EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ZEKKALIYA 9-14
Sigala mu ‘Kiwonvu Ekiri Wakati w’Ensozi’
Yakuwa yassaawo “ekiwonvu ekinene ennyo” mu 1914 bwe yateekawo Obwakabaka bwa Masiya, era ng’obwakabaka obwo kitundu ‘ky’olusozi’ olukiikirira obufuzi bwe obw’obutonde bwonna. Okuva mu 1919, abaweereza ba Katonda bafunye obukuumi mu ‘kiwonvu ekiri wakati w’ensozi’
Abantu bayinza batya okuddukira mu kiwonvu ekyo omuli obukuumi?
Oyo yenna atali mu kiwonvu ekyo eky’akabonero ajja kuzikirizibwa ku Amagedoni
Nnyinza ntya okusigala mu kiwonvu ekirimu obukuumi?