayibuli by’Etayogerako
  • Ekitabo Ekirimu “Amagezi Ag’Omuganyulo”
  • ‘Laba! Ono Ye Katonda Waffe’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Bayibuli by’Etubuulira ku Oyo Eyagiwandiisa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • “Amagezi ga Katonda nga ga Buziba!”
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • ‘Baalina Obulagirizi bw’Omwoyo Omutukuvu’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
See More
Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
cl sul. 18 lup. 214-225
Omu ku bawandiisi ba Bayibuli ng’awandiika ku muzingo.

ESSUULA 18

Amagezi Agali mu ‘Kigambo kya Katonda’

1, 2. Yakuwa yatuwandiikira “bbaluwa” ki, era lwaki?

OJJUKIRA lwe wasembayo okufuna ebbaluwa okuva eri omuntu wo abeera ewala? Tufuna essanyu lingi nnyo bwe tufuna ebbaluwa okuva eri omuntu gwe twagala ennyo. Tusanyuka okumanya bw’ali, ebimutuuseeko, n’enteekateeka ze. Okuwuliziganya mu ngeri ng’eyo kitusobozesa okumanya ebikwata ku bantu baffe, wadde nga bali wala nnyo.

2 Tewali kiyinza kutuleetera ssanyu ng’okufuna obubaka okuva eri Katonda waffe gwe twagala nnyo. Yakuwa yatuwandiikira “ebbaluwa,” nga kye Kigambo kye, Bayibuli. Mu yo, atutegeeza ky’ali, by’akoze, by’ateekateeka okukola, era n’ebirala bingi nnyo. Yakuwa atuwadde Ekigambo kye kubanga ayagala tube mikwano gye. Katonda waffe ow’amagezi ag’ensusso, yalonda engeri esingayo obulungi ey’okwogera naffe. Engeri Bayibuli gye yawandiikibwamu era n’ebigirimu, byoleka amagezi agatageraageranyizika.

Lwaki Yawandiisa Ekigambo Kye?

3. Yakuwa yatuusa atya Amateeka ku Musa?

3 Abamu bayinza okwebuuza nti, ‘Lwaki Yakuwa teyakozesa kyamagero, gamba ng’okwogera n’abantu ng’ayima mu ggulu?’ Mu butuufu, emirundi egimu Yakuwa yayogera n’abantu ng’ayima mu ggulu okuyitira mu bamalayika. Ng’ekyokulabirako, yakola bw’atyo ng’awa Abayisirayiri Amateeka. (Abaggalatiya 3:19) Eddoboozi okuva mu ggulu lyali lya ntiisa nnyo ne kiviirako Abayisirayiri okusaba Yakuwa alekere awo okwogera nabo mu ngeri eyo, wabula ayogere nabo okuyitira mu Musa. (Okuva 20:18-20) N’olwekyo, Amateeka agaalimu ebiragiro nga 600 agaaweebwa Musa, mu kusooka tegaali mu buwandiike.

4. Nnyonnyola ensonga lwaki okutuusa amateeka ga Katonda ku bantu okuyitira mu kwogera obwogezi teyandibadde nkola eyeesigika.

4 Kyandibadde kitya singa Amateeka ago oluvannyuma tegaateekebwa mu buwandiike? Musa yandisobodde okujjukira amateeka ago gonna era n’agabuulira abalala mu ggwanga eryo nga talina ky’asobezzaamu? Ate bo ab’emirembe egyandizzeewo bandigategedde batya? Banditegedde amateeka ago nga bagababuulira bubuulizi mu bigambo? Eyo teyandibadde nkola eyeesigika ey’okutuusa amateeka ga Katonda ku bantu. Kuba akafaananyi ku ekyo ekyandibaddewo singa ebintu by’oyagala okutegeeza abantu osooka kubibuulira muntu omu, naye n’abibuulira omulala okutuusa bwe bituuka ku muntu asembayo. Ebyo asembyeyo by’awulira tebiyinza kufaanagana n’ebyo eyasoose bye yawulidde. Kyokka Amateeka ga Katonda tegaatuusibwa ku bantu mu ngeri eyo.

