Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Apuli
“Abakristaayo bangi babatiza, ggwe olowooza kikulu okubatizibwa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekitundu kino kirimu ensonga ennungi ezikwata ku kubatizibwa.” Mukwase Watchtower eya Apuli 1, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’omutwe omutono ogusooka ku lupapula 16 era musome waakiri ekimu ku byawandiikibwa ebiweereddwa. Bw’aba alaze okusiima, mulekere magazini zombi era kola enteekateeka ey’okumuddira mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.
The Watchtower Apuli 1
“Abantu balina endowooza za njawulo ku Yesu. Abamu balowooza nti ye yali Masiya eyasuubizibwa. Abalala balowooza nti yali bubeezi musajja mulungi. Kyokka ate, eriyo n’abalowooza nti tabangawo ku nsi. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli eraga nti kikulu nnyo okumanya amazima agamukwatako. [Soma Yokaana 17:3.] Magazini eno eraga engeri Bayibuli gy’eddamu ebimu ku bibuuzo ebikwata ku Yesu abantu bye batera okwebuuza.”
Awake! Apuli
“Tugenda tukyalira abantu b’omu kitundu kino, nga tubaleetedde obubaka obusobola okubayamba okufuna essanyu mu maka. Okkiriziganya nange nti amaka goolekaganye n’ebizibu bingi ennaku zino? [Muleke abeeko ky’addamu] Weetegereze wa amaka mangi we gaggya amagezi ag’omuganyulo. [Soma Zabbuli 119:105.] Magazini eno ennyonnyola engeri amaka agatali gamu omuli omuzadde atali wa mu musaayi gye gasobodde okwaŋŋangamu ebizibu eby’amaanyi nga gakolera ku misingi egiri mu Bayibuli.”