Katonda Akkiriza Okusinza okw’Engeri Zonna?
Abantu bye batera okuddamu:
▪ “Eddiini makubo ga njawulo agatutuusa eri Katonda.”
▪ “Enzikiriza yo si kikulu kasita oba ng’oli mwesimbu.”
Yesu yayogera ki?
▪ “Muyingire mu mulyango omufunda: kubanga omulyango mugazi, n’ekkubo eridda mu kuzikirira ddene, n’abo abayitamu bangi. Kubanga omulyango mufunda n’ekkubo eridda mu bulamu lya kanyigo, n’abo abaliraba batono.” (Matayo 7:13, 14) Yesu teyayigiriza nti eddiini makubo ga njawulo agatutuusa eri Katonda.
▪ “Bangi abaliŋŋamba ku lunaku luli nti Mukama waffe, Mukama waffe, tetwalagulanga mu linnya lyo, tetwagobanga dayimooni mu linnya lyo, tetwakolanga bya magero bingi mu linnya lyo? Ne ndyoka mbaatulira nti Sibamanyangako mmwe: muve we ndi mwenna abakola eby’obujeemu.” (Matayo 7:22, 23) Abantu abamu abagamba nti bagoberezi be Yesu abeegaana.
ABANTU bangi bakkiririza nnyo mu njigiriza n’obulombolombo bw’eddiini zaabwe. Naye watya ng’enjigiriza ezo n’obulombolombo bikontana n’Ekigambo kya Katonda, Baibuli? Bwe yali ayogera n’abakulembeze b’eddiini ab’omu kiseera kye, Yesu yalaga akabi akali mu kugoberera amateeka g’abantu: “Mwadibya ekigambo kya Katonda olw’obulombolombo bwammwe bwe mwaweebwa.” Oluvannyuma yajuliza ebigambo bino ebyayogerwa Katonda: “Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa; naye omutima gwabwe gundi wala. Naye bansinziza bwereere, nga bayigiriza amateeka g’abantu nga bye by’okukwata.”—Matayo 15:1-9; Isaaya 29:13.
Enjigiriza si kye kikulu kyokka, wabula n’enneeyisa. Baibuli eyogera bw’eti ku bantu abamu abagamba nti basinza Katonda: “Baatula nga bamanyi Katonda; naye mu bikolwa byabwe bamwegaana.” (Tito 1:16) Ng’eyogera ku bantu abandibaddewo mu kiseera kino, Baibuli egamba nti: ‘Bandibadde baagala essanyu okusinga Katonda, nga balina ekifaananyi eky’okutya Katonda naye nga beegaana amaanyi gaakwo. Era abo obakubanga amabega.’—2 Timoseewo 3:4, 5.
Kituufu nti tulina okuba abeesimbu, naye ekyo tekimala. Lwaki? Kubanga omuntu asobola okukola ekintu mu bwesimbu naye nga kikyamu. N’olwekyo, kikulu nnyo okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Katonda. (Abaruumi 10:2, 3) Okufuna okumanya okwo n’okukolera ku Baibuli by’eyigiriza kijja kutuyamba okusanyusa Katonda. (Matayo 7:21) Bwe kityo, eddiini entuufu ezingiramu okuba n’ebigendererwa ebituufu, enjigiriza entuufu, n’ebikolwa ebituufu. Era ebikolwa ebituufu kitegeeza kukola Katonda by’ayagala buli lunaku!—1 Yokaana 2:17.
Bw’oba oyagala okumanya ebisingawo ku ebyo Baibuli by’eyigiriza ku Katonda, tuukirira Abajulirwa ba Yakuwa bakuyigirize Baibuli ku bwereere.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 9]
Eddiini entuufu ezingiramu ebigendererwa ebituufu, enjigiriza entuufu, n’ebikolwa ebituufu