‘Baalina Obulagirizi bw’Omwoyo Omutukuvu’
“Tewali mulundi na gumu obunnabbi lwe bwali buleeteddwa olw’okwagala kw’abantu, naye abantu baayogeranga ebyava eri Katonda nga balina obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu.”—2 PEET. 1:21.
ENSONGA EZ’OKUFUMIITIRIZAAKO
Katonda yakozesa atya omwoyo gwe omutukuvu okutuusa obubaka bwe ku bawandiisi ba Bayibuli?
Bukakafu ki obulaga nti Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda?
Kiki ky’oyinza okukola buli lunaku okulaga nti osiima Ekigambo kya Katonda?
1. Lwaki twetaaga Bayibuli?
ABANTU bangi okwetoloola ensi beebuuza ebibuuzo bino: Twava wa? Lwaki tuli ku nsi? Tulaga wa? Lwaki ensi yeeyongedde okwonooneka? Kiki ekitutuukako bwe tufa? Tetwandisobodde kufuna bya kuddamu mu bibuuzo ebyo awamu n’eby’okuddamu mu bibuuzo ebirala ebikulu singa tetwalina Bayibuli. Ate era singa tetwalina Bayibuli, twandibadde twesigama ku ebyo byokka bye tuyiseemu mu bulamu nga tusalawo engeri y’okutambuzaamu obulamu bwaffe era tetwandisobodde kutwala mateeka ga Yakuwa ng’omuwandiisi wa Zabbuli bwe yali agatwala.—Soma Zabbuli 19:7.
2. Kiki ekinaatuyamba okwongera okutwala Bayibuli ng’ekirabo ekyava eri Katonda?
2 Kya nnaku nti okwagala abamu kwe baalina mu kusooka eri amazima agali mu Bayibuli kwawola. (Geraageranya Okubikkulirwa 2:4.) Tebakyatambuza bulamu bwabwe mu ngeri esanyusa Yakuwa. (Is. 30:21) Ekyo tetusaanidde kukikkiriza kututuukako. Tusaanidde okufuba okulaba nti okwagala kwe tulina eri Bayibuli awamu n’amazima agagirimu tekuwola. Bayibuli kirabo kya muwendo nnyo okuva eri Omutonzi waffe atwagala ennyo. (Yak. 1:17) Kiki ekinaatuyamba okwongera okwagala “ekigambo kya Katonda”? Okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yawaamu abantu obulagirizi nga bawandiika Bayibuli n’okwekenneenya ebimu ku bintu ebiraga nti Bayibuli kitabo ekyava eri Katonda kijja kutuyamba nnyo. Okukola ekyo kijja kutukubiriza okusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku n’okufuba okukolera ku ebyo bye tusoma.—Beb. 4:12.
‘BAALINA OBULAGIRIZI BW’OMWOYO OMUTUKUVU’—MU NGERI KI?
3. Okuba nti bannabbi n’abawandiisi ba Bayibuli ‘baalina obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu’ kitegeeza ki?
3 Kyatwala emyaka egisukka mu 1,610 okuwandiika Bayibuli, kwe kugamba, okuva mu 1513 E.E.T. okutuuka mu 98 E.E. Bayibuli yawandiikibwa abasajja 40 ab’enjawulo. Abamu ku bo baali bannabbi era ‘baalina obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu.’ (Soma 2 Peetero 1:20, 21.) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “obulagirizi” kisobola okutegeeza ‘okusitula ekintu okukiggya mu kifo ekimu okukizza mu kirala, okuleetera omuntu okukola ekintu, oba okukkiriza okukola ekyo ekiba kikulagiddwa.’a Ekigambo ekyo era kyakozesebwa mu Ebikolwa 27:15 okwogera ku lyato eryasuukundibwa ne litwalibwa omuyaga. Bannabbi ba Katonda n’abawandiisi ba Bayibuli ‘baalina obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu’ mu ngeri nti Katonda yayogeranga nabo, era n’abaluŋŋamya ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu. Bwe kityo, ebintu bye baawandiika tebyali byabwe ku bwabwe wabula byali bya Katonda. Ebiseera ebimu bannabbi abo n’abawandiisi ba Bayibuli tebaasobola na kutegeera makulu ga bintu bye baayogeranga oba bye baawandiikanga. (Dan. 12:8, 9) Mu butuufu, “buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda” era mu Bayibuli temuliimu ndowooza za bantu.—2 Tim. 3:16.
