LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 11/15 lup. 22
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Yesu yagamba abo abaali bamuwuliriza nti: “Mulina okuba abatuukirivu nga Kitammwe ow’omu ggulu bw’ali omutuukirivu.” Abantu leero basobola batya “okuba abatuukirivu”?​—Mat. 5:​48.
  • Ekigendererwa kya Yakuwa Kijja Kutuukirira!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Okufa kwa Yesu Kutuganyula Kutya?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 11/15 lup. 22

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Yesu yagamba abo abaali bamuwuliriza nti: “Mulina okuba abatuukirivu nga Kitammwe ow’omu ggulu bw’ali omutuukirivu.” Abantu leero basobola batya “okuba abatuukirivu”?​—Mat. 5:​48.

Okusobola okuddamu ekibuuzo kino tulina okusooka okutegeera engeri ebigambo “okuba omutuukirivu” oba “okuba atuukiridde” gye bikozesebwamu mu Baibuli. Si buli kintu ekyogerwako mu Byawandiikibwa ‘ng’ekituukiridde’ nti kiba kituukiridde mu bujjuvu. Kya lwatu nti Yakuwa, ye atuukiridde mu bujjuvu. Obutuukirivu abantu oba ebintu bwe biba nabwo buba bwa kigero. Ebigambo by’Olwebbulaniya n’Oluyonaani ebyavvuunulwa “obutuukirivu” mu Baibuli bisobola okutegeeza “ekijjuvu,” “ekikuze,” oba “ekitaliiko kya kunenyezebwa” okusinziira ku mitindo egiba giteekeddwawo.

Adamu ne Kaawa baatondebwa nga batuukiridde mu by’omwoyo, mu mpisa, ne mu mubiri. Baali batuukiridde okusinziira ku mutindo ogwateekebwawo Omutonzi waabwe. Olw’okuba baajeemera Katonda, baali tebakyatuukana na mutindo guno, bwe kityo ne bafiirwa obulamu obutuukiridde era ne babufiiriza ne bazzukulu baabwe. N’olwekyo, okuyitira mu Adamu, ekibi, obutali butuukirivu, n’okufa byabuna ku bantu bonna.​—Bar. 5:​12.

Kyokka nga Yesu bwe yakiraga mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, n’abantu abatatuukiridde basobola okuba abatuukirivu mu ngeri emu. Mu kubuulira kwe, Yesu yalaga kye kitegeeza okuba n’okwagala okutuukiridde oba okujjuvu. Okwagala ng’okwo Katonda kw’alaga abantu. Yesu yagamba nti: “Mweyongere okwagala abalabe bammwe era n’okusabira abo ababayigganya; mulyoke mubeere abaana ba Kitammwe ali mu ggulu, olw’okuba omusana gwe agwakiza abalungi n’ababi era enkuba ye agitonyeseza abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” (Mat. 5:​44, 45) Abayigirizwa ba Yesu bwe bandiraze okwagala mu ngeri eyo, bandibadde bakoppa ekyokulabirako kya Katonda ekituukiridde.

Leero, Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna bafuba okulaga abalala okwagala ng’okwo. Baagala okuyamba abantu ab’amawanga ag’enjawulo n’amadiini ag’enjawulo okutegeera amazima agali mu Baibuli. Leero mu nsi 236, Abajulirwa ba Yakuwa bayigiriza abantu abasukka mu 7,000,000 Baibuli.

Yesu yabuuza nti: “Bwe mwagala abo ababaagala mpeera ki gye mufuna? N’abasolooza omusolo tebakola kye kimu? Era bwe mubuuza baganda bammwe bokka, kintu ki eky’enjawulo kye muba mukoze? N’ab’amawanga tebakola bwe batyo?” (Mat. 5:​46, 47) Abakristaayo ab’amazima tebasosola mu bantu olw’obuyigirize bwabwe oba olw’amawanga gaabwe; era tebaagala abo bokka ababaagala. Mu kifo ky’ekyo, bayamba abaavu n’abalwadde, abato n’abakulu. Mu ngeri eyo, Abakristaayo baba bakoppa okwagala kwa Yakuwa, era bwe batyo ne baba nga batwalibwa okuba abatuukirivu.

Tulisobola okuba abantu abatuukiridde nga Adamu bwe yali? Yee, olw’okuba bakkiririza mu kinunulo kya Yesu, abantu abawulize bajja kufuuka abatuukiridde mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, ‘Omwana wa Katonda bw’aliggyawo ebikolwa by’Omulyolyomi.’​—1 Yok. 3:8.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share