LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 4/1 lup. 10-13
  • Ddala Katonda Akufaako?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ddala Katonda Akufaako?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Yakuwa Akufaako
  • “Oli Mwagalwa Nnyo”
  • Soma Ekigambo kya Katonda Obutayosa
  • Nyiikirira Okusaba
  • Gulumiza Erinnya lya Yakuwa
  • Yakuwa Asuubiza Danyeri Empeera ey’Ekitalo
    Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri!
  • Engeri gy’Okwatibwako Ekitabo kya Danyeri
    Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri!
  • Azzibwamu Amaanyi Omubaka Ava eri Katonda
    Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri!
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Danyeri
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 4/1 lup. 10-13

Ddala Katonda Akufaako?

OWULIRA nti oyagalibwa? Oba ebiseera ebimu owulira nti tewali muntu akufaako? Mu nsi y’akakyo kano, omuli abantu abeefaako bokka, oyinza okuwulira nti toli wa mugaso era nti tewali akufaako. Nga Bayibuli bwe yalagula, leero abantu bangi nnyo beefaako bokka ne kiba nti tebafaayo ku balala.​—2 Timoseewo 3:1, 2.

Abantu bonna ka babe ba myaka emeka, ba ggwanga ki, ba langi ki oba nga boogera lulimi ki, baatondebwa nga balina obwetaavu obw’okwagalibwa n’okwagala abalala. Okusinziira ku kunoonyereza okumu, emibiri gyaffe gyakolebwa mu ngeri ey’enjawulo etusobozesa okumanya nti tulagiddwa okwagala oba ekisa. Yakuwa Katonda, eyatutonda, akimanyi bulungi okusinga omuntu omulala yenna nti twetaaga okwagalibwa n’okusiimibwa. Wandiwulidde otya singa akukakasa nti oli wa muwendo gy’ali? Awatali kubuusabuusa, ekyo kye kintu ekyandisinze okukuleetera okuwulira nti oli wa mugaso. Naye ddala tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa afaayo ku bantu abatatuukiridde? Atufaako ng’abantu kinnoomu? Bwe kiba bwe kityo, kiki ekireetera omuntu okwagalibwa Katonda?

Yakuwa Akufaako

Emyaka nga 3,000 emabega, omuwandiisi wa zabbuli eyali atya Katonda yawuniikirira nnyo bwe yatunula waggulu ekiro n’alaba ekitiibwa ky’eggulu erijjudde emmunyeenye. Awatali kubuusabuusa yali akimanyi bulungi nti Oyo eyakola emmunyeenye ezo y’asingiridde. Bwe yafumiitiriza ku bukulu bwa Yakuwa era n’afumiitiriza ku ngeri omuntu gy’ali owa wansi ennyo ku Katonda, omuwandiisi wa zabbuli yeewunya nnyo okukitegeera nti Yakuwa atufaako, era yagamba nti: “Bwe ntunuulira eggulu lye wakola, n’omwezi n’emmunyeenye bye wateekawo, ne nneebuuza nti, omuntu ataliiko bw’ali lwaki omulowoozaako? Era omuntu obuntu lwaki omulumirwa?” (Zabbuli 8:3, 4, Bayibuli y’Oluganda eya 2003) Kyandibadde kyangu okulowooza nti Oyo Asingiridde atuli wala nnyo oba nti talina biseera kufaayo ku bantu abatatuukiridde. Kyokka, ye omuwandiisi wa zabbuli yali akimanyi nti wadde nga tuli ba wansi nnyo era nga tuba balamu okumala ekiseera kitono, tuli ba mugaso eri Katonda.

Omuwandiisi wa zabbuli omulala yagamba nti: “Mukama [asanyukira] abo abamutya, abo abasuubira okusaasira kwe.” (Zabbuli 147:11) Ebigambo ebikozeseddwa mu zabbuli ezo zombi bitukwatako nnyo. Wadde nga Yakuwa wa waggulu nnyo, takoma bukomi ku kumanya bumanya nti abantu we bali, wabula ‘abalumirirwa’ era ‘abasanyukira.’

