Teweerimbalimba na Ndowooza Nkyamu
“KIKI kino ky’okoze?” Kino kye kibuuzo Katonda kye yabuuza Kaawa ng’amaze okulya ku muti gwe yali abagaanyi okulyako. Kaawa yamuddamu ng’agamba nti: “Omusota gunsenzesenze, ne ndya.” (Lub. 3:13) Sitaani, eyaleetera Kawa okujeemera Katonda, oluvannyuma ayogerwako ‘ng’omusota ogw’edda, ogubuzaabuza ensi yonna.’—Kub. 12:9.
Ebyo bye tusoma mu Olubereberye essuula ey’okusatu biraga nti Sitaani mukuusa, era nti alina ekigendererwa eky’okubuzaabuza abo abatalina bumanyirivu. Sitaani yasobola okulimbalimba Kaawa. Kyokka, tetusaanidde kulowooza nti Sitaani ye yekka asobola okutulimbalimba. Bayibuli eraga nti naffe tusobola ‘okwerimbalimba n’endowooza enkyamu.’—Yak. 1:22.
Kiyinza okuba ekizibu okukikkiriza nti naffe tusobola okwerimbalimba. Naye Ekigambo kya Katonda kiraga nti kino kisoboka. Tugenda kwetegereza engeri gye tusobola okwerimbalimba era tulabe n’endowooza enkyamu eziyinza okutubuzaabuza. Ka tulabeyo ekyokulabirako okuva mu Byawandiikibwa.
Ekyokulabirako eky’Abo Abeerimbalimba
Awo nga mu mwaka gwa 537 E.E.T., Kuulo Omukulu ow’e Buperusi yakkiriza Abayudaaya abaali mu buwambe e Babulooni okuddayo e Yerusaalemi basobole okuddamu okuzimba yeekaalu. (Ezer. 1:1, 2) Mu mwaka ogwaddako, ng’ekigendererwa kya Yakuwa bwe kyali, abantu baazimba omusingi gwa yeekaalu. Abayudaaya abaali bakomyewo baasanyuka nnyo era baatendereza Yakuwa olw’okubasobozesa okuzimba omusingi gwa yeekaalu. (Ezer. 3:8, 10, 11) Kyokka nga wayise akaseera katono, baatandika okuziyizibwa era ne baggwaamu amaanyi. (Ezer. 4:4) Nga wayise emyaka nga 15 bukya bakomawo ku butaka, ab’obuyinza mu Buperusi baalagira abantu b’omu Yerusaalemi okulekera awo okuzimba. Okusobola okukakasa nti Abayudaaya tebeeyongera mu maaso na kuzimba, ab’obuyinza baagenda e Yerusaalemi ne babakaka okuyimiriza omulimu ogwo.—Ezer. 4:21-24.
Okuziyizibwa okwo kwaleetera Abayudaaya okutandika okwerimbalimba n’endowooza enkyamu. Baagamba nti: ‘Kaakano si kye kiseera eky’okuzimbiramu ennyumba ya Yakuwa.’ (Kag. 1:2) Baatandika okulowooza nti Katonda yali tayagala yeekaalu kuzimbibwa mu kiseera ekyo. Mu kifo ky’okusala amagezi okulaba engeri gye baali bayinza okweyongera okukola ekyo Katonda kye yali ayagala, baaleka omulimu gwe yali abakwasizza ne beemalira ku kuyooyoota amayumba gaabwe. Nnabbi wa Katonda Kaggayi yababuuza nti: “Kye kiseera mmwe bennyini okubeera mu nnyumba zammwe ezibikkiddwako, ennyumba eno [yeekaalu ya Yakuwa] ng’ebeerera awo ng’erekeddwawo?”—Kag. 1:4.
Ekyokulabirako kino kirina kye kikuyigiriza? Okuba n’endowooza etali nnuŋŋamu ku ngeri Katonda gy’akwatamu ebiseera ng’atuukiriza ebigendererwa bye, kisobola okutuleetera okulagajjalira ebintu eby’omwoyo ne tutandika okwemalira ku bintu byaffe. Okugeza, ka tugambe nti olina abagenyi b’olindirira. Olw’okuba oba weesunga nnyo abagenyi abo, oba n’eby’okukola bingi ng’obeetegekera. Kyokka singa otegeezebwa nti abagenyi b’olindirira bajja kukeerewamu, eby’okubeetegekera obivaako?
