Okwejjukanya
Ebibuuzo bino bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika Ddesemba 29, 2014.
Ekiragiro ekiri mu Ekyamateeka 14:1 ekigaana okwesala emibiri gyaffe nga tukungubagira omuntu afudde tukitwala tutya? [Nov. 3, w04 10/1 lup. 11 kat. 3]
Lwaki bakabaka ba Isiraeri baalagirwa okukoppolola Amateeka ga Katonda era ‘bagasomenga ennaku zonna ez’obulamu bwabwe’? (Ma. 17:18-20) [Nov. 3, w02 7/1 lup. 8 kat. 4]
Lwaki Abaisiraeri baaweebwa etteeka erigamba nti “tolimisanga nte n’endogoyi wamu,” era kiki kye tuyigamu? (Ma. 22:10) [Nov. 10, w03-E 10/15 lup. 32]
Lwaki okusingirwa ‘olubengo n’enso’ kyali kigeraageranyizibwa ku kusingirwa “obulamu bw’omuntu”? (Ma. 24:6) [Nov. 17, w04 10/1 lup. 10 kat. 2]
Nneewulira ki Abaisiraeri gye baalina okuba nayo nga baweereza Yakuwa, era kiki ekisaanidde okutukubiriza okuweereza Yakuwa? (Ma. 28:47) [Nov. 24, w10 9/15 lup. 8 kat. 4]
Bintu ki ebisatu ebyogerwako mu Ekyamateeka 30:19, 20, bye tuteekwa okukola okusobola okufuna obulamu? [Nov. 24, w10 2/15 lup. 28 kat. 17]
Ebigambo ‘onookirowoozangako [onookifumiitirizangako, NW] emisana n’ekiro’ ebiri mu Yoswa 1:8, bitegeeza ki? [Des. 8, w13 4/15 lup. 7 kat. 4]
‘Omukulu w’eggye lya Yakuwa’ ayogerwako mu Yoswa 5:14, 15 y’ani, era ennyiriri ezo ziyinza zitya okutuzzaamu amaanyi? [Des. 8, w05 4/1 lup. 30 kat. 1]
Kiki ekyaviirako Akani okukola ekibi, era ekyo tukiyigirako ki? (Yos. 7:20, 21) [Des. 15, w10 4/15 lup. 20-21 kat. 2, 5]
Ekyokulabirako kya Kalebu kituzzaamu kitya amaanyi leero? (Yos. 14:10-13) [Des. 29, w05 4/1 lup. 32 kat. 3]