Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Lwaki Musa yasunguwalira batabani ba Alooni Eriyazaali ne Isamaali oluvannyuma lw’okufa kwa baganda baabwe Nadabu ne Abiku, era kiki ekyakkakkanya obusungu bwe?—Leev. 10:16-20.
Obwakabona bwe bwali bwakatongozebwa ku weema, Yakuwa yatta batabani ba Alooni Nadabu ne Abiku olw’okuwaayo omuliro ogutakkirizibwa gy’ali. (Leev. 10:1, 2) Musa yalagira batabani ba Alooni abaali basigaddewo obutakungubagira baganda baabwe. Nga wayise akaseera katono, Musa yasunguwalira Eriyazaali ne Isamaali olw’okuba baali tebalidde ku mbuzi ey’ekiweebwayo olw’ekibi. (Leev. 9:3) Lwaki Musa yabasunguwalira?
Okusinziira ku mateeka Yakuwa ge yali awadde Musa, kabona eyawangayo ekiweebwayo olw’ekibi yalinanga okulya ku kiweebwayo ekyo mu luggya lwa weema ey’okusisinkaniramu. Okukola ekyo kyatwalibwanga ng’okwetikka ebibi by’abo abaabanga bawaddeyo ssaddaaka. Kyokka, singa ogumu ku musaayi gwa ssaddaaka gwatwalibwanga mu Kifo Ekitukuvu, ekisenge ekisooka ekya weema entukuvu, ekiweebwayo ekyo kyabanga tekirina kuliibwako. Kyalinanga okwokebwa omuliro.—Leev. 6:24-26, 30.
Kirabika oluvannyuma lw’okufa kwa batabani ba Alooni, Musa yakiraba nti kyali kyetaagisa okukakasa nti ebiragiro bya Yakuwa byonna bigobererwa. Bwe yakitegeera nti embuzi ey’ekiweebwayo olw’ekibi yali eyokeddwa, nga musunguwavu, yabuuza Eriyazaali ne Isamaali ensonga lwaki baali tebalidde ku mbuzi eyo nga bwe kyalagirwa, kubanga omusaayi gwayo gwali tegutwaliddwa mu maaso ga Yakuwa mu Kifo Ekitukuvu.—Leev. 10:17, 18.
Alooni ye yaddamu ekibuuzo kya Musa, okuva bwe kiri nti ye yali abalagidde okukola bwe batyo. Oluvannyuma lw’okufa kwa batabani be ababiri, Alooni ayinza okuba nga yali yeebuuza obanga kyali kituufu bakabona abalala okulya ku kiweebwayo olw’ekibi ku lunaku olwo. Oboolyawo yalowooza nti bwe bandiridde ku kiweebwayo ekyo tekyandisanyusizza Yakuwa, wadde nga baali tebavunaanyizibwa olw’ekibi kya Nadabu ne Abiku.—Leev. 10:19.
Ate era Alooni ayinza okuba nga yalowooza nti ku lunaku batabani be lwe baasooka okuweereza nga bakabona, bandibadde bafuba okukola kyonna kye basobola okusanyusa Katonda mu buli kimu. Kyokka, Nadabu ne Abiku baali baleese ekivume ku linnya lya Yakuwa, era obusungu bwa Katonda bwali bubabuubukiddeko. N’olwekyo, Alooni ayinza okuba nga yalowooza nti bakabona abaali bava mu maka ekibi ng’ekyo mwe kyali kikoleddwa baali tebasaana kulya ku kiweebwayo ekitukuvu.
Kirabika Musa yakkiriziganya n’ebyo muganda we bye yayogera kubanga, ebyawandiikibwa bigamba nti: “Musa bwe yawulira, [ne kiba] kirungi nnyo mu maaso ge.” (Leev. 10:20) Mu butuufu, ne Yakuwa ateekwa okuba nga yakkiriziganya n’ebyo Alooni bye yayogera.