Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Jjuuni
Soma Okuva 6:2, 3, oluvannyuma ogambe nti: “Ekyawandiikibwa kino kiraga nti Katonda alina erinnya. Olowooza kikulu okukozesa erinnya lya Katonda? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze magazini eno ky’egamba.” Mukwase Watchtower eya Jjuuni 1, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’omutwe omutono ogusooka ku lupapula 16. Muwe magazini zombi era okole enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.
The Watchtower Jjuuni 1
“Nandyagadde okumanya endowooza gy’olina ku nsonga eno enkulu ennyo. [Bikkula olupapula 3, omulage olukalala oluliko.] Kiruwa ku bino ky’okkiriziganya nakyo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Bayibuli bwe yeeyogerako. [Soma Abaruumi 15:4.] Magazini eno eraga ensonga ttaano lwaki Bayibuli kitabo kya njawulo nnyo ku birala era n’engeri gy’eyinza okutuganyula.”
Awake! Jjuuni
“Buli mwaka abantu bukadde na bukadde okwetoloola ensi balwala olw’okulya emmere etali nnungi. Olowooza emmere gye tulya mu kitundu kyaffe kino nnungi oba si nnungi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola engeri nnya ze tuyinza okukuumamu ab’omu maka gaffe ne batafuna ndwadde ezisibuka ku mmere. Ate era eyogera ku kisuubizo kya Bayibuli ekiraga nti ekiseera kinaatera okutuuka buli muntu abeere n’emmere ennungi ng’ate emumala.” Soma Zabbuli 104:14, 15.