LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 3/15 lup. 6-7
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Similar Material
  • Abuulira mu Ggaliraaya era Atendeka Abatume
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Kyakulabirako Kirungi gy’Oli Oba Kulabula gy’Oli?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 3/15 lup. 6-7

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Yesu bwe yali asindika abatume 12 okugenda okubuulira, yabagamba okutwala emiggo n’okwambala engatto?

Abantu abamu bagamba nti ebitabo by’Enjiri ebisatu ebyogera ku Yesu ng’asindika abatume be okugenda okubuulira bikontana. Kyokka bwe tugeraageranya ebyo ebiri mu bitabo bino ebisatu, tusobola okukiraba nti ekyo kye boogera si kituufu. Ka tusooke twetegereze ebyo Makko ne Lukka bye baawandiika. Makko yawandiika nti: “[Yesu] n’abalagira obutatwala kintu kyonna okuggyako omuggo. Era yabalagira obutatwala mugaati, wadde ensawo y’emmere, wadde ensimbi, wabula bambale engatto era baleme kwambala kkanzu bbiri.” (Mak. 6:7-9) Lukka ye yawandiika bw’ati: “Temutwala kintu kyonna, wadde omuggo, wadde ensawo y’emmere, wadde omugaati, wadde ssente eza ffeeza; wadde ebyambalo eby’omunda ebibiri.” (Luk. 9:1-3) Oboolyawo kati omaze n’okulaba ekyo ekireetera abamu okulowooza nti Enjiri ezo zikontana. Makko alaga nti abatume baagambibwa okutwala omuggo n’okwambala engatto, naye ate ye Lukka alaga nti baali tebalina kutwala kintu kyonna, wadde omuggo. Obutafaananako Makko, Lukka ye teyayogera na ku ngatto.

Okusobola okutegeera ekyo Yesu kye yali ategeeza, weetegereze ekyo Enjiri essatu kye zifaanaganya. Okusinziira ku ebyo bye tusoma mu Njiri ya Makko n’eya Lukka awamu n’ebyo bye tusoma mu Matayo 10:5-10, abatume baagaanibwa okwambala oba okuba ‘n’ebyambalo eby’omunda ebibiri.’ Kirabika buli omu ku batume yali ayambadde ekyambalo eky’omunda kimu. Bwe kityo, baali tebalina kutwala kyambalo kirala. Ate era buli omu yali ayambadde engatto. Makko alaga nti abatume abo baali tebalina kuggyamu ngatto ze baali bambadde, bambale endala. Ate kiri kitya ku kutwala emiggo? Ekitabo ekiyitibwa The Jewish Encyclopedia kigamba nti: “Kirabika yali mpisa ya Bayudaaya okutambulanga n’emiggo nga baliko gye balaga.” (Lub. 32:10) Bwe kityo Makko yalaga nti abatume baali tebalina ‘kutwala kintu kyonna’ okuggyako omuggo buli omu gwe yalina mu kiseera Yesu we yabagambira okugenda okubuulira. N’olwekyo, abawandiisi b’Enjiri bano baakiraga bulungi nti Yesu yali ayagala abatume bagenderewo okubuulira, mu kifo ky’okudda mu kunoonya ebintu ebirala bye bandigenze nabyo.

Matayo, oyo eyaliwo nga Yesu asindika abatume okugenda okubuulira, naye yeeyongera okukaatiriza ensonga eno. Okusinziira ku Matayo, Yesu yagamba nti: “Temutwala zaabu oba ffeeza oba ekikomo mu nsawo zammwe, oba ensawo z’emmere nga muli ku lugendo, oba ekyambalo eky’omunda eky’okubiri, oba engatto endala, oba omuggo omulala; kubanga omukozi asaanira okuweebwa emmere ye.” (Mat. 10:9, 10) Ate kiri kitya ku ngatto abatume ze baali bambadde n’emiggo gye baali bakutte? Kya lwatu nti Yesu yali alagira abatume obutatwala bintu birala, naye yali tabagamba kusuula ebyo bye baali nabyo. Lwaki yabawa ekiragiro ekyo? Kubanga “omukozi asaanira okuweebwa emmere ye.” Eno ye nsonga enkulu eyali mu kiragiro kya Yesu ekyo, era nga kyali kikwatagana bulungi n’ebyo bye yayogera mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi bwe yagamba abayigirizwa be nti baali tebasaanidde kweraliikirira bya kulya, bya kunywa, oba bya kwambala.​—Mat. 6:25-32.

