Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okufuna Abayizi ba Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Jjuuni
“Tubakyaliddeko tukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino. [Mulage ekibuuzo ekisooka ekiri ku lupapula olusembayo olw’Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjuuni 1.] Ggwe wandikizzeemu otya?” Muleke abeeko ky’addamu. Mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’ekibuuzo ekyo era musome waakiri ekimu ku byawandiikibwa ebiragiddwa. Muwe magazini, era okole enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.
Omunaala gw’Omukuumi Jjuuni 1
“Abantu ng’obukadde mukaaga be bafa buli mwaka olw’okunywa ssigala. Olowooza waliwo ekiyinza okukolebwa okumalawo ekizibu kino? [Muleke abeeko ky’addamu.] Abantu bangi bwe bategeera endowooza Katonda gy’alina ku kunywa ssigala, balekera awo okumunywa. Ng’ekyokulabirako, ekyawandiikibwa kino kireetedde bangi okulowooza ku ngeri okunywa ssigala gye kikosaamu abalala. [Soma 1 Abakkolinso 10:24.] Akatabo kano kalaga engeri okumanya endowooza ya Katonda gye kiyinza okuyamba omuntu okulekera awo okunywa ssigala.”
Awake! Jjuuni
“Ennaku zino abantu bangi bagamba nti bafunye emikwano mingi ku mikutu gya Intaneeti. Olowooza emikwano emirungi gisaanidde kuba gitya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekyawandiikibwa kino kiraga ebimu ku ebyo ebifuula omuntu okuba omukwano omulungi. [Soma Yakobo 1:19.] Akatabo kano kalimu amagezi ga mirundi ena agasobola okutuyamba okuba emikwano emirungi.”