4-6. Yakuwa yatuusa atya obubaka bwe ku bawandiisi ba Bayibuli? Waayo ekyokulabirako.
4 Kati olwo Katonda yakozesa atya omwoyo gwe omutukuvu okutuusa obubaka bwe ku bawandiisi ba Bayibuli? Kyandiba nti Katonda yababuulira buli kigambo kye baalina okuwandiika oba yababuulira bubuulizi ebyo bye yali ayagala bawandiike bo ne babissa mu bigambo byabwe? Lowooza ku kyokulabirako kino: Omukulu w’essomero ayinza okuba ng’ayagala okuwandiika ebbaluwa. Ayinza okusalawo okugyewandiikira oba ayinza okulagira omuwandiisi we agimuwandiikire naye n’amubuulira ebigambo byennyini by’ayagala ateeke mu bbaluwa. Omuwandiisi we awandiika ebbaluwa, era omukulu w’essomero n’ateekako omukono gwe. Ate oluusi omukulu w’essomero ayinza okubuulira omuwandiisi we ensonga z’ayagala ateeke mu bbaluwa, omuwandiisi n’agiwandiika mu ngeri ye. Omukulu w’essomero agisomamu okulaba obanga waliwo ekyetaagisa okutereezaamu. Oluvannyuma, omukulu w’essomero ateeka omukono gwe ku bbaluwa eyo era omuntu agifuna akitwala nti ebbaluwa eyo evudde wa mukulu wa ssomero.
5 Mu ngeri y’emu, ebintu ebimu ebiri mu Bayibuli byawandiikibwa “n’engalo ya Katonda.” (Kuv. 31:18) Ate bwe kyabanga kyetaagisa, Yakuwa yabuuliranga abantu ebigambo byennyini bye yabanga ayagala bawandiike. Ng’ekyokulabirako, mu Okuva 34:27 (NW) tusoma nti: Yakuwa era n’agamba Musa nti: “Wandiika ebigambo bino, kubanga okusinziira ku bigambo bino nkola endagaano naawe era ne Isiraeri.” Era Yakuwa yagamba nnabbi Yeremiya nti: ‘Weewandiikire mu kitabo ebigambo byonna bye nnaakubuulira.’—Yer. 30:2.
6 Kyokka, emirundi egisinga obungi Yakuwa teyabuuliranga bawandiisi ba Bayibuli bigambo byennyini bye baalina okukozesa, naye mu ngeri ey’ekyamagero yateekanga ebirowoozo bye mu mitima gyabwe ne mu birowoozo byabwe era n’abaleka okukozesa ebigambo byabwe okuwandiika obubaka bwe. Omubuulizi 12:10 wagamba nti: “Omubuulizi yanoonya okulaba ebigambo ebikkirizibwa, n’ebyo ebyawandiikibwa n’obugolokofu, bye bigambo eby’amazima.” Omuwandiisi w’Enjiri Lukka, ‘yawandiika ebintu nga bwe byali biddiriŋŋana kubanga yabinoonyereza n’obwegendereza okuviira ddala ku ntandikwa yaabyo.’ (Luk. 1:3) Yakuwa ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu yakakasa nti obubaka bwe tebukyusibwamu, wadde nga yakozesa abantu abatatuukiridde okubuwandiika.
7. Katonda yayoleka atya amagezi ge ag’ekitalo bwe yakozesa abantu okuwandiika Bayibuli?
7 Amagezi ga Yakuwa ag’ekitalo geeyolekera mu kuba nti yakozesa abantu okuwandiika Bayibuli. Ebigambo ebiba biwandiikiddwa biyamba omuntu okutegeera obubaka omuntu omulala bw’aba ayagala amanye awamu n’enneewulira y’omuntu oyo. Watya singa Yakuwa yakozesa bamalayika okuwandiika Bayibuli? Bandisobodde bulungi okwoleka enneewulira z’abantu, gamba ng’okutya, ennaku, n’okwenyamira? Olw’okuba Katonda yaleka abantu abatatuukiridde okukozesa ebigambo byabwe nga bawandiika obubaka bwe, obubaka obuli mu Bayibuli butuukira ddala ku mitima gyaffe!
