Ebirimu
Jjanwali 15, 2010
Ebitundu eby’Okusoma
EBITUNDU EBY’OKUSOMA MU WIIKI EYA:
Maaki 1-7, 2010
Lwaki Osaanidde Okwewaayo eri Yakuwa?
OLUPAPULA 3
ENNYIMBA EZINAAKOZESEBWA: 7, 106
Maaki 8-14, 2010
Okubeera Abantu ba Yakuwa—Kisa kya Nsusso
OLUPAPULA 7
ENNYIMBA EZINAAKOZESEBWA: 62, 107
Maaki 15-21, 2010
Kirage nti Oli Mugoberezi wa Kristo owa Nnamaddala
OLUPAPULA 12
ENNYIMBA EZINAAKOZESEBWA: 40, 84
Maaki 22-28, 2010
Obufuzi bwa Sitaani Tebusobola Kutuuka ku Buwanguzi
OLUPAPULA 24
ENNYIMBA EZINAAKOZESEBWA: 132, 133
Maaki 29, 2010–Apuli 4, 2010
Kyeyolese nti Obufuzi bwa Yakuwa Bwe Busingayo Obulungi!
OLUPAPULA 28
ENNYIMBA EZINAAKOZESEBWA: 108, 14
Ekigendererwa ky’Ebitundu eby’Okusoma
Ebitundu eby’Okusoma 1, 2 OLUPAPULA 3-11
Ebitundu bino biraga kye kitegeeza omuntu okwewaayo eri Yakuwa era n’ensonga lwaki ekyo kyetaagisa. Era tujja kulaba ensonga lwaki tuli bakakafu nti tusobola okukola ebyo Yakuwa by’ayagala. Ate era, tujja kulaba emikisa abantu ba Yakuwa gye bafuna.
Ebitundu eby’Okusoma 3 OLUPAPULA 12-16
Ekitundu kino kiraga ebintu bitaano bye tulina okufuba okukoppa ku Kristo. Bwe tukola tutyo, tuba tulaga nti tuli bagoberezi ba Kristo ab’amazima, era tujja kusobola okuyamba abo abalinga endiga okutegeera Abakristaayo ab’amazima.
Ebitundu eby’Okusoma 4, 5 OLUPAPULA 24-32
Ekitundu eky’okuna kiraga ensonga lwaki obufuzi bw’abantu abeeyawudde ku Katonda buvuddemu ebizibu bingi n’engeri ekyo gye kiraze nti Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna. Ekitundu eky’okutaano kiraga engeri gye tusobola okulaga nti tukkirizza obufuzi bwa Yakuwa.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO:
Yamba Abaana Bo Okwolekagana n’Okugezesebwa
OLUPAPULA 16
Kozesa Obulamu Bwo Buli Lunaku Okuweesa Katonda Ekitiibwa
OLUPAPULA 21