Wadde nga mu kusooka kyangu okulowooza nti abawandiisi b’Enjiri bano bakontana, bonna baali boogera ku nsonga y’emu. Abatume abo baalina okugenda nga bwe baali, mu kifo ky’okuwugulibwa nga banoonya ebintu ebirala eby’okutwala. Lwaki? Kubanga Yakuwa yali ajja kubalabirira.

“Omukyala, era n’abakyala” Sulemaani be yayogerako be baani?​—Mub. 2:8, NW.

Bano bayinza okuba nga be bakazi abatutumufu abaakyaliranga Sulemaani mu lubiri lwe.

Mu Omubuulizi essuula 2, Sulemaani yayogera ku bintu bingi bye yali akoze, nga muno mwe mwali n’okuzimba ebizimbe eby’enjawulo. Era yagamba nti: “Nneekuŋŋaanyiza ffeeza ne zaabu, n’eby’obugagga eby’omu bakabaka n’eby’omu masaza. Nneetekerawo abasajja abayimbi n’abakazi abayimbi era n’ebintu ebisanyusa abaana b’abantu, omukyala, era n’abakyala.”​—Mub. 2:8, NW.

Abeekenneenya Bayibuli bangi bagamba nti “abakyala” Sulemaani be yali ayogerako be bakazi abangi abagwira be yalina mu myaka gye egy’obukadde, abaamuleetera okwenyigira mu kusinza okw’obulimba. (1 Bassek. 11:1-4) Kyokka enyinnyonnyola eyo si ntuufu. Sulemaani we yawandiikira ebigambo ebyo, yali amaze okusisinkana “omukyala, era n’abakyala.” Era mu kiseera ekyo, yali akyalina enkolagana ennungi ne Yakuwa kubanga yali akyamukozesa mu kuwandiika ebitabo bya Bayibuli. Ekyo kiba tekikwatagana n’ebyo bye tumusomako mu myaka gye egy’obukadde we yabeerera n’abakazi abangi abagwira awamu n’abazaana, ekyamuviirako okwenyigira mu kusinza okw’obulimba.

Mu kitabo ky’Omubuulizi, Sulemaani yagamba nti “yanoonya okulaba ebigambo ebikkirizibwa, n’ebyo ebyawandiikibwa n’obugolokofu, bye bigambo eby’amazima.” (Mub. 12:10) Kya lwatu nti Sulemaani yali amanyi bulungi ebigambo bye yali asobola okukozesa ng’ayogera ku “mukazi,” ku “kabaka omukazi,” ne ku “bazaana,” kubanga yakozesa ebigambo ebyo mu byawandiikibwa ebirala bye yaluŋŋamizibwa okuwandiika. (Nge. 5:18; 12:4; 18:22; Mub. 9:9; Lu. 6:8, 9) Naye ebyo si bye bigambo bye yakozesa mu Omubuulizi 2:8.

Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “omukyala, era n’abakyala,” kisangibwa mu kyawandiikibwa ekyo mwokka. Abeekenneenya Bayibuli bagamba nti amakulu gaakyo tegamanyiddwa bulungi. Abavvuunuzi ba Bayibuli bangi bakitwala nti ekigambo ekyo ekiri mu Omubuulizi 2:8 kiyinza okutegeeza omukazi, abakazi, oba omukazi omututumufu. Bwe kityo, New World Translation ekozesa ebigambo “omukyala, era n’abakyala” okusobola okuggyayo amakulu ago.

Sulemaani yali mututumufu nnyo, ne kiba nti kabaka omukazi ow’e Seeba naye yawulira ettutumu lye, n’amukyalira, era n’akwatibwako nnyo ebyo bye yalaba. (1 Bassek. 10:1, 2) Kyandiba nti Sulemaani bwe yayogera ku ‘mukyala, era n’abakyala’ yali ayogera ku bakazi ng’oyo. Ayinza okuba nga yali ayogera ku bakazi abatutumufu abaamukyaliranga mu lubiri lwe mu kiseera ekiwanvu kye yamala ng’akyalina enkolagana ennungi ne Katonda.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share