Kijjukire nti Kaggayi ne Zekkaliya baayamba Abayudaaya okukitegeera nti Yakuwa yali ayagala yeekaalu ezimbibwe mu bwangu. Kaggayi yabagamba nti: “Mubeere n’amaanyi, mmwe mwenna abantu ab’omu nsi, . . . mukole omulimu.” (Kag. 2:4) Baali beetaaga okweyongera mu maaso n’omulimu ogwali gubakwasiddwa, nga bakakafu nti omwoyo gwa Katonda gwali gujja kubayamba. (Zek. 4:6, 7) Ekyokulabirako kino naffe kisobola okutuyamba okwewala okuba n’endowooza etali ntuufu ku bikwata ku lunaku lwa Yakuwa?—1 Kol. 10:11.
Okufuna Endowooza Entuufu
Mu bbaluwa ye ey’okubiri, omutume Peetero yayogera ebikwata ku kiseera kya Yakuwa eky’okuleeteramu “eggulu eriggya n’ensi empya.” (2 Peet. 3:13) Yakiraga nti abasekerezi baali babuusabuusa obanga ddala Katonda yandibadde ayingira mu nsonga z’abantu. Baatandika okwerimbalimba nga bagamba nti tewali kintu kyali kigenda kubaawo, kubanga baali balowooza nti ‘ebintu byonna byali ddala nga bwe byali bibadde okuviira ddala ku ntandikwa y’okutonda.’ (2 Peet. 3:4) Peetero yalaga nti endowooza eyo yali nkyamu. Yawandiika nti: “Mbakubiriza okukozesa obusobozi bwammwe obw’okulowooza nga mbajjukiza.” Yayamba Bakristaayo banne okukiraba nti abasekerezi abo baali bakyamu nnyo, kubanga mu biseera by’edda Katonda yali ayingiddeko mu nsonga z’abantu, n’aleeta amataba.—2 Peet. 3:1, 5-7.
Kaggayi naye yakozesa ebigambo ebifaanaganako ng’ebyo okuzzaamu Abayudaaya amaanyi, mu 520 E.E.T. Yabagamba nti: “Mulowooze amakubo gammwe.” (Kag. 1:5) Okusobola okuyamba bakkiriza banne okukozesa obusobozi bwabwe obw’okulowooza, Kaggayi yabajjukiza ebigendererwa bya Katonda awamu n’ebisuubizo bye yasuubiza abantu Be. (Kag. 1:8; 2:4, 5) Oluvannyuma lw’Abayudaaya okuzzibwamu amaanyi, omulimu gw’okuzimba gwaddamu okukwajja—wadde ng’ab’obuyinza baali babagaanyi okugukola. Ne ku mulundi guno, abalabe baagezaako okulemesa omulimu gw’okuzimba okugenda mu maaso, naye baalemererwa. Kya ddaaki, ekiragiro eky’okuyimiriza omulimu gw’okuzimba kyamenyebwawo, era mu myaka ettaano gyokka yeekaalu yali ewedde okuzimbibwa.—Ezer. 6:14, 15; Kag. 1:14, 15.
Okulowooza ku Makubo Gaffe
Olowooza naffe, okufaananako Abayudaaya abaaliwo mu kiseera kya Kaggayi, tusobola okuggwaamu amaanyi nga wazzeewo embeera enzibu? Ekyo bwe kitutuukako, tuyinza okukisanga nga kizibu okweyongera okubuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu. Naye, biki ebiyinza okutuleetera okuggwaamu amaanyi? Tuyinza okufuna ebizibu ebiva ku bikolwa ebitali bya bwenkanya ebicaase ennyo mu nteekateeka y’ebintu eno. Lowooza ku Kaabakuuku, eyagamba nti: “Ndituusa wa okukukaabirira onnyambe olyoke owulire, olyoke otununule okuva mu bikolwa eby’obukambwe?” (Kaab. 1:2, Good News Bible) Olw’okuba abamu bagamba nti Katonda aluddewo okukomya obubi, Omukristaayo ayinza okwesanga ng’alekedde awo okulaba obukulu bw’ebiseera bye tulimu bw’atyo n’atandika okwemalira ku bibye. Kyandiba nti naawe bw’otyo bw’oli? Bwe tutandika okutwalirizibwa endowooza ng’ezo, tuba tutandise okwerimbalimba. Nga kikulu nnyo okukolera ku kubuulirira kw’omu Byawandiikibwa okukwata ku ‘kulowooza ku makubo gaffe’ n’okwo okukwata ku ‘kukozesa obusobozi bwaffe obw’okulowooza’! Weebuuze, ‘Kinneewuunyisa okulaba nti enteekateeka y’ebintu eno ebaddewo okumala ekiseera kiwanvuko okusinga ku ekyo kye nnali ndowooza nti ky’ejja okumala?’