Obunnabbi obuli mu Bayibuli obukwata ku mulimu ogwandikoleddwa mu kiseera kyaffe bwongera okuggumiza ensonga eyo. Okuyitira mu nnabbi Kaggayi, Yakuwa yalaga nti omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda gwandikoleddwa mu nsi yonna. Kiki ekyandivuddemu? Weetegereze ekimu ku ebyo ebyandivuddemu: “Ebyegombebwa amawanga gonna birijja, era ndijjuza ennyumba eno ekitiibwa.”​—Kaggayi 2:7.

Ebintu bino “ebyegombebwa” ebikuŋŋaanyizibwa okuva mu mawanga gonna bye biruwa? Ebintu bino tebiyinza kuba bya bugagga. (Kaggayi 2:8) Ffeeza ne zaabu si bye bisanyusa omutima gwa Yakuwa. Asanyukira abantu abamuweereza olw’okuba bamwagala wadde nga tebatuukiridde. (Engero 27:11) Abantu abo be boogerwako nga “ebyegombebwa” ebimuweesa ekitiibwa, era abasiima nnyo olw’okumwemalirako n’okumuweereza n’obunyiikivu. Oli omu ku bo?

Kiyinza obutaba kyangu kukkiriza nti abantu abatatuukiridde basobola okuba ab’omuwendo eri Omutonzi w’obutonde bwonna. Kyokka, okutegeera amazima ago kyandituleetedde okusemberera Katonda nga bw’atukubiriza okukola.​—Isaaya 55:6; Yakobo 4:8.

“Oli Mwagalwa Nnyo”

Lumu akawungeezi, nnabbi Danyeri eyali akaddiye yalaba ekintu ekyewuunyisa. Bwe yali ng’asaba, amangu ago omugenyi ow’enjawulo gwe yali tasuubira n’atuuka. Yali ayitibwa Gabulyeri. Danyeri yali yamulabako emabegako era yategeera nti malayika wa Yakuwa. Gabulyeri yannyonnyola ekyamuleeta amangu: “Ggwe Danyeri, kaakano nfulumye okukugeziwaza mu kutegeera . . . kubanga oli mwagalwa nnyo.”​—Danyeri 9:21-23.

Olulala, omu ku bamalayika ba Yakuwa yagamba Danyeri nti: “Ggwe Danyeri, ggwe omusajja omwagalwa ennyo.” Okusobola okuzzaamu Danyeri amaanyi, malayika yamugamba nti: “Ggwe omusajja omwagalwa ennyo, totya: emirembe gibeere gy’oli.” (Danyeri 10:11, 19) Bwe kityo, emirundi esatu Danyeri ayogerwako nga “omwagalwa ennyo.” Ebigambo ebyo era bisobola okutegeeza “ow’omuwendo ennyo,” oba “omuganzi.”

Awatali kubuusabuusa, Danyeri yawulira nti alina enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda we era yali akimanyi nti Yakuwa asiima obuweereza bwe. Ate era Katonda okulaga nti amwagala nnyo nga bwe kyeyolekera mu ebyo bamalayika bye baayogera kirina okuba nga kyazzaamu nnyo Danyeri amaanyi. Tekyewuunyisa nti Danyeri yaddamu ng’agamba nti: “Ompadde amaanyi.”​—Danyeri 10:19.

Ebyo ebiri mu Bayibuli ebibuguumiriza ebikwata ku ngeri Yakuwa gye yayagalamu nnabbi we oyo omwesigwa byawandiikibwa mu Kigambo kya Katonda olw’okutuganyula. (Abaruumi 15:4) Okufumiitiriza ku kyokulabirako kya Danyeri kituyamba okuteegera ekireetera omuntu okwagalibwa Kitaffe ow’okwagala abeera mu ggulu.

Soma Ekigambo kya Katonda Obutayosa

Danyeri yali munyiikivu mu kusoma Ebyawandiikibwa. Kino tukimanyi olw’okuba yawandiika ng’agamba nti: ‘Ebitabo ne bintegeeza omuwendo gw’emyaka, Yerusaalemi gye kyandimaze nga kiri matongo.’ (Danyeri 9:2) Ebimu ku bitabo Danyeri bye yasomanga kirabika by’ebyo ebyawandiikibwa abasajja abaaluŋŋamizibwa gamba nga Musa, Dawudi, Sulemaani, Isaaya, Yeremiya, Ezeekyeri, ne bannabbi abalala. Tuyinza okukuba akafaananyi nga Danyeri yeetooloddwa emizingo mingi, ng’agisoma n’obunyiikivu era ng’ageraageranya obunnabbi obutali bumu obwali bukwata ku kuzzaawo okusinza okw’amazima mu Yerusaalemi. Oboolyawo bwe yabanga mu kisenge kye ekya waggulu nga tewali kimutataaganya, yafumiitirizanga nnyo ku makulu g’obunnabbi ng’obwo. Olw’okuba yeesomesanga n’ekigendererwa, okukkiriza kwe kweyongera okunywera era kyamuyamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa.