5, 6. Kiki Yakuwa kye yalagira Musa ku bikwata ku bigambo Bye, era lwaki tuganyulwa nnyo olw’okuba Ekigambo kya Yakuwa kiri mu buwandiike?

5 Yakuwa yasalawo okuteeka ebigambo bye mu buwandiike. Yagamba Musa nti: “[Wandiika] ebigambo bino, kubanga endagaano gye nkola naawe era ne Isirayiri ngyesigamya ku bigambo bino.” (Okuva 34:27) Bwe kityo, mu 1513 E.E.T., okuwandiika Bayibuli kwatandika. Mu myaka 1,610 egyaddirira, Yakuwa ‘yayogera mu ngeri nnyingi,’ eri abantu nga 40 abaawandiika Bayibuli. (Abebbulaniya 1:1) Mu kiseera ekyo kye kimu, abakoppolozi abeesigwa baakoppololanga n’obwegendereza ebyali biwandiikiddwa baleme kubaako kye bakyusa mu Byawandiikibwa.—Ezera 7:6; Zabbuli 45:1.

6 Mazima ddala, tuganyuddwa nnyo Yakuwa bw’atutuusizzaako obubaka bwe mu buwandiike. Wali ofunyeeko ebbaluwa ey’omuwendo ennyo, oboolyawo eyakubudaabuda n’otuuka n’okugitereka osobole okugisoma enfunda n’enfunda? Bayibuli eringa “ebbaluwa” Yakuwa gye yatuwandiikira. Olw’okuba Yakuwa yateeka ebigambo bye mu buwandiike, tusobola okubisoma emirundi n’emirundi era n’okufumiitirizanga ku kye bigamba. (Zabbuli 1:2) Tusobola ‘okubudaabudibwa Ebyawandiikibwa’ buli lwe tuba twetaaga okubudaabudibwa.—Abaruumi 15:4.

Lwaki Yakozesa Abantu Okuwandiika Bayibuli?

7. Amagezi ga Yakuwa geeyoleka gatya bwe yakozesa abantu okuwandiika Ekigambo kye?

7 Yakuwa yayoleka amagezi bwe yakozesa abantu okuwandiika Ekigambo kye. Lowooza ku kino: Singa Yakuwa yakozesa bamalayika, Bayibuli yandibadde esikiriza mu ngeri y’emu? Kyo kituufu, bamalayika bandisobodde okuwandiika ebikwata ku Yakuwa mu ngeri ey’ekika ekya waggulu, ne bakiraga nti bamwagala nnyo, era ne bawandiika ne ku baweereza ba Katonda abeesigwa ku nsi. Naye twandisobodde okutegeera obulungi ebintu ebiwandiikiddwa ebitonde eby’omwoyo ebituukiridde, ebirina okumanya, obumanyirivu, n’amaanyi ebisingira ewala eby’abantu?—Abebbulaniya 2:6, 7.

8. Mu ngeri ki abawandiisi ba Bayibuli gye baalekebwa okukozesa obusobozi bwabwe obw’okulowooza? (Laba n’obugambo obuli wansi.)

8 Mu kukozesa abantu okuwandiika Bayibuli, Yakuwa yatuwa ekyo kye twetaaga, kwe kugamba, ekitabo ‘ekyaluŋŋamizibwa,’ kyokka nga kyoleka engeri abantu ze balina. (2 Timoseewo 3:16) Ekyo yakikola atya? Emirundi mingi, yaleka abawandiisi okukozesa obusobozi bwabwe obw’okulowooza okulonda “ebigambo ebisanyusa era n’okuwandiika ebigambo ebituufu era eby’amazima.” (Omubuulizi 12:10, 11) Kino kiraga ensonga lwaki engeri Bayibuli gye yawandiikibwamu ya njawulo. Empandiika yaayo eyoleka embeera y’obulamu n’engeri z’abantu abaakozesebwa okugiwandiika.a Kyokka abasajja bano “baayogeranga ebyava eri Katonda nga balina obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu.” (2 Peetero 1:21) Ebyo bye baawandiika kye biva biyitibwa ‘ekigambo kya Katonda.’—1 Abassessalonika 2:13.

“Buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda”

9, 10. Lwaki okukozesa abantu okuwandiika Bayibuli kigireetera okutukwatako ennyo?

9 Olw’okuba abantu be baakozesebwa okuwandiika Bayibuli, etukwatako nnyo. Abaagiwandiika baali bantu abaalina enneewulira ng’ezaffe. Olw’okuba baali tebatuukiridde, baayolekagana n’okugezesebwa awamu n’okupikirizibwa nga ffe. Mu mbeera ezimu, omwoyo gwa Yakuwa gwabaluŋŋamya okuwandiika ku nneewulira zaabwe n’ebizibu byabwe. (2 Abakkolinso 12:7-10) N’olwekyo, baawandiika ebintu ebyali bibakwatako bo bennyini, ebintu bamalayika bye batandisobodde kuwandiika.

10 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bigambo bya Dawudi, kabaka wa Isirayiri. Oluvannyuma lw’okukola ebibi eby’amaanyi, alina zabbuli gye yawandiika n’ayogera byonna ebyamuli ku mutima, ng’asaba Katonda okumusonyiwa. Yagamba nti: “Nnaazaako ekibi kyange. Ebyonoono byange mbimanyi bulungi, era ekibi kyange kiri mu maaso gange buli kiseera. Laba! Nnazaalibwa ndiko ekibi, era mu kwonoona mmange mwe yafunira olubuto lwange. Tongoba mu maaso go; era tonzigyaako mwoyo gwo omutukuvu. Ssaddaaka ezisanyusa Katonda gwe mwoyo oguboneredde; omutima ogumenyese era oguboneredde toogugayenga, Ai Katonda.” (Zabbuli 51:2, 3, 5, 11, 17) Olaba ennaku y’omuwandiisi wa Zabbuli? Omuntu atatuukiridde y’ayinza okwoleka enneewulira eragira ddala ekiri ku mutima.

Lwaki Kitabo Ekikwata ku Bantu?

11. Bintu ki ebyaliwo mu bulamu bw’abantu ebyawandiikibwa mu Bayibuli “okutuyigiriza”?

11 Waliwo ekintu ekirala ekireetera Bayibuli okusikiriza. Okutwalira awamu, kitabo ekikwata ku bantu, abantu aba ddala abaaweereza Katonda n’abo abataamuweereza. Tusoma ku byabatuukako, gamba ng’ebizibu bye baayitamu n’essanyu lye baafuna. Tulaba ebyava ne mu ebyo bye baasalawo. Ebintu ng’ebyo byawandiikibwa “okutuyigiriza.” (Abaruumi 15:4) Okuyitira mu bintu bino ebyaliwo ddala, Yakuwa atuyigiriza mu ngeri etuukira ddala ku mitima gyaffe. Lowooza ku byokulabirako bino.

12. Ebiri mu Bayibuli ebikwata ku bantu abataali beesigwa bituyamba bitya?

12 Bayibuli eyogera ku bantu abataali beesigwa n’abo abaali ababi ennyo era n’ebyabatuukako. Eyogera ku ngeri embi ze baayoleka, ne kituyamba okuzitegeera. Ng’ekyokulabirako, ekikolwa kya Yuda eky’okulya mu Yesu olukwe kituyamba okulaba akabi akali mu butaba beesigwa. (Matayo 26:14-16, 46-50; 27:3-10) Ebintu ng’ebyo ebyogerwako mu Bayibuli, bituuka mangu ku mitima gyaffe, ne bituyamba okumanya era n’okwesambira ddala engeri embi.

