LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 3/13 lup. 8
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
  • Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Similar Material
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Ezimu ku Nnyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
See More
Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
km 3/13 lup. 8

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Okufuna Abayizi ba Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Apuli

“Tukubiriza bannaffe okusoma Bayibuli zaabwe. Naye bangi balowooza nti Bayibuli nzibu okutegeera. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze akatabo kano kye kagamba.” Mulage ekitundu ekiri ku lupapula olusembayo olw’Omunaala gw’Omukuumi ogwa Apuli 1, musomere wamu obutundu obuli wansi w’ekibuuzo ekisooka era musome waakiri ekimu ku byawandiikibwa ebiragiddwa. Muwe magazini, era okole enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako. Bwe muba temulina magazini za Apuli, kozesa ze mwasembayo okufuna mu kibiina kyammwe, era kebera mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka akalimu ennyanjula za magazini ezo.

Omunaala gw’Omukuumi Apuli 1

“Buli muntu gwe twogeddeko naye agamba nti alina ebizibu. Kino kireetedde abamu okwebuuza obanga obulamu bulina amakulu. Olowooza kiki ekisinga okulemesa abantu okufuna essanyu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli esuubiza nti Katonda anaatera okuggyawo ebizibu byonna ebiriwo. [Soma Okubikkulirwa 21:4.] Akatabo kano kalaga ebirungi ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso, n’engeri gye tusobola okuba n’obulamu obw’amakulu mu kiseera kino.”

Awake! Apuli

“Okutulugunyizibwa mu maka kizibu kya maanyi mu nsi yonna. Abamu bagamba nti kiva ku buwangwa bw’omuntu, engeri gye yakuzibwamu, n’eby’okwesanyusaamu ebirimu ebikolwa eby’obukambwe. Ggwe olowooza kiki ekisinga okuleetera abantu okutulugunya bannaabwe mu bufumbo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli eraga engeri buli omu gy’asaanidde okuyisaamu munne mu bufumbo. [Soma Abeefeso 5:33.] Akatabo kano kalaga engeri abamu gye bataasizzaamu obufumbo bwabwe nga bakolera ku musingi guno n’emirala egiri mu Bayibuli.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share