Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okufuna Abayizi ba Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Jjanwali
“Twandyagadde okufuna endowooza yo. Olowooza erinnya lya Katonda y’ani? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze akatabo kano kye kagamba.” Muwe Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali 1 omulage ekitundu ekiri ku lupapula olusembayo. Musomere wamu ebiri wansi w’omutwe omutono ogusooka era musome waakiri ekimu ku byawandiikibwa ebiragiddwa. Muwe magazini zombi, era okole enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.
The Watchtower Jjanwali 1
“Ennaku zino, abantu bangi boogera ku nkomerero. Olowooza tusaanidde okugitya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Okusinziira ku kyawandiikibwa kino, waliwo abajja okuwonawo. [Soma 1 Yokaana 2:17.] Akatabo kano kalaga engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo bina ebikwata ku nkomerero, abantu bye tatera okwebuuza.”
Awake! Jjanwali
“Tukyalira buli maka nga tulina obubaka obukulu bwe tubaleetedde. Olowooza kikulu amaka okukolera ku bigambo bya Yesu bino? [Soma Ebikolwa 20:35b, omuleke abeeko ky’addamu.] Okuyigiriza abaana okufaayo ku balala kiyinza obutaba kyangu kubanga abantu abasinga obungi beefaako bokka. [Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 8.] Ekitundu kino kirimu amagezi agayinza okuyamba abazadde okuyigiriza abaana baabwe okufaayo ku balala.”