13. Bayibuli etuyamba etya okutegeera engeri ennungi n’okuzooleka?

13 Bayibuli era eyogera ku baweereza ba Katonda bangi abaali abeesigwa. Tusoma ku ngeri gye baayolekamu obwesigwa. Ebyo bye tubasomako bituyamba okumanya engeri ennungi ze tulina okukulaakulanya okusobola okufuna enkolagana ennungi ne Katonda. Emu ku ngeri ezo kwe kukkiriza. Bayibuli etunnyonnyola okukkiriza kye kuli, n’ensonga lwaki kukulu nnyo bwe tuba ab’okusanyusa Katonda. (Abebbulaniya 11:1, 6) Bayibuli era erimu ebyokulabirako by’abantu abaalaga okukkiriza. Lowooza ku kukkiriza Ibulayimu kwe yalaga bwe yakkiriza okuwaayo Isaaka nga ssaddaaka. (Olubereberye, essuula 22; Abebbulaniya 11:17-19) Okusinziira ku byokulabirako ng’ebyo, ekigambo ‘okukkiriza’ kifuna amakulu agasingawo, era ne kifuuka kyangu okutegeera. Mu magezi ge amangi ennyo, Yakuwa tatukubiriza bukubiriza kukulaakulanya ngeri ezo ennungi kyokka, naye era atuwa n’ebyokulabirako by’abantu abaayoleka engeri ezo!  

14, 15. Bayibuli eyogera ki ku mukazi omu eyajja mu yeekaalu, era bye tumusomako bituyigiriza ki ku Yakuwa?

14 Ebintu ebyaliwo ddala ebiri mu Bayibuli emirundi mingi birina kye bituyigiriza ku Yakuwa. Lowooza ku ekyo kye tuyiga ku mukazi omu Yesu gwe yalaba mu yeekaalu. Yesu bwe yali atudde okumpi n’ekifo awaali wateekebwa ebirabo, yalaba abantu abaali basuula ssente mu busanduuko. Abagagga bangi bajja ne basuulamu ‘ebibafikkiridde.’ Naye Yesu yeetegereza nnamwandu eyali omwavu. Yawaayo “obusente bubiri obw’omuwendo omutono ennyo.”b Bwe bwokka bwe yalina. Yesu yayoleka bulungi endowooza ya Yakuwa ku nsonga eyo. Yagamba nti: “Nnamwandu oyo omwavu ataddemu kingi okusinga abalala bonna.” Okusinziira ku bigambo ebyo, nnamwandu yasuulamu bingi okusinga abalala bonna ng’obagasse awamu.—Makko 12:41-44; Lukka 21:1-4; Yokaana 8:28.

15 Tekyewuunyisa nti mu bantu bonna abajja mu yeekaalu ku lunaku olwo, nnamwandu oyo yekka y’ayogerwako bw’atyo mu Bayibuli? Okuyitira mu kyokulabirako kino, Yakuwa atuyigiriza nti asiima nnyo. Akkiriza bye tumuwa n’omutima gwaffe gwonna, ka bibe nga bitono ku by’abalala. Mazima ddala tukwatibwako nnyo okuba nti Yakuwa yakozesa ekyokulabirako ekyo okutuyigiriza ensonga eyo!

Ebyo Bayibuli by’Etayogerako

16, 17. Amagezi ga Yakuwa geeyolekera gatya ne mu ebyo bye yasalawo obutawandiisa mu Kigambo kye?

16 Bw’owandiikira omuntu gw’oyagala ebbaluwa, toyinza kuwandiika byonna by’oyagala. N’olwekyo, okozesa amagezi mu kulonda by’onoowandiika. Mu ngeri y’emu, Yakuwa yalondawo okwogera ku bantu abamu n’ebintu ebimu mu Kigambo kye. Kyokka n’ebyo Bayibuli by’eyogerako, tewa kalonda yenna. (Yokaana 21:25) Ng’ekyokulabirako, Bayibuli bw’eyogera ku misango Katonda gye yasala, by’eyogera biyinza obutaddamu buli kibuuzo kyonna kye tuyinza okuba nakyo. Amagezi ga Yakuwa galabibwa ne mu ebyo bye yalondawo obutawandiika mu Kigambo kye. Mu ngeri ki?

