Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okufuna Abayizi ba Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Ddesemba
“Mu kiseera kino abantu bangi balowooza ku Yesu. Olowooza kintu ki ekisinga obukulu Yesu kye yakola? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze omutwe gw’ekitundu kino ekiri ku lupapula 16.” Mukwase Watchtower eya Ddesemba 1, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’ogumu ku mitwe emitono era musome waakiri ekyawandiikibwa kimu. Muwe magazini zombi era okole enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.
The Watchtower Ddesemba 1
“Mu kiseera kino, abantu bangi beetegekera Ssekukkulu. Olowooza kiruwa ku bino, ekisinga obukulu? [Mulage ebibuuzo ebitaano ebisooka ku lupapula 3 era omuleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma genda ku kitundu ekikwatagana n’ekibuuzo ky’alonze, osome ekyawandiikibwa ekiri wansi w’omutwe.] Akatabo kano kalaga engeri gye tusobola okujjukiramu Yesu mu mwaka gwonna, so si ku Ssekukkulu kwokka.”
Awake! Ddesemba
“Okyetegerezza nti abantu bangi leero beeraliikirivu nnyo era si bagumiikiriza? [Muleke abeeko ky’addamu.] Abantu abamu bakkiriza nti tuli mu biseera ebizibu ebyayogerwako wano mu 2 Timoseewo 3:1. [Soma] Akatabo kano kannyonnyola ensonga lwaki kya kabi obutaba bagumiikiriza era kalimu amagezi agayinza okutuyamba okweyongera okuba abagumiikiriza.”