Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Maayi
“Olowooza amadiini galeetera abantu okwagalana n’okuba mu mirembe oba gabaleetera kukyawagana na kuttiŋŋana? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ka nkulage ekintu ekirungi ennyo ekikwata ku nsonga eyo.” Mukwase Watchtower eya Maayi 1, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’omutwe omutono ogusooka ku lupapula 16 era musome waakiri ekimu ku byawandiikibwa ebiweereddwa. Mulekere magazini zombi era kola enteekateeka ey’okumuddira mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.
The Watchtower Maayi 1
“Bangi bagamba nti kirungi bannaddiini okwenyigira mu by’obufuzi, so ng’ate abalala muli bawulira nti bannaddiini tebasaanidde kubyenyigiramu. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekyo Yesu kye yakola abantu bwe baali baagala yeenyigire mu by’obufuzi. [Soma Yokaana 6:15.] Magazini eno ennyonnyola ensonga lwaki Yesu yagaana okubyenyigiramu era eyogera ku ngeri esingayo obulungi Abakristaayo gye basobola okuyambamu abantu ab’omu kitundu kyabwe.”
Awake! Maayi
“Kumpi buli omu gwe twogeddeko naye yali ayisiddwako mu ngeri etali ya bwenkanya. Olowooza waliwo ekiyinza okumalawo obutali bwenkanya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze obunnabbi buno obukwata ku mufuzi ajja okumalawo obutali bwenkanya. [Soma Zabbuli 72:11-14.] Magazini eno eyogera ku bisuubizo bya Bayibuli ebiraga nti wajja kubaawo obwenkanya mu biseera eby’omu maaso.”