17 Engeri Bayibuli gye yawandiikibwamu esobola okwoleka kye tuli mu mitima gyaffe. Abebbulaniya 4:12, wagamba nti: “Ekigambo kya Katonda kiramu, kya maanyi, era kyogi okusinga ekitala ekisala eruuyi n’eruuyi, era kiyingirira ddala n’okwawula ne kyawula obulamu n’omwoyo, . . . era kisobola okutegeera ebirowoozo n’ebiruubirirwa by’omutima.” Obubaka obuli mu Bayibuli butuukira ddala munda mu ffe, ne bwoleka endowooza n’ebiruubirirwa byaffe. Abo abagisoma nga banoonya ensobi emirundi mingi beemulugunya bwe bakisanga nti bye basomye tebibamatizza bulungi. Abalinga abo bayinza n’okubuusabuusa obanga ddala Yakuwa wa kwagala, wa magezi, era mwenkanya.

18, 19. (a) Lwaki tetwanditerebuse singa bye tusoma mu Bayibuli bireetawo ebibuuzo bye tutayinza kuddamu mu kiseera ekyo? (b) Kiki ekyetaagisa okusobola okutegeera Ekigambo kya Katonda, era kino kyoleka kitya amagezi ga Yakuwa ag’ekitalo?

18 Okwawukana ku ekyo, bwe twekenneenya Bayibuli mu bwesimbu, tufuna ekifaananyi ekituufu ky’ewa ku Yakuwa. N’olwekyo, tetuterebuka singa ebintu ebimu bye tusoma bireetawo ebibuuzo bye tutayinza kuddamu mu kiseera ekyo. Tukimanyi nti bwe tusoma Bayibuli, mpolampola tuyiga Yakuwa Katonda ky’ali. Ne bwe kiba nti mu kusooka tetutegeera bintu ebimu bye tusoma, oba tetulaba ngeri gye bikwatagana n’engeri za Katonda, bye twayiga edda ku Yakuwa mu Bayibuli biba bitusobozesa okulaba nti wa kwagala era mwenkanya.

19 N’olwekyo, okusobola okutegeera Ekigambo kya Katonda, tuteekwa okukisoma n’okukyekenneenya mu bwesimbu. Obwo si bujulizi obwoleka amagezi ga Yakuwa ag’ekitalo? Abantu abagezi ennyo bawandiika ebitabo ebirimu ebintu ebiyinza okutegeerwa abantu “abagezi n’abayivu” bokka. Naye okuwandiika ekitabo ekiyinza okutegeerwa abo bokka abalina endowooza ennuŋŋamu, kiba kyetaagisa amagezi ga Katonda!—Matayo 11:25.

Ekitabo Ekirimu “Amagezi Ag’Omuganyulo”

20. Lwaki Yakuwa yekka y’ayinza okututegeeza engeri esingayo obulungi ey’okweyisaamu mu bulamu, era Bayibuli erimu ki ekiyinza okutuyamba?

20 Mu Kigambo kye, Yakuwa atutegeeza engeri esingayo obulungi ey’okweyisaamu. Olw’okuba ye Mutonzi waffe, amanyi ebyetaago byaffe okutusinga. Era ebintu abantu bye beetaaga, gamba ng’okwagalibwa, okusanyuka, n’okuba n’enkolagana ennungi n’abalala, bikyali bye bimu. Bayibuli erimu “amagezi” agayinza okutuyamba okutambuza obulamu bwaffe mu ngeri ey’amakulu. (Engero 2:7) Buli kitundu mu kitabo kino kirimu essuula eraga engeri gye tuyinza okussa mu nkola okubuulirira kwa Bayibuli okw’amagezi. Ka twekenneenyeyo ekyokulabirako kimu kyokka.

21-23. Kubuulirira ki okw’amagezi okuyinza okutuyamba okwewala obusungu n’okusiba ekiruyi?

21 Okyetegerezza nti abantu abasiba ekiruyi baba beerumya bokka? Okusiba ekiruyi kya kabi nnyo. Kitabula ebirowoozo by’omuntu era ne kimumalako emirembe n’essanyu. Okunoonyereza kulaga nti okusiba ekiruyi kiyinza okuleetera omuntu okulwala omutima awamu n’endwadde endala nnyingi. Dda nnyo ng’okunoonyereza okwo tekunnakolebwa, Bayibuli yagamba nti: “Tosunguwalanga era toswakiiranga.” (Zabbuli 37:8) Ekyo tuyinza kukikola tutya?

