LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 2/15 lup. 10-14
  • Kozesa Bulungi “Ekitala eky’Omwoyo”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kozesa Bulungi “Ekitala eky’Omwoyo”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ‘Ekigambo kya Katonda Kya Maanyi’
  • Kikwate mu Ngeri Entuufu
  • Kikozese mu Ngeri Esendasenda
  • Weeyongere Okukikozesa Obulungi
  • ‘Kozesa Bulungi Ekigambo kya Katonda’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Yigiriza mu Ngeri Esikiriza
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Okunnyonnyola Obulungi Ebyawandiikibwa
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • “Ekigambo kya Katonda . . . kya Maanyi”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 2/15 lup. 10-14

Kozesa Bulungi “Ekitala eky’Omwoyo”

‘Mukkirize ekitala eky’omwoyo, nga kino kye kigambo kya Katonda.’​—BEF. 6:17.

1, 2. Kiki kye tuyinza okukola okulaga nti tulaba obwetaavu obuliwo obw’ababuulizi b’Obwakabaka?

BWE yalaba obwetaavu bw’abantu obw’eby’omwoyo, Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Eby’okukungula bingi, naye abakozi batono. Kale, musabe Nnannyini makungula aweereze abakozi mu makungula ge.” Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, Yesu ‘yayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri’ n’abatuma okugenda okubuulira, oba ‘okukungula.’ (Mat. 9:35-38; 10:1, 5) Oluvannyuma, ‘yalonda abalala nsanvu, n’abatuma babiri babiri’ okukola omulimu gwe gumu.​—Luk. 10:1, 2.

2 Ne leero waliwo obwetaavu bwa maanyi obw’ababuulizi b’Obwakabaka. Mu 2009, abantu abaaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo mu nsi yonna baali 18,164,539. Ekyo kiraga nti abatali Bajulirwa ba Yakuwa abaaliwo ku mukolo ogwo baasukka mu bukadde 10. Mazima ddala, ennimiro zituuse okukungula. (Yok. 4:34, 35) N’olwekyo, tusaanidde okusaba Yakuwa aweereze abakozi abalala. Naye tuyinza tutya okukolera ku kusaba okwo? Nga tweyongera okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa.​—Mat. 28:19, 20; Mak. 13:10.

3. Omwoyo gwa Katonda gutuyamba gutya okufuuka ababuulizi abalungi?

3 Ekitundu ekyayita kyalaga engeri omwoyo omutukuvu gye gutuyamba ‘okwogera ekigambo kya Katonda n’obuvumu.’ (Bik. 4:31) Omwoyo ogwo era gusobola okutuyamba okufuuka ababuulizi abalungi. Engeri emu gye tuyinza okulongoosa mu ngeri gye tubuuliramu kwe kukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda, Baibuli, ekyaluŋŋamizibwa omwoyo gwe omutukuvu. (2 Tim. 3:16) Obubaka obugirimu bwava eri Katonda. N’olwekyo, bwe tukozesa obulungi Baibuli mu buweereza bwaffe, kiba kiraga nti tugoberera obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu. Nga tetunnaba kulaba ngeri kino gye tuyinza okukikolamu, ka tusooke twetegereze engeri Ekigambo kya Katonda gye kiri eky’amaanyi.

‘Ekigambo kya Katonda Kya Maanyi’

4. Obubaka obuli mu Baibuli buyinza kuleetawo nkyukakyuka ki mu muntu?

4 Ng’obubaka obuva eri Katonda, oba ekigambo kye, bwa maanyi! (Beb. 4:12) Mu ngeri ey’akabonero, obubaka obuli mu Baibuli bwogi okusinga ekitala kyonna ekikolebwa abantu, kubanga mu ngeri ey’akabonero buyingirira ddala ne bwawula amagumba n’obusomyo. Amazima agali mu Byawandiikibwa gayingirira ddala omuntu ne gakwata ku birowoozo bye n’enneewulira ye, era ne galagira ddala ekyo ky’ali munda. Amazima ago galina amaanyi agasobola okukyusa omuntu ne gamufuula omulungi. (Soma Abakkolosaayi 3:10.) Yee, Ekigambo kya Katonda kisobola okukyusa obulamu bw’abantu.

