Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Apuli 2
WIIKI ETANDIKA APULI 2
Oluyimba 91 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 14 ¶1-6 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Yeremiya 17-21 (Ddak. 10)
Na. 1: Yeremiya 21:1-10 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Engeri Sitaani gy’Afugamu Ekakasizza Ki? (Ddak. 5)
Na. 3: Kiki Ekisobozesa Obufumbo Okubaamu Essanyu?—rs-E lup. 253 ¶2-5 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Ebirango. Kozesa ennyanjula eri ku lupapula luno oba eyo eri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka ak’omwezi oguwedde okulaga engeri gye tuyinza okutandika okuyigiriza omuntu Bayibuli ku Lwomukaaga olusooka mu Apuli.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 10: Amagezi Ge Tuyinza Okukozesa Okugaba Magazini mu Apuli. Kukubaganya birowoozo nga mukozesa magazini ze mwasembayo okufuna mu kibiina kyammwe n’amagezi agatuukirawo agali ku lupapula luno oba agali mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka ak’omwezi oguwedde. Mu ddakiika emu oba bbiri nokolayo ebimu ku bitundu ebiyinza okusikiriza abantu mu kitundu kyammwe. Oluvannyuma, ng’okozesa ebitundu ebisooka mu Watchtower ebikwatagana n’omutwe oguli kungulu, saba abawuliriza boogere ebibuuzo ebiyinza okusikiriza abantu n’ebyawandiikibwa bye muyinza okusoma. Kola kye kimu ne ku bitundu ebisooka ebiri mu Awake! ebikwatagana n’omutwe oguli kungulu, era obudde bwe bubaawo, kola kye kimu ne ku kitundu ekirala kimu okuva mu emu ku magazini ezo. Laga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu buli emu ku magazini ezo.
Oluyimba 99 n’Okusaba