Bayibuli Yalagula nti Wandibaddewo Ekiseera eky’Okulindirira
Kati lowooza ku bigambo bya Yesu ebikwata ku mafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu. Bwe tusoma ku bunnabbi bwa Yesu obukwata ku nnaku ez’oluvannyuma obuli mu Njiri ya Makko, tulaba ng’enfunda n’enfunda Yesu atukubiriza okusigala nga tuli bulindaala. (Mak. 13:33-37) Era Ebyawandiikibwa bwe biba byogera ku lunaku olukulu olwa Yakuwa ku Kalumagedoni, bitukubiriza okusigala nga tutunula. (Kub. 16:14-16) Lwaki eky’okusigala nga tutunula kiddibwamu enfunda n’enfunda mu Byawandiikibwa? Okujjukizibwa ng’okwo kuba kwetaagisa nnyo, kubanga singa ekintu abantu kye baba balindirira kitandika okulabika ng’ekiruddewo okutuuka, abantu batera okukiggyako ebirowoozo byabwe.
Yesu yawa ekyokulabirako ekiraga ensonga lwaki tulina okusigala nga tutunula nga bwe tulindirira enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu. Yayogera ku nnyini nnyumba ababbi gwe baayingirira ne bamubba. Kiki kye yandibadde akola okusobola okwewala okubbibwa? Yandibadde asigala ng’atunula ekiro kyonna. Yesu yakomekkereza olugero luno ng’atulabula nti: “Mubeerenga beetegefu kubanga Omwana w’omuntu ajjira mu kiseera kye mutamusuubiriramu.”—Mat. 24:43, 44.
Ekyokulabirako ekyo kiraga nti tulina okuba abeetegefu okulindirira, ne bwe kiba nti olunaku lwa Yakuwa lulabika ng’oluluddewo okutuuka. Eky’okuba nti enteekateeka y’ebintu eno erabika ng’eruddewo okusinga bwe twali tusuubira, ekyo si kye twandimaliddeko ebirowoozo byaffe. Tetulina kwerimbalimba nga tugamba nti ‘ekiseera kya Yakuwa tekinnatuuka.’ Endowooza ng’eyo esobola okutulemesa okweyongera okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka n’obunyiikivu.—Bar. 12:11.
Okweggyamu Endowooza Enkyamu
Bwe kituuka ku ndowooza enkyamu, tusaanidde okulowooza ku musingi oguli mu Abaggalatiya 6:7 awagamba nti: “Tolimbibwalimbibwanga . . . Ekintu kyonna omuntu ky’asiga era ky’alikungula.” Singa oba n’ekibanja naye n’otokisimbamu kintu kyonna, ekibanja ekyo kizika. Mu ngeri y’emu, naffe singa tetukozesa bulungi busobozi bwaffe obw’okulowooza, endowooza enkyamu zijja kusimba amakanda mu birowoozo byaffe. Ng’ekyokulabirako, muli tuyinza okutandika okugamba nti, ‘Tewali kubuusabuusa nti olunaku lwa Yakuwa lujja kujja—naye lukyali wala nnyo.’ Endowooza ng’eyo esobola okutuleetera okuddirira mu by’omwoyo. Era ekiseera bwe kigenda kiyitawo, tuyinza okutandika okulagajjalira ebintu eby’omwoyo. Bwe kityo, olunaku lwa Yakuwa lusobola okututuukako nga tetutegedde.—2 Peet. 3:10.
Naye endowooza enkyamu teziyinza kusimba makanda mu birowoozo byaffe singa tufuba okukakasa “ekyo Katonda ky’ayagala, ekirungi, ekisiimibwa, era ekituukiridde.” (Bar. 12:2) Ekimu ku bintu ebikulu ennyo ekijja okutuyamba mu nsonga eno, kwe kusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku. Ebyawandiikibwa bisobola okutuyamba okweyongera okunyweza okukkiriza kwaffe mu Yakuwa, nga tukimanyi nti bulijjo abaako ky’akolawo mu kiseera kye ekigereke.—Kaab. 2:3.
Okwesomesa Baibuli, okusaba, okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa, okubuulira, awamu n’okukola ebikolwa eby’ekisa, kijja kutuyamba ‘okukuumira mu birowoozo byaffe okujja kw’olunaku lwa Yakuwa.’ (2 Peet. 3:11, 12) Yakuwa ajja kulaba okufuba kwaffe. Omutume Pawulo atugamba nti: “Tetulekuliranga kukola birungi, kubanga ekiseera bwe kirituuka tulikungula singa tetukoowa.”—Bag. 6:9.
Kino si kye kiseera okuleka endowooza enkyamu okutuleetera okukitwala nti olunaku lwa Yakuwa lukyali wala nnyo. Wabula kino kye kiseera okunyweza okukkiriza kwaffe, kubanga olunaku lwa Yakuwa lusembedde.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Kaggayi ne Zekkaliya baakubiriza Abayudaaya okweyongera okuzimba
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Olowooza kino kyandibaddewo singa nnyini nnyumba yakimanya nti omubbi ajja?