5. Baibuli etuwa etya obulagirizi, era biki ebivaamu?

5 Ate era Baibuli erimu amagezi agatageraageranyizika. Erimu amagezi agasobola okuyamba abantu okwaŋŋanga embeera enzibu mu nsi eno embi. Ng’oggyeko okumulisa ebigere byaffe, Ekigambo kya Katonda era kimulisa ne mu maaso gye tulaga. (Zab. 119:105) Kisobola bulungi okutuyamba okugonjoola ebizibu bye twolekagana nabyo oba okusalawo obulungi ku bintu gamba ng’emikwano, eby’okwesanyusaamu, emirimu, n’ennyambala esaanira. (Zab. 37:25; Nge. 13:20; Yok. 15:14; 1 Tim. 2:9) Bwe tukolera ku misingi egiri mu Kigambo kya Katonda kituyamba okukolagana obulungi n’abalala. (Mat. 7:12; Baf. 2:3, 4) Bwe tukikozesa okumulisa ekkubo lyaffe, tujja kusobola bulungi okulaba engeri ebyo bye tusalawo gye bikwata ku biseera byaffe eby’omu maaso. (1 Tim. 6:9) Ebyawandiikibwa era bituyamba okutegeera ekigendererwa kya Katonda, kino ne kituyamba okukozesa obulamu bwaffe mu ngeri etuukana n’ekigendererwa ekyo. (Mat. 6:33; 1 Yok. 2:17, 18) Ng’omuntu atambuliza obulamu bwe ku misingi gya Baibuli aba n’obulamu obw’amakulu!

6. Mu ngeri ki Baibuli gy’eri ekyokulwanyisa eky’amaanyi mu lutalo lwaffe olw’eby’omwoyo?

6 Ate lowooza ku ngeri ekyokulwanyisa kino eky’amaanyi, Baibuli, gye kituyamba mu lutalo lwaffe olw’eby’omwoyo. Ekigambo kya Katonda Pawulo yakiyita “ekitala eky’omwoyo.” (Soma Abeefeso 6:12, 17.) Bwe tunnyonnyola obulungi obubaka obuli mu Baibuli, busobola okuyamba abantu okusumululwa okuva mu bufuge bwa Sitaani. Mu kifo ky’okuzikiriza obulamu, ekitala kino kibuwonyaawo. Tetwandifubye okukikozesa obulungi?

Kikwate mu Ngeri Entuufu

7. Lwaki kikulu okuyiga okukozesa obulungi “ekitala eky’omwoyo”?

7 Omuserikale okusobola okukozesa obulungi ekyokulwanyisa mu lutalo alina okusooka okuyiga okukikozesa obulungi. Bwe kityo bwe kiri bwe kituuka ku kukozesa “ekitala eky’omwoyo” mu lutalo lwaffe olw’eby’omwoyo. Pawulo yawandiika nti: “Fubanga nnyo okweraga mu maaso ga Katonda ng’omuntu agwanira okusiimibwa, omukozi ataliiko kimukwasa nsonyi, akwata ekigambo eky’amazima mu ngeri entuufu.”​—2 Tim. 2:15.

8, 9. Kiki ekinaatuyamba okutegeera obulungi ebiri mu Baibuli? Waayo ekyokulabirako.

8 Kiki ekinaatuyamba ‘okukwata ekigambo eky’amazima mu ngeri entuufu’ nga tuli mu buweereza bwaffe? Okusobola okuyigiriza obulungi abalala ebiri mu Baibuli, tulina okusooka okubitegeera obulungi.