Ate era, okusoma Ekigambo kya Katonda kyayamba Danyeri okuba n’engeri ennungi era ne kikwata ne ku ngeri gye yatambuzaamu obulamu bwe. Tewali kubuusabuusa nti obulagirizi bw’omu Byawandiikibwa bwe yafuna ng’akyali muto bwamuyamba mu buvubuka bwe okuba omumalirivu okugondera ebiragiro bya Katonda ebikwata ku by’okulya ebitaali birongoofu mu kiseera ekyo. (Danyeri 1:8) Oluvannyuma, yalangirira n’obuvumu obubaka bwa Katonda eri abafuzi ba Babulooni. (Engero 29:25; Danyeri 4:19-25; 5:22-28) Yali amanyiddwa ng’omuntu omunyiikivu, omwesimbu, era omwesigwa. (Danyeri 6:4) N’ekisinga byonna, mu kifo ky’okwekkiriranya asobole okuwonya obulamu bwe, Danyeri yeesiga Yakuwa mu bujjuvu. (Engero 3:5, 6; Danyeri 6:23) Tekyewuunyisa nti yali “mwagalwa nnyo” eri Katonda!

Mu ngeri emu oba endala, kitwanguyira okwesomesa Bayibuli leero okusinga bwe kyali eri Danyeri. Mu kifo ky’okuba n’emizingo eminene, leero ffe tulina ebitabo ebitonotono. Kati tulina Bayibuli ennamba, era ng’erimu n’ebyo ebiraga engeri obumu ku bunnabbi bwa Danyeri gye bwatuukirizibwamu. Ate era tulina ebitabo bingi ebinnyonnyola Bayibuli n’ebintu ebirala ebikozesebwa mu kunoonyereza.a Obikozesa mu bujjuvu? Olina enteekateeka y’okusoma n’okufumiitiriza ku Bayibuli obutayosa? Bwe kiba bwe kityo, ojja kuganyulwa nnyo nga Danyeri bwe yaganyulwa. Ojja kuba n’okukkiriza okunywevu n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Ekigambo kya Katonda kijja kukuwa obulagirizi ku ngeri y’okutambuzaamu obulamu bwo era ojja kuba mukakafu nti Katonda akufaako.

Nyiikirira Okusaba

Danyeri yali munyiikivu mu kusaba. Yasabanga ebintu ebituukagana n’ebyo Katonda by’ayagala. Bwe yali ng’akyali muvubuka, yali agenda kuttibwa singa yalemererwa okunnyonnyola amakulu agaali mu kirooto kya Kabaka wa Babulooni ayitibwa Nebukadduneeza. Awatali kulonzalonza, Danyeri yasaba Yakuwa amuwe obuyambi awamu n’obukuumi. (Danyeri 2:17, 18) Nga wayiseewo emyaka egiwerako, nnabbi oyo omwesigwa era omwetoowaze yali akimanyi nti tatuukiridde, bwe kityo yayatulira Yakuwa ebibi bye n’eby’abantu be era n’amwegayirira abasonyiwe. (Danyeri 9:3-6, 20) Bwe yalemererwa okutegeera amakulu g’ebyo bye yaluŋŋamizibwa okuwandiika, Danyeri yasaba Katonda obuyambi. Lumu, malayika omulala eyakyalira Danyeri okumutegeeza ebisingawo yamugamba nti: “Ebigambo byo byawulirwa.”​—Danyeri 10:12.

