Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Maaki: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Mufube okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli ku mulundi gwe muba musoose okubakyalira. Abantu bwe basangibwa nga bakalina, era nga tebaagala kuyiga naffe Bayibuli, ababuulizi bayinza okubawa emu ku magazini zaffe enkadde oba brocuwa yonna etuukagana n’embeera. Apuli ne Maayi: Watchtower ne Awake! Abo ababa balaze okusiima, mubawe tulakiti Wandyagadde Okumanya Amazima? era mufube okutandika okubayigiriza Bayibuli. Bwe muddayo eri abo abaagala okumanya ebisingawo nga mw’otwalidde n’abo abaaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo oba ku nkuŋŋaana ennene naye nga tebatera kubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina, mufube okutandika okubayigiriza Bayibuli nga mukozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza.
◼ Omukolo gw’Ekijjukizo gujja kubaawo ku Lwokuna, Apuli 5, 2012. Ekibiina kyammwe bwe kiba n’enkuŋŋaana ku Lwokuna, zirina okukyusibwa ne ziteekebwa ku lunaku olulala olwa wiiki singa tewabaawo kibiina kirala kigenda kukozesa Kizimbe kya Bwakabaka. Kino bwe kiba nga tekisoboka, ebitundu ebiri mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza naddala ebyo ebisinga okukwata ku kibiina kyammwe, muyinza okuba nabyo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olulala.
◼ Vidiyo ebbiri eziyitibwa Young People Ask, How Can I Make Real Friends? ne What Will I Do With My Life?, zijja kukubaganyizibwako ebirowoozo mu Nkuŋŋaana z’Obuweereza gye bujja. Abazetaaga basaanidde okuziragiriza nga bayitira mu bibiina byabwe amangu ddala nga bwe kisoboka.
◼ Mu wiiki etandika nga Jjuuni 25, 2012, tujja kutandika okusoma ekitabo “Yigira Ku Muyigiriza Omukulu” mu Kusoma Bayibuli okw’Ekibiina. Ebibiina ebyetaaga ebitabo bino bisaanidde okubiragiriza nga biragiriza ebitabo omulundi oguddako.