9 Okusobola okutegeera ebiri mu lunyiriri, kyetaagisa okwetegereza essuula oba ennyiriri eziriraanyewo. Ebigambo bya Pawulo ebiri mu Abaggalatiya 5:13 biraga bulungi ensonga eno. Yawandiika nti: “Ab’oluganda, mwayitibwa okufuna eddembe; naye eddembe lino temulitwala ng’eky’okusinziirako okugoberera omubiri, naye buli omu aweereze munne mu kwagala.” Ddembe ki Pawulo lye yali ayogerako wano? Yali ayogera ku kusumululwa kuva mu kibi na kufa, kuva mu njigiriza za bulimba, oba yali ayogera ku kintu kirala? Ennyiriri eziriraanyewo zituyamba okukitegeera nti Pawulo yali ayogera ku ddembe omuntu ly’afuna ‘olw’okununulibwa mu kikolimo ky’Amateeka.’ (Bag. 3:13, 19-24; 4:1-5) Eryo lye ddembe Abakristaayo lye baafuna olw’okugoberera Kristo. Abo abaafuna eddembe eryo buli omu yaweerezanga munne mu kwagala. Baali tebakyageyaŋŋana era nga tebaneneŋŋana.​—Bag. 5:15.

10. Okusobola okutegeera obulungi amakulu g’Ebyawandiikibwa, biki bye tusaanidde okwetegereza, era tuyinza kubifuna tutya?

10 Okusobola okutegeera obulungi amakulu agali mu kyawandiikibwa, tusaanidde okwetegereza ebirala ebikikwatako, gamba ng’oyo eyawandiika ekitabo kya Baibuli ekyawandiikibwa ekyo mwe kiri, ekiseera mwe kyawandiikirwa, n’embeera eyaliwo mu kiseera ekyo. Era kiba kirungi okutegeera ensonga lwaki ekitabo ekyo kyawandiikibwa. Bwe kiba kisoboka kirungi ne tutegeera n’empisa, embeera y’abantu, n’engeri gye baasinzangamu mu kiseera ekyo.a

11. Kiki kye tusaanidde okwegendereza nga tunnyonnyola abalala ebyawandiikibwa?

11 ‘Okukwata ekigambo eky’amazima mu ngeri entuufu’ tekikoma ku kunnyonnyola bunnyonnyozi mazima ga mu Byawandiikibwa mu ngeri entuufu. Tusaanidde okwewala okukozesa Baibuli kutiisatiisa bantu. Wadde nga tusobola okukozesa Ebyawandiikibwa okulaga abantu ekituufu, nga Yesu bwe yakola bwe yali ng’akemebwa Omulyolyomi, tetusaanidde kukozesa Baibuli kukakaatika njigiriza zaffe ku balala. (Ma. 6:16; 8:3; 10:20; Mat. 4:4, 7, 10) Tusaanidde okukolera ku kubuulirira kw’omutume Peetero kuno: “Mutukuzenga Kristo nga Mukama wammwe mu mitima gyammwe, nga bulijjo muba beetegefu okuddamu buli muntu ababuuza ebikwata ku ssuubi lyammwe, nga mu kikola n’obukkakkamu era nga mumussaamu ekitiibwa.”​—1 Peet. 3:15.

12, 13. “Ebintu ebyasimba amakanda” amazima agali mu Kigambo kya Katonda bye gasiguukulula bye biruwa? Waayo ekyokulabirako.

12 Bwe tunnyonnyola obulungi amazima agali mu Kigambo kya Katonda, biki ebiyinza okuvaamu? (Soma 2 Abakkolinso 10:4, 5.) Amazima agali mu Byawandiikibwa gasobola okusiguukulula “ebintu ebyasimba amakanda,” kwe kugamba, enjigiriza ez’obulimba, ebikolwa eby’akabi, n’obufirosoofo obwoleka amagezi g’abantu. Tusobola okukozesa Baibuli okuggyawo endowooza yonna ‘ewakanya okumanya okukwata ku Katonda.’ Ebyo Baibuli by’eyigiriza bisobola okuyamba abantu okutereeza endowooza zaabwe ne bakkiriza amazima.