OBUKAKAFU OBULAGA NTI BAYIBULI YALUŊŊAMIZIBWA KATONDA
8. Lwaki Bayibuli ya njawulo nnyo ku bitabo by’eddiini ebirala?
8 Waliwo ebintu bingi ebiraga nti Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda. Tewali kitabo kya ddiini kirala kyonna kisobola kutuyamba kutegeera Katonda okusinga Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, ebitabo by’eddiini y’Abahindu byogera ebintu ebikwata ku mikolo gy’eddiini yaabwe, enjigiriza zaabwe, awamu n’amateeka agakwata ku ngeri gye basaanidde okweyisaamu. Ebitabo by’eddiini y’Ababbudda birimu amateeka abakulembeze baayo n’ababiikira ge balina okugoberera. Era ebitabo ebyo birimu enjigiriza z’eddiini y’Ababbuda awamu n’ebyo Bbuda bye yayigiriza. Bbuda teyagamba nti yali katonda era teyayogera bingi bikwata ku Katonda. Ebitabo by’eddiini y’Abakonfusiyaani birimu ebintu ebyaliwo edda, amateeka agakwata ku ngeri gye balina okweyisaamu, ebintu eby’obufuusa, awamu n’ennyimba zaabwe. Kyo kituufu nti ekitabo ky’eddiini y’Ekiyisiraamu kiyigiriza nti waliwo Katonda omu era nti amanyi ebintu byonna ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso, naye tekyogera ku linnya lya Katonda, Yakuwa, so ng’ate erinnya lya Katonda lisangibwa emirundi nkumi na nkumi mu Bayibuli.
9, 10. Bintu ki ebikwata ku Katonda Bayibuli bye tuyamba okutegeera?
9 Ebitabo by’eddiini ebisinga obungi byogera kitono nnyo ku Katonda, naye Bayibuli yo etuyamba okumanya Yakuwa Katonda awamu n’ebintu by’akola. Etuyamba okutegeera engeri ze. Bayibuli eraga nti Katonda alina amaanyi mangi, wa magezi, mwenkanya, era atwagala nnyo. (Soma Yokaana 3:16; 1 Yokaana 4:19.) Ate era Bayibuli egamba nti: “Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola eby’obutuukirivu amukkiriza.” (Bik. 10:34, 35) Ekyo tukirabira ku ky’okuba nti Bayibuli evvuunuddwa mu nnimi nnyingi nnyo. Abakugu mu by’ennimi bagamba nti ennimi nga 6,700 ze zoogerwa mu nsi yonna. Era bagamba nti ennimi 100 ku zo zoogerwa abantu nga 90 ku buli kikumi abali mu nsi yonna. Wadde kiri kityo, Bayibuli evvuunuddwa mu nnimi ezisukka mu 2,400 mu bulambalamba oba mu bitundutundu. Kumpi buli muntu asobola okusoma Bayibuli eri mu lulimi lw’ategeera.
10 Yesu yagamba nti: “N’okutuusa kaakano Kitange akola, era nange nkola.” (Yok. 5:17) ‘Okuva emirembe n’emirembe okutuuka emirembe n’emirembe, Yakuwa ye Katonda.’ Yakuwa akoze ebintu bingi nnyo! (Zab. 90:2) Bayibuli ye yokka esobola okutubuulira ebintu Katonda bye yakola mu biseera eby’emabega, ebyo by’akola kati, n’ebyo by’ajja okukola mu biseera eby’omu maaso. Bayibuli etubuulira ebyo Katonda by’ayagala, ebintu by’akyawa era n’engeri gye tuyinza okumusemberera. (Yak. 4:8) N’olwekyo, tetusaanidde kukkiriza kintu kyonna kutuleetera kuva ku Katonda.
