LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 3/12 lup. 3
  • Ebitonde Byoleka Ekitiibwa kya Katonda

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebitonde Byoleka Ekitiibwa kya Katonda
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Similar Material
  • Weeyongere Okuyiga Ebikwata ku Yakuwa Okuyitira mu Bintu Bye Yatonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Otegeera Engeri za Katonda Ezitalabika?
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Kozesa Ebitonde Okuyigiriza Abaana Bo Ebikwata ku Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Engeri Ebitonde Gye Byolekamu Okwagala kwa Katonda
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
km 3/12 lup. 3

Ebitonde Byoleka Ekitiibwa kya Katonda

Bangi banyumirwa nnyo okutunuulira ebitonde. Naye batono abakimanyi nti ebitonde bye balaba byoleka enneewulira n’endowooza y’Omutonzi waffe ow’Ekitalo. (Bar. 1:20) Edda ennyo, Dawudi yayiga ebikwata ku Yakuwa okuyitira mu Kigambo kye ekyaluŋŋamizibwa. Naye era okutunuulira ebitonde kyamusobozesa okuba ng’alaba Yakuwa n’okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye. (Zab. 8:3, 4) Vidiyo erina omutwe ogugamba nti The Wonders of Creation Reveal God’s Glory etuyamba ffe, abaana baffe, n’abayizi baffe aba Bayibuli okwetegereza ebimu ku bitonde bya Yakuwa, n’okutegeera engeri z’Omutonzi waffe ow’Ekitalo n’ekyo kyali, ekitusobozesa okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye. Ng’omaze okulaba vidiyo eno, ddamu ebibuuzo bino wammanga.

(1) Obunene bw’obwengula n’engeri gye butegekeddwamu bikuleetera bitya okwongera okusiima Yakuwa? (Is. 40:26) (2) Bwe twetegereza amazzi, kiki kye tuyigira ku Oyo eyagakola? (Kub. 14:7) (3) Obunene bw’ensi n’ebbanga lye yeesudde okuva ku njuba biraga bitya amagezi ga Yakuwa? (4) Omwezi gulina mugaso ki? (Zab. 89:37) (5) Biki ebiraga nti Yakuwa yatukola mu ngeri etusobozesa okunyumirwa obulamu? (6) DNA kye ki? (Zab. 139:16) (7) Mu ngeri ki abantu gye bali ab’enjawulo ku bitonde ebirala byonna ebiri ku nsi? (Lub. 1:26) (8) Kiki kye weesunga mu nsi empya?

Ebirala Ebiragibwa: (9) Langi ziva wa? (10) Amazzi gasobola gatya okwambuka mu muti waggulu ate nga waliwo amaanyi agasika ebintu nga gabizza wansi? (11) Amazzi galina mugaso ki mu mibiri gyaffe? (12) Waayo ebyokulabirako ebiraga engeri ebitonde ebiramu gye bikolaganira awamu. (13) Kiki ekisobozesa ebitonde ebiramu ng’oggyeko ebimera okukolagana obulungi? (14) Ebintu gamba ng’ennaanansi n’ekimuli kya sunflower biraga bitya nti byakolebwa mu ngeri eyeewunyisa?

‘Weetegereze’ Ebitonde bya Yakuwa: Yesu yatukubiriza ‘okwetegereza ebinyonyi by’omu bbanga’ era ‘n’okuyigira ku ngeri amalanga g’oku ttale gye gakulamu.’ (Mat. 6:26, 28) Okukola ekyo, kijja kwongera okunyweza okukkiriza kwaffe, tujja kweyongera okwesiga Omutonzi, era tujja kweyongera okusiima amagezi ga Yakuwa, amaanyi ge ag’obulokozi n’okwagala kwe. Mu kifo ky’okutwalirizibwa ebintu by’ensi eno, funayo akadde weetegereze ebitonde bya Yakuwa, era ofumiitirize ne ku kye bituyigiriza ku Katonda waffe.​—Zab. 19:1.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share