13 Lowooza ku kyokulabirako ky’omukyala omu ow’emyaka 93 abeera mu India. Okuva mu buto yali yayigirizibwa nti abantu bwe bafa babbulukukira mu kintu ekirala. Bwe yatandika okuyiga Baibuli okuyitira mu mabaluwa mutabani we eyali abeera ebweru ge yamuwandiikiranga, yakkiriza bye yayiga ku Yakuwa n’ebisuubizo bye. Kyokka, olw’okuba enjigiriza egamba nti abantu babbulukukira mu bintu ebirala yali yasimba amakanda mu birowoozo bye, mutabani we bwe yamuwandiikira ebikwata ku mbeera y’abafu, teyabikkiriza. Yagamba nti: “Sikakasa nti ebyawandiikibwa bye wampadde kye byogera kituufu. Amadiini gonna gayigiriza nti waliwo ekintu ekiwonawo ng’omuntu afudde. Nkuze nkimanyi nti omubiri gwo gufa naye omwoyo gwo gubbulukukira mu bintu ebirala emirundi nga 8,400,000. Kati ky’ogamba nti kino si kituufu? Amadiini agasinga obungi makyamu?” “Ekitala eky’omwoyo” kisobola okusiguukulula enjigiriza ng’eyo eyasimba amakanda? Oluvannyuma lw’okuyiga ebisingawo ku nsonga eyo okuva mu Byawandiikibwa, omukyala oyo yawandiika nti: “Kati ntandise okutegeera amazima agakwata ku mbeera y’abafu. Kinsanyusa okukimanya nti mu kuzuukira tujja kuddamu tulabe abaagalwa baffe abaafa. Njagala Obwakabaka bwa Katonda bujje mangu.”

Kikozese mu Ngeri Esendasenda

14. Okusendasenda abatuwuliriza kitegeeza ki?

14 Okukozesa obulungi Baibuli nga tubuulira tekikoma ku kujuliza bujuliza byawandiikibwa. Pawulo ‘yasendasendanga’ abo be yabanga ayogera nabo, era naffe tusaanidde okukola kye kimu. (Soma Ebikolwa 19:8, 9; 28:23.) ‘Okusendasenda’ kitegeeza “okusikiriza omuntu okukola ekintu.” Omuntu bw’asendebwasendebwa ‘aba mukakafu ku kintu era akikkiririzaamu.’ Bwe tusendasenda omuntu okukkiriza enjigiriza ya Baibuli, tuba tumusikiriza okukkiririza mu njigiriza eyo. Kino okusobola okukikola, kitwetaagisa okumatiza abatuwuliriza nti bye tubabuulira bituufu. Kino tusobola okukikola mu ngeri eziragiddwa wammanga.

15. Oyinza otya okukozesa Baibuli mu ngeri ereetera abalala okugissaamu ekitiibwa?

15 Kozesa Ekigambo kya Katonda mu ngeri eneereetera abalala okukissaamu ekitiibwa. Bw’oba ojuliza ekyawandiikibwa, laga nti kikulu okumanya endowooza Katonda gy’alina ku nsonga gye muba mwogerako. Oluvannyuma lw’okubuuza omuntu ekibuuzo era n’ofuna endowooza ye, oyinza okumugamba nti, ‘Ka tulabe endowooza Katonda gy’alina ku nsonga eno.’ Oba oyinza okumubuuza, ‘Katonda agamba ki ku nsonga eno?’ Bwe twanjula ekyawandiikibwa mu ngeri eyo kiraga oyo aba atuwuliriza nti Baibuli yava eri Katonda era kino kimuyamba okugissaamu ekitiibwa. Kino kikulu naddala bwe tuba tubuulira omuntu akkiririza mu Katonda naye nga tamanyi bulungi Baibuli ky’eyigiriza.​—Zab. 19:7-10.

16. Kiki ekinaakuyamba okunnyonnyola obulungi ebyawandiikibwa?

16 Tosoma busomi byawandiikibwa naye binnyonnyole. Bwe yabanga ayigiriza, Pawulo ‘yannyonnyolanga era yawanga obukakafu ng’akozesa obuwandiike.’ (Bik. 17:3) Olw’okuba ekyawandiikibwa kitera okubaamu ensonga ezisukka mu emu, kiba kikwetaagisa okuggumiza ebigambo ebikwatagana n’ekyo ky’oba oyogerako. Kino osobola okukikola ng’oddamu okusoma ebigambo ebiggyayo ensonga enkulu, oba ng’obuuza ebibuuzo ebiyamba omuntu gw’obuulira okugiraba. Oluvannyuma osobola okunnyonnyola amakulu agali mu katundu k’oba oggumizza. Ekyo bw’omala okukikola, yamba omuntu gw’obuulira okulaba engeri ekyawandiikibwa ekyo gye kimukwatako.