11. Magezi ki amalungi agasangibwa mu Bayibuli?
11 Okuba nti mu Bayibuli mulimu amagezi amalungi mangi nnyo, nakyo kiraga nti Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda. Omutume Pawulo yagamba nti: “Ani ategedde endowooza ya Yakuwa alyoke amuyigirize?” (1 Kol. 2:16) Ebigambo ebyo Pawulo yabyesigamya ku bigambo bino nnabbi Isaaya bye yabuuza abantu abaaliwo mu kiseera kye: “Ani eyali aluŋŋamizza omwoyo gwa Mukama, oba eyamuweerera ebigambo n’amuyigiriza?” (Is. 40:13) Eky’okuddamu kiri nti, tewali n’omu, okuva bwe kiri nti tewali asinga Yakuwa magezi. Eyo ye nsonga lwaki bwe tukolera ku magezi agali mu Bayibuli agakwata ku bufumbo, ku kukuza abaana, ku by’okwesanyusaamu, ku mikwano, ku mirimu, ku bwesigwa, ne ku by’empisa, ebivaamu biba birungi nnyo! Mu Bayibuli temuli magezi mabi. Kyokka amagezi abantu ge bawa ebiseera ebisinga tegeesigika. (Yer. 10:23) Amagezi abantu ge bawa gakyukakyuka buli kiseera. Bayibuli eraga nti amagezi g’abantu gagasa kitono nnyo.—Zab. 94:11.
12. Abantu bagezezaako batya okusaanyaawo Bayibuli?
12 Ebintu ebibaddewo mu byafaayo nabyo biraga nti Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda. Abantu bagezezaako okusaanyaawo Bayibuli. Mu mwaka gwa 168 E.E.T., Kabaka Antiyokasi IV owa Bwasuli yalagira abantu okunoonya ebitabo by’Amateeka byonna babyokye. Mu mwaka gwa 303 E.E. empula wa Rooma ayitibwa Diyokuleete yatandikawo kaweefube okusaanyaawo ebifo byonna Abakristaayo mwe baakuŋŋaaniranga okusinza awamu n’Ebyawandiikibwa byonna bye baakozesanga. Kaweefube oyo yamala emyaka nga kkumi. Okumala emyaka mingi bapaapa baakola kyonna ekisoboka okulaba nga bakomya omulimu gw’okuvvuunula Bayibuli mu nnimi ezitali zimu ezoogerwa abantu aba bulijjo. Wadde nga Sitaani awamu n’abantu be bagezezaako okusaanyaawo Bayibuli, n’okutuusa leero Bayibuli weeri. Yakuwa takkirizza muntu yenna kusaanyaawo kirabo eky’omuwendo kye yawa abantu.
LWAKI BANGI BAKKIRIZA NTI BAYIBULI YALUŊŊAMIZIBWA KATONDA?
13. Obukakafu obulala obulaga nti Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda bwe buliwa?
13 Obukakafu obulala obulaga nti Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda bwe buno: ekwatagana, ntuufu bwe kituuka ku bya sayansi, erimu obunnabbi obwatuukirira, abawandiisi baayo baali beesimbu, erina amaanyi okukyusa obulamu bw’abantu, ebyafaayo ebigirimu bituufu, era esobola okutuwa eby’okuddamu ebimatiza mu bibuuzo ebyayogeddwako mu katundu 1. Kati ka tulabe ebireetedde abantu abamu okukkiriza nti obubaka obuli mu Bayibuli bwava eri Katonda.
14-16. (a) Kiki ekyaleetera abantu basatu ab’enjawulo okukkiriza nti Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda? (b) Bintu ki by’oyinza okwogerako ng’obuulira okusobola okuyamba abantu okukiraba nti Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda?
14 Anwarb yakulira mu maka Amasiraamu mu nsi emu eya Buwalabu. Bwe yali akyaddeko mu Amerika, Abajulirwa ba Yakuwa baayogerako naye ku bubaka obuli mu Bayibuli. Anwar agamba nti: ‘Nnali saagala madiini ga Bakristaayo olw’ebyo bye gaali gakoze mu biseera eby’emabega. Naye olw’okuba ndi muntu ayagala ennyo okumanya ebintu, nnakkiriza okutandika okuyiga Bayibuli.’ Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, Anwar yaddayo mu nsi ye n’aba nga takyasobola kusoma na Bajulirwa ba Yakuwa. Nga wayise ekiseera, Anwar yagenda mu nsi emu ey’omu Bulaaya era n’addamu okuyiga Bayibuli. Oluvannyuma yagamba nti: “Obunnabbi bwa Bayibuli obwatuukirizibwa, okuba nti Bayibuli ekwatagana era nga tekubagana mpawa, n’okuba nti abaweereza ba Yakuwa baagalana, kyandeetera okukakasa nti obubaka obuli mu Bayibuli bwava eri Katonda.” Anwar yabatizibwa mu 1998.