22 Ekigambo kya Katonda kirimu okubuulirira kuno okw’amagezi: “Omuntu omutegeevu alwawo okusunguwala, era bw’abuusa amaaso ensobi y’omulala kimulungiya.” (Engero 19:11) Okutegeera bwe busobozi bw’okulaba ebintu ebyekusifu. Okutegeera kutuyamba okumanya ensonga lwaki omuntu yayogedde oba yeeyisizza mu ngeri emu. Bwe tufuba okutegeera ebiruubirirwa by’omuntu oyo, enneewulira ye, n’embeera ye, kiyinza okutuyamba obutamulowoozaako bubi.

23 Bayibuli era egamba nti: “Mweyongere okugumiikirizigananga n’okusonyiwagananga.” (Abakkolosaayi 3:13) Ebigambo “mweyongere okugumiikirizigananga” bitegeeza okugumiikiriza engeri z’abalala eziyinza okuba nga tezitusanyusa. Okugumiikiriza ng’okwo kuyinza okutuyamba obutasiba kiruyi. ‘Okusonyiwa’ kulina amakulu ag’obutasiba kiruyi. Katonda waffe ow’amagezi amanyi nti twetaaga okusonyiwa abalala bwe wabaawo ensonga esinziirwako okubasonyiwa. Kino tekiganyula abo be tuba tusonyiye, naye era naffe kituleetera emirembe mu mutima. (Lukka 17:3, 4) Amagezi ago agasangibwa mu Kigambo kya Katonda nga malungi nnyo!

24. Kiki ekibaawo bwe tukolera ku magezi agava eri Katonda?

24 Olw’okuba Yakuwa atwagala nnyo yasalawo okututuusaako obubaka bwe. Yalonda engeri esingayo obulungi, kwe kugamba, “ebbaluwa” eyawandiikibwa abantu nga baluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu. N’olwekyo, amagezi ga Yakuwa ge gasangibwa mu “bbaluwa” eyo, era amagezi ago ‘geesigika.’ (Zabbuli 93:5) Bwe tukolera ku ebyo ebiri mu Bayibuli, era ne tubuulirako abalala ebigirimu, tufuna enkolagana ennungi ne Katonda waffe ow’amagezi amangi. Mu ssuula eddako, tujja kwekenneenya ekintu ekirala ekikwata ku magezi ga Yakuwa amangi ennyo: obusobozi bwe obw’okulagula ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso era n’obw’okutuukiriza ekigendererwa kye.

a Ng’ekyokulabirako, Dawudi, eyali omusumba, yakozesa ebyokulabirako eby’obulunzi. (Zabbuli 23) Matayo, eyali omuwooza, yayogera bingi nnyo ebikwata ku ssente. (Matayo 17:27; 26:15; 27:3) Lukka eyali omusawo, yakozesa ebigambo ebiraga nti yali amanyi eby’ekisawo.—Lukka 4:38; 14:2; 16:20.

b Buli kamu ku busente obwo, yali ssente y’Abayudaaya esingayo obutono, eyali ekozesebwa mu kiseera ekyo. Obusente obwo obubiri bwali bwenkanankana ekitundu kimu kya nkaaga mu bina eky’empeera y’olunaku. Obusente obwo bwali tebuyinza na kugula nkazaluggya emu, akanyonyi akaali kasingayo okuba ak’ebbeeyi entono akaaliibwanga abaavu.

Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako

  • Engero 2:1-6 Kufuba ki okwetaagisa okusobola okufuna amagezi agali mu Kigambo kya Katonda?

  • Engero 2:10-22 Tunaaganyulwa tutya singa tukolera ku kubuulirira okw’amagezi okuli mu Bayibuli?

  • Abaruumi 7:15-25 Ennyiriri zino zooleka zitya amagezi agaali mu kukozesa abantu okuwandiika Ekigambo kya Katonda?

  • 1 Abakkolinso 10:6-12 Kiki kye tuyinza okuyigira ku kulabula okuli mu Bayibuli okukwata ku Bayisirayiri?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share