Kyokka, Danyeri omusajja omwesigwa teyakoma ku kwegayirira bwegayirizi Katonda. Danyeri 6:10 wagamba nti: “Emirundi esatu buli lunaku, [yasabanga], ne yeebaza mu maaso ga Katonda we, nga bwe yakolanga.” Danyeri yalina ensonga nnyingi ezamuleeteranga okwebaza n’okutendereza Yakuwa. Era ekyo yakikolanga obutayosa. Yee, okusaba kwali kukulu nnyo mu kusinza kwa Danyeri ne kiba nti yali tayinza kulekera awo kusaba ne bwe kyali nti obulamu bwe bwali mu kabi. Awatali kubuusabuusa, obumalirivu obwo bwe yalina bwamuleetera okwagalibwa Yakuwa.

Ng’okusaba nkizo ya muwendo nnyo! Tokkirizanga lunaku kuggwako nga toyogeddeko ne Kitaawo ow’omu ggulu. Teweerabira kumwebaza na kumutendereza olw’ebirungi byonna by’akukolera. Mutegeeze ebikweraliikiriza byonna. Fumiitiriza ku ngeri gy’aba azzeemu okusaba kwo era omwebaze. Twala ekiseera ekiwerako ng’osaba Yakuwa. Bwe kityo, bwe tweyabiza Yakuwa okuyitira mu kusaba, atulaga okwagala kwe ng’abantu kinnoomu. Ekyo nga kyanditukubirizza ‘okunyiikira okusaba’!​—Abaruumi 12:12.

Gulumiza Erinnya lya Yakuwa

Omukwano ogubaawo wakati w’abantu ababiri tegusobola kuwangaala singa omu ku bo aba yeefaako yekka. Bwe kityo bwe kiri ku bikwata ku nkolagana yaffe ne Yakuwa. Ekyo Danyeri yali akimanyi bulungi. Lowooza ku ngeri gye yafangayo ennyo okugulumiza erinnya lya Yakuwa.

Katonda bwe yaddamu okusaba kwe ng’amubikkulira ekirooto kya Nebukadduneeza n’amakulu gaakyo, Danyeri yagamba nti: “Lyebazibwenga erinnya lya Katonda emirembe n’emirembe: kubanga amagezi n’amaanyi gage.” Oluvannyuma, bwe yali ategeeza Nebukadduneeza ekirooto n’amakulu gaakyo, Danyeri yagulumiza Yakuwa enfunda n’enfunda, ng’akiggumiza nti Yakuwa ‘y’abikkula ebyama.’ Mu ngeri y’emu, bwe yali asaba basonyiyibwe era banunulwe, Danyeri yagamba nti: “Ai Katonda wange, . . . ekibuga kyo n’abantu bo batuumi[dd]wa erinnya lyo.”​—Danyeri 2:20, 28; 9:19.

Tusobola okukoppa Danyeri mu ngeri nnyingi. Bwe tuba tusaba, tusobola okutegeeza Yakuwa nti twagala ‘erinnya lye litukuzibwe.’ (Matayo 6:9, 10) Tetwagala nneeyisa yaffe kuvumisa linnya lya Yakuwa ettukuvu. Mu kifo ky’ekyo, ka bulijjo tugulumize Yakuwa nga tubuulirako abalala bye tuyiga ebikwata ku mawulire amalungi ag’Obwakabaka bwe.

Kyo kituufu nti mu nsi gye tulimu, abantu abasinga obungi tebalaga bannaabwe kwagala era tebabafaako. Naye tubudaabudibwa okukimanya nti Yakuwa afaayo ku baweereza be kinnoomu. Ng’omuwandiisi wa zabbuli bw’agamba: “Mukama asanyukira abantu be: aliwonya abawombeefu n’obulokozi.”​—Zabbuli 149:4.

[Obugambo obuli wansi]

a Abajulirwa ba Yakuwa bakuba ebitabo bingi ebinnyonnyola Bayibuli era ebikozesebwa mu kunoonyereza ebisobola okukuyamba okuganyulwa ekisingawo ng’osoma era ng’oyiga Bayibuli. Bw’oba nga wandyagadde okufuna ebimu ku bitabo ebyo, saba omu ku Bajulirwa ba Yakuwa abikufunire.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 11]

Katonda yalaga nti ayagala nnyo Danyeri ng’amusindikira malayika Gabulyeri okumuzzaamu amaanyi

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 13]

Eky’okuba nti Danyeri yali munyiikivu mu kwesomesa n’okusaba kyamusobozesa okuba n’engeri ennungi era kyamufuula omwagalwa ennyo eri Katonda

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share