15 Asha ow’emyaka 16 era nga yakulira mu maka g’Abahindu, agamba nti: ‘Nnasabanga olwo lwokka lwe nnabanga ŋŋenze mu yeekaalu oba lwe nnabanga n’ebizibu, naye bwe nnabanga obulungi Katonda saamulowoozanganako. Lumu Abajulirwa ba Yakuwa bajja ewaffe ne batandika okunjigiriza Bayibuli, era okuva olwo obulamu bwange bwakyukira ddala.’ Asha yagenda mu maaso n’okuyiga Bayibuli era n’atandika okutwala Katonda nga mukwano gwe. Kiki ekyamuyamba okukkiriza nti Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda? Asha agamba nti: “Bayibuli yannyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo byonna bye nnalina. Era yannyamba okunyweza okukkiriza kwange mu Katonda ne ndaba nga kyali tekikyalina makulu kugenda mu yeekaalu kusinza bifaananyi.”
16 Omuwala ayitibwa Paula yakulira mu maka Amakatoliki, naye bwe yagenda akula, yatandika okubuusabuusa obanga Katonda gy’ali. Naye waliwo ekintu ekyamuyamba okukyusa endowooza ye. Agamba nti: “Nnasisinkana mukwano gwange omulenzi gwe nnali ndudde okulaba. Mu kiseera ekyo, abavubuka bangi baakuzanga enviiri era nga banywa n’enjaga. Kyokka bwe nnalaba ng’endabika ye yali ekyuse nnyo, nga takyalina nviiri mpanvu era nga musanyufu, nnamubuuza kiki ekyali kimuleetedde okukyuka ennyo bw’atyo, na wa gye yali abulidde. Yaŋŋamba nti Abajulirwa ba Yakuwa baamuyamba okuyiga Bayibuli era n’ambuulirako ku bintu bye yali ayize.” Paula bwe yalaba engeri amazima agali mu Bayibuli gye gaali gayambyemu mukwano gwe okukyusa obulamu bwe, ekyo kyamuleetera okwagala okuyiga Bayibuli n’okukkiriza nti yaluŋŋamizibwa Katonda.
“EKIGAMBO KYO YE TTABAAZA ERI EBIGERE BYANGE”
17. Okusoma Bayibuli buli lunaku n’okufumiitiriza ku ebyo by’oba osomye, kinaakuganyula kitya?
17 Bayibuli kirabo kya muwendo nnyo Yakuwa kye yatuwa ng’ayitira mu mwoyo gwe omutukuvu. Singa ofuba okusoma Bayibuli buli lunaku, ojja kweyongera okugyagala era ojja kweyongera okwagala n’Oyo eyagituwa. (Zab. 1:1, 2) Buli lw’oba ogenda okusoma Bayibuli sooka osabe Katonda akuwe omwoyo gwe omutukuvu gukuyambe okutegeera ebintu by’oba ogenda okusoma. (Luk. 11:13) Okuva bwe kiri nti obubaka obuli mu Bayibuli bwava eri Katonda, bw’ofuba okufumiitiriza ku bintu ebigirimu, ojja kusobola okufuna endowooza ya Katonda.
18. Lwaki oli mumalirivu okweyongera okuyiga ebintu ebiri mu Bayibuli?
18 Buli lw’obaako ebintu by’oyize okuva mu Bayibuli, fuba okulaba nti obikolerako. (Soma Zabbuli 119:105.) Okusoma Bayibuli kuyinza okugeraageranyizibwa ku kweraba mu ndabirwamu. Bw’okiraba nti waliwo enkyukakyuka z’olina okukola, baako ky’okolawo mu bwangu. (Yak. 1:23-25) Ekigambo kya Katonda kikozese ng’ekitala okulwanirira enzikiriza yo n’okuggya enjigiriza ez’obulimba mu mitima gy’abantu abawombeefu. (Bef. 6:17) Buli lw’oba okozesa Bayibuli, kijjukirenga nti bannabbi n’abasajja abalala abaakozesebwa okugiwandiika ‘baalina obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu.’
[Obugambo obuli wansi]
a Ekitabo ekiyitibwa Greek-English Lexicon of the New Testament and Other Early Christian Literature.
b Amannya agamu gakyusiddwa.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 29]
Okusoma Bayibuli buli lunaku kijja kukuyamba okweyongera okwagala Oyo eyagituwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Omuntu afuna ebbaluwa akitwala nti evudde w’oyo eyagiteekako omukono