LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g17 Na. 3 lup. 3
  • Bayibuli—Ddala ‘Yaluŋŋamizibwa Katonda’?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bayibuli—Ddala ‘Yaluŋŋamizibwa Katonda’?
  • Zuukuka!—2017
  • Subheadings
  • Similar Material
  • EKIGAMBO ‘OKULUŊŊAMYA’ KITEGEEZA KI?
  • ‘Baalina Obulagirizi bw’Omwoyo Omutukuvu’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Bayibuli—Bubaka bwa Katonda Gye Tuli
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Ddala Amawulire Amalungi Gava eri Katonda?
    Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
  • Engeri Omutonzi gy’Atutuusaako Obubaka Bwe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
See More
Zuukuka!—2017
g17 Na. 3 lup. 3
Maneja wa kampuni ng’aliko obubaka bw’agamba omuwandiisi we okuwandiika

OMUTWE OGULI KUNGULU | DDALA BAYIBULI YAVA ERI KATONDA?

Bayibuli​—Ddala ‘Yaluŋŋamizibwa Katonda’?

OKKIRIZA nti Bayibuli yava eri Katonda? Oba olowooza nti Bayibuli kitabo ekirimu amagezi g’abantu?

N’abantu abamu abeeyita Abakristaayo balina endowooza za njawulo ku nsonga eyo. Ng’ekyokulabirako, okunoonyereza okwakolebwa mu Amerika mu 2014 kwalaga nti abantu abasinga obungi abeeyita Abakristaayo bakkiriza nti “Bayibuli erina akakwate ne Katonda.” Ate ku luuyi olulala, omuntu 1 ku buli bantu 5, Bayibuli baali bagitwala ng’ekitabo ekirimu “engero ez’edda, enfumo, ebyafaayo, n’amateeka ebyawandiikibwa abantu.” Kati ekyebuuzibwa kiri nti, “Ddala Bayibuli ‘yaluŋŋamizibwa’ Katonda?”​—2 Timoseewo 3:16.

EKIGAMBO ‘OKULUŊŊAMYA’ KITEGEEZA KI?

Bayibuli erimu ebitabo 66, ebyawandiikibwa abantu nga 40 mu bbanga lya myaka nga 1,600. Naye bwe kiba nti Bayibuli yawandiikibwa bantu, kijja kitya okuba nti ‘yaluŋŋamizibwa Katonda’? Okuba nti Bayibuli ‘yaluŋŋamizibwa Katonda’ kitegeeza nti ebigirimu byava eri Katonda. Bayibuli egamba nti: “Abantu baayogeranga ebyava eri Katonda nga balina obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu.” (2 Peetero 1:21) Katonda yakozesa amaanyi ge agatalabika agayitibwa omwoyo omutukuvu okutuusa obubaka ku bantu abaawandiika ebitabo ebiri mu Bayibuli. Kino kiyinza okugeraageranyizibwa ku maneja wa kampuni abaako obubaka bw’agamba omuwandiisi we okuwandiika, era omuwandiisi oyo n’abuwandiika. Ebyo omuwandiisi by’aba awandiise tebiba bibye wabula biba bya maneja wa kampuni.

Abawandiisi ba Bayibuli abamu baategeezebwa obubaka obuva eri Katonda okuyitira mu bamalayika. Abalala baafuna okwolesebwa okuva eri Katonda. Ate abamu Katonda yabatuusaako obubaka bwe okuyitira mu birooto. Emirundi egimu Katonda yaleka abawandiisi abo okuwandiika obubaka bwe nga bakozesa ebigambo byabwe, ate emirundi emirala yabategeezanga ebigambo byennyini bye baalina okuwandiika. Obubaka ka babe nga baabufuna mu ngeri ki, byonna bye baawandiika byava eri Katonda.

Tukakasa tutya nti Katonda ye yaluŋŋamya abawandiisi ba Bayibuli? Ka tulabeyo obukakafu bwa mirundi esatu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share