17. Osobola otya okukubaganya ebirowoozo n’abalala ku Byawandiikibwa mu ngeri ematiza?

17 Nnyonnyola Ebyawandiikibwa mu ngeri ematiza. Pawulo yafubanga okutuuka ku mitima gy’abantu ‘ng’akubaganya nabo ebirowoozo ku Byawandiikibwa’ mu ngeri ematiza. (Bik. 17:2, 4) Naawe fuba okutuuka ku mitima gy’abo abakuwuliriza. Fuba okumanya ebiri ku mutima gw’omuntu gw’oyogera naye ng’okozesa ebibuuzo mu ngeri eraga nti omufaako. (Nge. 20:5) Weewale okukakaatika endowooza yo ku balala. Sengeka bulungi by’oyogera. Wa obukakafu obumatiza, era by’oyogera byesigamye ku Kigambo kya Katonda. Kiba kirungi okusoma waakiri ekyawandiikibwa kimu n’okinnyonnyola bulungi mu kifo ky’okusoma ebyawandiikibwa bibiri oba bisatu nga tobinnyonnyodde. Bw’onookola otyo, ‘by’oyogera bijja kusendasenda’ abakuwuliriza. (Nge. 16:23, NW) Oluusi kiyinza okukwetaagisa okunoonyereza ku nsonga gye muba mukubaganyaako ebirowoozo. Omukyala ow’emyaka 93 eyayogeddwako waggulu kye yali yeetaaga kwe kumanya ensonga lwaki amadiini mangi gayigiriza nti omuntu alina omwoyo ogutafa. Okutegeera ensibuko y’enjigiriza eyo n’engeri gye yajja okubuna mu madiini, kyamuleetera okukkiriza ekyo Baibuli ky’eyigiriza ku nsonga eyo.b

Weeyongere Okukikozesa Obulungi

18, 19. Lwaki tusaanidde okweyongera okukozesa obulungi “ekitala eky’omwoyo”?

18 Baibuli egamba nti: “Embeera y’ensi eno ekyukakyuka.” Abantu ababi beeyongerera ddala okuba ababi. (1 Kol. 7:31; 2 Tim. 3:13) Bwe kityo, kirungi okweyongera okusiguukulula “ebintu ebyasimba amakanda” nga tukozesa ‘ekitala eky’omwoyo, nga kino kye kigambo kya Katonda.’

19 Nga tuli basanyufu okuba nti tulina Ekigambo kya Katonda, Baibuli, era nti tusobola okukozesa obubaka obw’amaanyi obukirimu okusiguukulula enjigiriza ez’obulimba n’okuyamba abantu ab’emitima emirungi! Tewali kintu kyonna kisinga bubaka obwo maanyi. N’olwekyo, ka tufube okukozesa obulungi ‘ekitala ekyo eky’omwoyo’ mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira Obwakabaka bwa Katonda.

[Obugambo obuli wansi]

a Ebimu ku biyinza okutuyamba okutegeera ebikwata ku bitabo bya Baibuli bye bitabo: “All Scripture Is Inspired of God and Beneficial,” Insight on the Scriptures, n’ebitundu ebyafulumira mu Omunaala gw’Omukuumi ebirina omutwe, “Ekigambo kya Yakuwa Kiramu.”

b Laba brocuwa Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa? olupapula 5-16.

Kiki ky’Oyize?

• Mu ngeri ki Ekigambo kya Katonda gye kiri eky’amaanyi?

• Oyinza otya ‘okukwata ekigambo eky’amazima mu ngeri entuufu’?

• Obubaka obuli mu Baibuli buyinza kukola ki ku ‘bintu ebyasimba amakanda’?

• Oyinza otya okusendasenda abantu ng’oli mu buweereza?

[Akasanduuko/​Ekifaananyi akali ku lupapula 12]

Okukozesa Ekigambo kya Katonda mu Ngeri Esendasenda

▪ Kozesa Baibuli mu ngeri eneereetera abalala okugissaamu ekitiibwa

▪ Nnyonnyola Ebyawandiikibwa

▪ Kubaganya ebirowoozo mu ngeri ematiza

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]

Olina okuyiga okukozesa obulungi “ekitala eky’omwoyo”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share