LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 1/15 lup. 7-8
  • Laba Erinnya mu Kiwonvu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Laba Erinnya mu Kiwonvu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Similar Material
  • Sigala mu ‘Kiwonvu Ekiri Wakati w’Ensozi’
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Obadde Okimanyi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Sigala mu Kiwonvu kya Yakuwa Omuli Obukuumi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Erinnya lya Katonda
    Zuukuka!—2017
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 1/15 lup. 7-8

Laba Erinnya mu Kiwonvu

ST. MORITZ. Erinnya eryo wali oliwuliddeko? Oyinza okuba nga wali oliwuliddeko, kubanga kino kifo ekimanyiddwa ennyo mu Switzerland ekisangibwa mu kiwonvu ekiyitibwa Engadine. St. Moritz kye kimu ku bifo ebirabika obulungi ekisikiriza ennyo abalambuzi ekisangibwa mu nsozi eziriko omuzira eziri mu bukiika ddyo bwa Switzer­land okumpi n’ensalo ya Italy. Era eyo gy’osanga ekkuumiro ly’ebisolo eriyitibwa Swiss National Park, eririmu ebimera n’ebisolo ebitali bimu ebireetera Omutonzi waffe ow’Ekitalo, Yakuwa ettendo. (Zab. 148:7-10) Ate era waliwo n’ekintu ekyakolebwanga mu kifo kino mu kyasa 17 ekiweesa Yakuwa ettendo.

Amayumba mangi agali mu kiwonvu kino galiko ekintu ekyewuunyisa. Kyangu okulaba erinnya lya Katonda nga liwandiikiddwa ku bisenge by’amayumba oba ku nzigi. Mu byasa ebyayita, abantu baateranga okuwandiika ebigambo ku mayumba gaabwe nga bakozesa langi, amayinja, oba nga bakoloboza ku bisenge. Ebimu ku bifaananyi by’ennyumba eziri mu Bever biragiddwa wammanga. Ebigambo ebiwandiikiddwa ku nnyumba bwe bivvuunulwa bigamba nti: “Mu 1715. Yakuwa ye lubereberye, era Yakuwa ye nkomerero. Awali Katonda, ebintu byonna bisoboka.” Yee, erinnya lya Katonda lirabika emirundi ebiri miramba ku kipande ekyo ekikadde.

Osobola okulaba ebigambo ebirala ebikadde n’okusingawo ku ebyo ku kipande ekiri mu Madulain. Ebigambo ebikiriko bigamba nti: “Zabbuli 127. Yakuwa bw’atazimba nnyumba, abagizimba bakolera bwereere. Lucius Rumedius. Mu mwaka 1654.”

Kyajja kitya okuba nti erinnya lya Katonda lisangibwa ku bizimbe bingi mu kiwonvu kino? Mu kyasa ekya 16, Baibuli yakubibwa mu Romansh, olulimi olwava mu Lulatini olwogerwa mu Engadine. Mu butuufu, Baibuli kye kitabo ekyasooka okuvvuunulwa mu lulimi olwo. Olw’okuba baali bakwatiddwako nnyo ebyo bye baali basomye mu Kigambo kya Katonda, abantu bangi baatandika okuwandiika ku mayumba gaabwe amannya gaabwe n’ebyawandiikibwa okuva mu Baibuli ebyalimu erinnya lya Katonda.

Yee, wadde nga wayise emyaka mingi nnyo bukya ebigambo ebyo biwandiikibwa ku mayumba ago, n’okutuusa leero bikyamanyisa abantu erinnya lya Yakuwa era bimuleetera ettendo. Abalambuzi n’abantu ababeera mu kiwonvu kino bonna bakubirizibwa okwongera okuyiga ebikwata ku Katonda ow’ekitalo, Yakuwa, nga bayitibwa okugenda ku kizimbe ekirala ekiriko erinnya eryo​—Ekizimbe ky’Obwakabaka eky’Abajulirwa ba Yakuwa ekiri mu Bever.

[Ensibuko y’Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7

© Stähli Rolf A/age fotostock

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share