Ezimu ku Nnyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Jjuuni
“Ffenna twali tufiiriddwako ab’eŋŋanda zaffe oba ab’emikwano. Olina essubi nti oliddamu okubalaba? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze essuubi lino eribudaabuda.” Musomere wamu ebyo ebiri wansi w’omutwe omutono ogusooka ku lupapula 16 mu magazini ya Watchtower eya Jjuuni 1 n’ekimu ku byawandiikibwa ebiweereddwa. Muwe magazini era okole enteekateeka ey’okuddayo oddemu ekibuuzo ekiddako.
The Watchtower Jjuuni 1
“Bangi ku ffe tukola butaweera tusobole okweyimirizaawo, era nga n’abantu abamu tebalina bintu bye beetaaga mu bulamu. Ggwe olowooza ekiseera kirituuka ne waba nga tewaliiwo muntu mwavu? [Muleke abeeko ky’addamu, era soma Zabbuli 9:18.] Magazini eno eyogera ku ekyo ekireetawo obwavu era n’ekyo Bayibuli ky’eyogerako ekinaagonjoola ekizibu kino.”
Awake! Jjuuni
“Ebikolwa eby’obutujju bibunye ensi yonna. Olowooza kiki ekireetera abantu okwenyigira mu bikolwa eby’obutujju? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ebigambo bino ebiri mu Bayibuli bituwa essuubi. [Soma Zabbuli 72:7, 14.] Magazini eno ennyonnyola ezimu ku nsonga lwaki waliwo obutujju era n’ekyo Bayibuli ky’eyogera ku ngeri ki na ddi obutujju lwe bunaakoma.”